Jump to content

Flavia Rwabuhoro Kabahenda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Flavia Rwabuhoro Kabahenda

 

Flavia Rwabuhoro Kabahenda Munabyabufuzi Omunayuganda, Omukyala Omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ye Kyegegwa mu Paalamenti ya Uganda eye Kumineemu, mu Paalamenti ya Uganda, nga akiikirira ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[1] Ye ssentebe w'akakiiko aka Paalamenti akavunaanyzibwa ku kukula ky'abantu, emirimu n'enkulakulana y'ebitundu. Yawerezaako mu Paalamenti ya Uganda eye kumi nga omubaka omukyala eyali akiikirira Disitulikiti ye Kyengewa. Flavia yeeyali ssentebe eyatandikawo wamu n'okukwanaganya ku akakiiko ka Uganda Parliamentary Forum on Social Protection mu 2014.[2][3] Flavia Rwabuhoro Kabahenda yali musaale mu kuwagira enkola y'okukendeeza obwaavu mu Uganda.[3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 20 Ogwomukaaga mu 1995, Flavia Rwabuhoro Kabahenda alina Dipulooma mu Bizineensi okuva ku Yunivasite ye Makerere University Business School wamu ne Dipulooma mu By'obusomesa nadala sekondale okuva ku Yunivasite y'e Kyambogo. Alina ne Diguli mu By'okudukanya Bizineensi okuva ku Yunivasite ya Mountains of the Moon esinganibwa e Fort Portal.[4]

Emirimu gye mu By'obufuzi

[kyusa | edit source]

Flavia Rwabuhoro Kabahenda yeeyali omu ku bakyala abaasooka okubeera ba kansala nga akiikirira e gombolola lye Kyegegwa mu Kyenjojo, nga kati Disitulikiti mpya, okuva wakati wa 2002 okutuuka mu 2006. Wakati wa 1995 okutuuka mu 2001, yeeyali omuwandiisi w'abakyala ng'akiikirira esaza lya Kyaka ku kakiiko akadukanya Disituliti ye Kabarole. Awerezaako nga Omukyala omubaka wa Paalamenti owa Kyegegwa mu Paalamenti eyo mwenda, ng'era akyawereza mu Paalamenti eye kumineemu eya Uganda eggwanga ery'efuga.[4]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. https://visiblepolls.org/ug/apr-2017-aruu-north-mp-by-election/candidates/kabahenda-flavia-rwabuhoro-10464/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-12. Retrieved 2024-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 https://www.developmentpathways.co.uk/news/ugandan-mps-winning-argument-to-make-senior-citizens-grant-national-event-hears/
  4. 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-26. Retrieved 2024-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]