Flavia Nabagabe Kalule

Bisangiddwa ku Wikipedia

Flavia Nabagabe Kalule yazalibwa mu Gwokuna nga 22 mu 1985, nga musomesa Omunayuganda, akiika mu Inter-parliamentary Unino, era mukyala alwanirira eddembe ly'abantu ng'ate mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kassanda mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[1][2][3] Ye ssentebe w'abakyala abeegatira mu kibiina kya National Unity Platform(NUP) ng'era bagimannyi nga People Power.[4][5][2][6][3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Flavia yazaalibwa omugenzi Florence Nalwanga Kalule, eyali ayamba nga ku gavumenti y'ebitundu okukola entegeka mu Disitulikiti okwali eye Mubende, Kabarole ne Nakasongola mu Gwokuna nga 22 mu 1985, n'omugenzi Dr. Lawrence Sserugo Kalule.[1]

Flavia yaaliriza emisomo gya pulayimale ku St.Theresa’s Namagunga Primary Boarding School mu 1998. Emisomo gye egya S4 ne S6 gyomabi yagituulira ku Our Lady of Good Counsel Gayaza mu 2004. Oluvannyuma yeegata ku Yunivasite y'e Makerere gyeyafunira Diguli mu by'enjigiriza mu 2008.[1]  Mu 2013, Flavia yeeyongerayo okusoma diguli ey'okubiri mu by'enjigiriza mu kulwanirira eddembe ly'abantu ku Yunivasite y'e Makerere.[1][7]

Mu 2016, Flavia yagenda neyeetaba mu pulogulaamu y'okutendekebwa abakulembezze eyali e Kenya wansi w'ekibiina kya Young African Leaders Initiative (YALI) East African programme.[1] Mu 2017, Flavia yeetaba mu Mandela Washington Fellowship eyali mu abakulmebezze abato, pulogulaamu eyali eya gavumenti ya Amerika gyeyetabira, nga eno yeetaba mu pulogulaamu y'obukulembezze, okuzuula ebiruma abantu wamu n'okudukanya wamu n'okudukanya embeera z'abantu.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Obusomesa[kyusa | edit source]

Flavia yasomesaako ku Our Lady of Good Counsel e Gayaza. Oluvannyuma neyeegata ku Namilyango College gyeyasomeseza okuva mu 2008 okutuuka mu 2012.[1][7]

Emirimu gy'okulwanirira enkyuka kyuka[kyusa | edit source]

Mu 2012, Flavia yeegata ku Forum for Women in Democracy (FOWODE) ng'omuyiga, wabula oluvannyuma baamukuza nebamuteeka mu kifo ky'okubeera avunaanyizibwa ku bya pulogulaamu.[1]

Emirimu gye mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2016, Flavia yeesimbawo, wabula n'awangulwa ku ky'omubaka wa Paalamenti eyali agenda okukiikirira Disitulikiti y'e Mubende.[1] Mu 2021, Flavia yeesimbawo n'awangula ekifo ky'omubaka omukyala eyali akiikirira Disitulikiti y'e Kassanda mu Paalameenti wansi wa National Unity Platform (NUP).[1] Flavia yalondebwa nga ssentebe w'abakyala mu NUP, akakiiko akakwasaganya obukulembezze bw'abakyala wamu n'okulwanyisa okukabasanya abakyala mu kibiina kya NUP mwenyini .[1][2][6][3]

Laba nebino[kyusa | edit source]

  1. Olukalala lwa babaka ba Paalamenti ya Uganda eyekumineemu
  2. Ruth S Nankabirwa
  3. Paalamenti ya Uganda
  4. Ekibiina kya National Unity Platform

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/nabagabe-from-teacher-to-mp-3451718
  2. 2.0 2.1 2.2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/90047
  3. 3.0 3.1 3.2 https://liberal-international.org/news-articles/ugandan-mp-flavia-kalule-nabagabe-calls-on-international-community-to-speak-out-in-li-webinar/
  4. https://trumpetnews.co.ug/list-who-was-elected-mp-in-uganda/
  5. https://yali.state.gov/shes-fighting-for-women-to-build-a-better-uganda/
  6. 6.0 6.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/107951
  7. 7.0 7.1 https://yecuganda.org/flavia-kalule