Florence Mawejje

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Florence Namatta Mawejje ng'atera kukozesa lya Florence Namatta, naye nga batera kumuyita Florence Mawejje munayuganda, nga mukyala munabyabizineensi, yakuguka mu by'embeera z'abakozi, ssaako n'okubeera ku kakiiko k'ekikungu, nga y'avunaanyzibwa ku by'entambula y'emirimu ku lw'abakozi ba Centenary Rural Development Bank, baanka ekola mu by'embalirira by'ensimbi esinga obunene mu Uganda.[1][2]

Eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Mawejje alina diguli ey'okubiri mu bya saayaansi, nga diguli eno eri mu ku byakulakulanya mbeera z'abakozi, gyeyafuna okuva kutendekero lya yunivasite y'e Manchester mu ggwanga ya Bungereza. Oluvannyuma mu mwaka gwa 2004, yafuna diguli ey'ekikungu ey'okubiri mu kudukanya bizineensi, gyeyafunira eyamuweebwa awamu okuva kutendekero ly'omubuvanjuba ne mu bukiika kkono bwa Afrika, erivunaanyizibwa ku by'enzirukanya bya bizineensi, mu buvanjuba bwa Afrika ne musomero eriyigiriza engeri gyebadukanyamu bizineensi erya Maastricht mu ggwanga lya Budaaki.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu mwaka gwa 1998, yakola ng'avunaanyizbwa ku by'embeera y'abakozi mu kitongole kivunaanyizibwa ku by'embeera z'abanoonyi boobudamu wamu n'abagwiira abaagala obutuuze ekya Care International mu Uganda, nga kisinganibwa mu Kampala, ekibuga ekisinga obunene mu ggwanga. Yaweebwa omulimu aba kampuni y'amassimu eya MTN Uganda mu mwezi gwa August, mu mwaka gwa 1998 ng'akola ng'avunaanyizibwa ku by'embeera z'abakozi n'engeri gyebatambuzaamu emirimu mu, gyeyakolera emyaka 11 egyaddako. Mu mwezi ogw'okutaano, mu mwaka gwa 2009, Kampuni ekola sabuuni w'obuwunga n'ebintu bya pulasitiika eya Unilever yamuwa omulimu ng'eyali avunaanyizibwa ku by'embeera z'abakozi ow'ekitundu ky'omubuvanjuba ne mu bukiika kkono bwa Afrika, nga y'avunaanyizibwa ku by'abakozi ba kampuni mu mawanga 7 okuva ku semazinga wa Afrika.[3] Yawerezaayo okumala emyaka 2 okutuusa mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2011. Mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 2012, baanka ya Centenary yamuwa omulimu ogw'okubeera eyali akulira eby'embeera y'abakozi, ekiso kyeyawerezaako okumala emyaka 6 okutuusa mu mwezi ogw'ekuminoogumu, mu mwaka gwa 2017.[4]

Ebirala by'akola[kyusa | edit source]

Mawejje atuula ku bukiiko obw'enjawulo mu kampuni za gavumenti eziwereza abantu, wamu n'ez'obwa nnanyini mu Uganda. Kuno kuliko;

(a) Silver Spoon Limited, abadukanya esomero erirabirira abaana abantu nga bali kumusni gwansi yonna, nasale n'amasomero agatandikibwakomu Kampala, gy'abadde ku kakiiko okuviira ddala mu mwaka gwa 1996[4]

(b) Ekitongole ekiterera ssente z'abakozi ekya NSSF Uganda nga kizibawa nga bawumudde, ng'eno ali ku kakiiko k'abantu abalondewa okudukanya ebintu oba emirimu okuva mu mwaka gwa 2015[3]

(c) Kampuni ya Uganda Clays Limited ng'eno ekola bizimbisibwa, ng'emigabo gyayo egiteeka mu bavunaanyizibwa ku by'okuwanyisa mu by'amaguzi. Abadde ku kakiiko kano okuviira ddala mu mwaka gwa 2015[3]. nga kuno kwekuli

(d) Ekitongole ekinene mu Uganda ekivunaanyizibwa ku by'ensaasaaanya y'amasanyalaze, ng'emigabo gyayo giri mu bavunaanyizibwa ku by'okuwanyisa mu by'amaguzi wano mu Ugansa wamu ne mu y'e Nairobi. Awereza ng'omu kubatali ku kakiiko k'abakungu mu kampuni eno okuva mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 2016.[4][5]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)http://umeme.co.ug/wp-content/uploads/2017/05/UMEME-Annual-Report-2016_mini.pdf
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1410999/centenary-bank-staff-sh4m
  3. 3.0 3.1 3.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.reuters.com/finance/stocks/company-officers/UMME.NR
  4. 4.0 4.1 4.2 {{cite web}}: Empty citation (help)Mawejje, Florence (17 November 2017). "Florence Mawejje, Non Executive Director at Umeme Limited". LinkedIn. Retrieved 17 November 2017.
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.umeme.co.ug/board-of-directors/