Jump to content

Flavia Oketcho

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Flavia Oketcho yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 16, mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 1986, nga munayuganda omukazi azannya basketball, ku ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.[1]

Ebimukwatako n'eby'enjigiriza

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu bitundu by'omu masekati ga Uganda ng'enaku z'omwezi 16, mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 1986 ng'era eyo gyeyakulira.

Mu mwaka gwa 1992, Oketcho yeegata kusomero lya Nakasero Primary School, naye oluvannyuma yakyusa n'agenda ku Kitante Primary School, gyeyasomera okuva mu mwaka gwa1993 okutuusa mu 1998.[2]

Mu mwaka gwa 1999 okutuusa mu gwa 2002, yasomera ku Kitante Hill Secondary School gyeyatuulira S.4. Mu mwaka gwa 2001, ng'ali ku Kitante Hill, yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu liigi, ng'ali ne kiraabu ya Lady Bucks. Mu mwaka gwa 2003 okutuuka mu gwa 2004, yeegata ku somero lya Makerere College School gyeyasomera S5, naye oluvannyuma yeegata ku Najja High School ng'eno gyeyatuulira ebibuuzo bya S.6.[2]

Oketcho yasomera kutendekero lya Uganda Christian University mu mwaka gwa 2007 , gyeyatikirwa diguli mu by'amawulire. Mu mwaka gwa 2008, yayambako ttiimu ya UCU eya basketball, eyitibwa Lady Cannons, okuwangula liigi era naaweebwa ekirabo ky'omuzannyi eyasinga okugasa ttiimu ye .

Emirimu gye ne by'awangudde

[kyusa | edit source]

Yazannya omuzannya gwe ogwali gusooka ogwa liigi mu mwaka gwa 2001 ng'ali ne kiraabu ya Lady Bucks. Mu mwaka gwa 2004, yalondebwa ku ky'omuzannyi eyali asinze okugasa ttiimu ye mu mpaka ezeetabwamu kiraabu okuva mu buvanjuba bwa Afrika,[2] gyeyayamba okuwangula ebikopo bya liigi emirundi ebbiri.

Mu mwaka gwa 2005, yakiikirira Uganda mu mpaka z'amawanga ga Afrika agasinganibwa mu Zone V.

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.fiba.basketball/womensafrobasket/2017/player/Flavia-Oketcho
  2. 2.0 2.1 2.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Sports/Basketball/690268-1210092-eo7rry/index.html