Jump to content

Florence Nakiwala Kiyingi

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Florence Nakiwala Kiyingi oba Florence Nakiwala. mukyala munnabbizinensi era munnabyabufuzi. Minisita omubeezi ow'abavubuka era n'ensonga z'abaana mukaseera kano ku kabbinenti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo kino nga 6 ,ogwomukaaga 2016.[1] Era ye mumyuka owokusatu ow'ekibiina ekidukanya omupiira mu Uganda,omukyala asoose okutwala ekifo kino mu Uganda. Nate era akola nga ssentebe w'ekibiina ekigatta abavuba mu mawanga akagaliko amatwale ga Bungereza eyalondebwa mu kifo ekyo mu 2017.

OBUVO N'OKUSOMA

[kyusa | edit source]

Florence Nakiwala yazaalibwa mu 1972,e Kimanya, Masaka disitulikiti,ew'omugenzi Charles Ssonko ne Perepetwa Najjuma,ng'omwana owomunaana mu baganda be 12.Taata yali omwami w'essaza ly'e Buddu mu kiseera ekyo.Yasomera ku Kimanya Primary School nga tanaweebwa kifo ku Trinity College Nabbingo gye yamalira O-Level ne A-Level,yalondebwa eky'obwapulifeekiti bw'obuyonjo ku ssomero.[2]

Yasomera ku Ssetendekero e Makerere, n'afuna ddiguli mu by'obusubuzi.Nga gy'ali yalondebwa ku kakiiko ka Nkoba za Mbogo , ekibiina kya bayizi abaganda ku Ssetendekero e Makerere. Era yawerezako nga omukulembeze wa bayizi be ssomo ly'ebyobusubuuzi. Mu mwaka gwe ogusooka e Makerere,yasisinkana era oluvanyuma n'agwa mu mukwano n'omwami we,Deogratius Kiyingi, mmemba wa Paalamenti wa konsitituwense y'e Bukomansimbi eyobukiika ddyo mu Paalamenti eye 10 (2016-2021).[3]

Emirimu ne bizinensi

[kyusa | edit source]

Ng'omuvubuka,akyali mu ssomero wakati ,yagenda e London n'alaba engeri eby'obulamu ebirungi gyebitambulamu.Kino kyatondawo obwagazi obungi gyali okubeera ne ddwaliiro edungi ng'akuze.Ng'amaze okutikirwa e Makerere yatandikawo Lisa Medical Centre,eriyina amatabi amangi n'amalwaliiro g'ekiseera ekimpi mu Uganda n'ettabi mu Nairobi,Kenya.[4]

Emirimu mu gavumenti ya Buganda

[kyusa | edit source]

Yawereza nga Minisita w'ensonga z'abavubuka mu Bwakabaka bwa Buganda mu bbanga lya myaka etaano.Awo nawereza nga Minisita we by'obulambuzi mu Bwakabaka,ekifo kye yatwala ppaka ogwomukaaga 2016.[5]

Career in national politics

[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa bonna okwa 2016, Florence Nakwala yavuganya ku kifo ky'omubaka omukyala akiikirira disitulikiti ya Kampala mu paalamenti ey'ekkumi (2016 - 2021). Yavuganyiza ku kaadi y'ekibiina kya Democratic Party. Yawangulwa omubaka eyali mu Nabilah Naggayi Sempala eyali mu kifo ekyo ng'ono yali wa kibiina kya Forum for Democratic Change.[6] Mu ngeri eyeewuunyisa, nga 6 Ogwomukaaga 2016, Pulezidenti Yoweri Museveni yawa Nakiwala obwa minisita w'ensonga z'abavubuka n'abaana.[7]

Obuntu bwe

[kyusa | edit source]

Florence Nakiwala Kiyingi abadde mu bufumbo ne Dogratius Kiyingi okuva mu 1998. Era bakatoliki. Awamu, balina abaana bataano, abalenzi basatu n'abawala babiri.[8] Okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa nga ssentebe wa ttiimu ya Express FC, ng'esamba mu liigi ya Uganda eya babinywera.[9]

Era laba

[kyusa | edit source]
  • Kabineti ya Uganda
  • Paalamenti ya Uganda

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1337567/family-kiyingi
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1337567/family-kiyingi
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-03. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1337567/family-kiyingi
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-03. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.monitor.co.ug/News/National/DP-back-Nakiwala-Museveni/688334-3236542-nwp5gdz/index.html
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1337567/family-kiyingi
  9. https://www.monitor.co.ug/Magazines/Score/Nakiwala-wishes-Eagles-can-fly-again/689854-3322104-703q3j/index.html