Jump to content

Florence Akiiki Asiimwe

Bisangiddwa ku Wikipedia
Florence Asiimwe Akiiki

Florence Akiiki Asiimwe (eyazallibwa mu mwaka gwa 1980) mubaka omukyala omulonde akiikirira ddisitulikiti ya Masindi mu lukiiko lw'eggwanga (Uganda) olw'ekkuminoolulumu. Muyigisa ku ssettendekero ate era munnabyabufuzi wansi w'ekibiina ekirimu buyinza ekya National Resistance Movement[1].

Okusoma kwe n'ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Asiimwe Florence Akiiki yazaalibwa ku kyalo ekimanyiddwa nga Namasenene village mu ddisitulikiti ya Luweero. Alina PhD mu Sociology gye yafunira ku University of Cape Town, Master of Arts in Development Studies gye yafunira ku Institute of Social Studies mu Hague, Netherlands ate era ng'alina obukugu mu kuteekerateekera ebibuga, okukomya obutabanguko n'okuzimba enkolaganamu bantu..Muyigisa mu Department of Sociology (Makerere University), muyigisa ow'akaseera obuseera ku University of Western Cape ate era nga munoonyereza ku Kyoto University[2][3][4].

Ebyobufuzi n'emirimu gy'akoze

[kyusa | edit source]

Yakulirako Rotary Club of Makerere Rainbow, aweereza nga mminisita w'embeera z'abantu mu bwakabaka bwa Bunyoro Kitara ate era ng'aweerezzaako nga munnakakiiko akaddukanya essomero lya Mary Reparatrix Secondly School ne Bombo Secondary School.

Ebijulizo

[kyusa | edit source]
  1. https://ulii.org/ug/judgment/hc-criminal-division-uganda/2002/11
  2. https://gh-f.org/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-07-02. Retrieved 2021-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.semanticscholar.org/author/Florence-Akiiki-Asiimwe/79652956