Florence Alice Lubega

Bisangiddwa ku Wikipedia

Florence Alice Lubega (5 Ogwekkuminogumu 1917 – 28 Ogwekkumi 2021) yali munnabyabufuzi wa Uganda era omukyala eyasooka okwegata ku Paalamenti ya Uganda ey'etongodde mu Gwokutaano 1962. Yali omu ku bakazi ey'asooka okubeera mmemba abaga amateeka ga Uganda, mu kakiiko akabaga amateeka (LEGCO).Era yali mmemba mu Paalamenti ya Ugandan eyasooka, era Minisita omubeezi ow'ebyenkulakulana n'emirimu.

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Florence Lubega yali muwala wa Katikkiro wa Buganda Samuel Wamala ne Erina Nantongo.[1]

Yasomesebwa mu Gayaza Girls' School ng'atannaba kwegata ku ssomero ly'abasomesa erya Buloba Teachers' College. Oluvanyuma ye yali omukyala eyasooka okukkirizibwa mu Makerere College School nga tanegatta ku Oxford University. Ng'amaliriza emisomo gye egya Yunivasite mu 1946, yakomawo okusomesa Olungereza ku Makerere University.[2]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Florence Lubega yali mufumbo eri Saulo Lubega, omusomesa ku ssomero lya Mityana secondary school[3] era eyali Minisita w'ebyensimbi mu Gavumenti ya Buganda [4] Florence Lubega yawangaala okusinga abaana be era nga yalina banyinaze bana omwali ; omugenzi Israel Magembe Wamala [eyali omuyimbi] ow'e Nakasajja mu Kyaggwe, Wamala Steven Ssempasa, awangalira mu Bungereza, Paul Musoke Wamala, eyali akwasaganya by'obulambuzi era ng'abeera mu Luzira, n'omugenzi Wamala Herbert Dagirira.

Yafa nga 28 Ogwekkumi 2021, ng'ebula sabiiti emu okutuuka ku mazaalibwa ge ag'emyaka 104.[5]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Uganda-s-first-female-legislator-corridors-of-power/689844-3809020-106tn0cz/index.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-17. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/118527
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1309842/lubegas-love-girl-child
  5. https://chimpreports.com/ugandas-first-female-mp-florence-alice-lubega-passes-on-at-103/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]