Florence Ndagire,

Bisangiddwa ku Wikipedia

Florence Ndagire Munnayuganda ow'ebyobufuzi, akola nga omunoonyereza mu mateeka era munnamateeka w'eddembe ly'abantu ku United Nations (UN) esangibwa mu Geneva, Switzerland. Ndagire, omuzibe, aweereza nga ssentebe w'ekibiina kya UN Women Regional Group, eky'Omubuvanjuba ne mu Maselengeta ga Afirika, omuli amawanga kkumi n'abbiri.[1] Ye muzibe asooka, omusajja oba omukazi okufuna ebisaanyizo era okufuna licensure nga munnamateeka mu Uganda.[2]

Obuto n'emisomo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Nkokonjeru, Distulikitti y'e Buikwe mu 1984, eri Joyce Nabinaka ne Francis Kayizi. Yazaalibwa nga taneetuuka ku myeezi mukaaga era n'akuumibwa mu incubator ku ddwaaliro. Bazadde be bwe baamutwaala ewakka okuva mu ddwaaliro, bakizuula nga omwaana waabwe yali muzibe w'amaaso.[3] Yasomera ku somero lya Bishop Wills Primary School mu Disitulikitti ya Iganga. Nga amaliriza mu somero lya Siniya, yayingizibwa mu Yunivasitte ya Makerere mu Kampala, okusoma amateeka. Nga ali e Makerere, yalondebwa nga Guild Representative Council (GRC) okukiikirira abayizi mu Faculty y'ebyamateeka. Bwe yamaliriza okufuna Diguli y'ebyamateeka, okuva mu Makerere, yafuna [./Diploma_in_Legal_Practicehttps://en.wikipedia.org/wiki/Diploma_in_Legal_Practice Dipulooma mu Legal Practice] okuva mu Law Development Centre (LDC), nayo esangibwa mu Kampala.[1][3] Oluvanyuma yfuna Master mu Mateeka okuva mu [./University_of_Leedshttps://en.wikipedia.org/wiki/University_of_Leeds Yunivasitte ya Leeds] mu United Kingdom.[1] Mu interview mu 2012, Ndagire yasiima omugenzi Francis Ayume (1940 okutuusa 2004), okumukubiriza okusoma amateeka. Yali awuliriza Ayume ku laadiyo ne television, bwe yali akula, era Ayume nga akyaali mulamu.[3]

Emirimu[kyusa | edit source]

Okugoberera amatikila ge okuva mu Law Development Centre, n'okuyigizibwa kwe mu Uganda Bar mu 2009, yasooka okukola nga Legal Assistant ku law firm ya Mukisa & Mukisa Company Advocates, gyeyakolera okuva mu Gwomusanvu 2009 okutuusa mu Gwomusanvu 2009. Oluvanyuma yaweebwa omulimu mu kitongole kya Uganda Society for Disabled Children, ekitongole ekitakolera magoba, nakolera eyo nga Policy Lobbying and Advocacy Officer okuva mu Gwekkumi 2009 okutuusa mu Gwekkumi October 2011. Oluvanyuma okuva mu Gwokussattu 2012 okutuusa mu Gwomusanvu 2013, yaweebwa omulimu nga Fundraising & Advocacy Officer mu kitongole kya Uganda National Association of the Blind.[4]

Mu Gwomunaana 2013 okutuusa mu Gwekkuminoogumu 2014 yakola nga Human Rights and Fundraising Officer mu kitongole ekitakolera magoba ekya Light of the World Ekyatelekebwa nga 13 Ogwekkuminoogumu 2017 ku Wayback Machine, esangibwa mu Netherlands, ne wofiisi mu Uganda. oluvanyuma yakolera ADD International, ekitongole ekitakolera magobaa ekisangibwa mu United Kingdom. Yakolera ku wooffiisi yabwe eye Kampala, nga senior program officer okuva mu Gwokubbiri 2015 okutuusa mu Gwekkumi 2016.[4]

Okutandika mu Gwekkumi 2016, akolera United Nations (UN), nga UN Special Rapporteur ku Ddembe ly'Abaliko obulemu Disability Rights, ekisangibwa mu Geneva, Switzerland. Alipoota ze z'ekenenyezebwa Human Rights Council.[4]

Okuva nga 1 Ogwokuna 2018 yegatta ku World Blind Union nga omuwi w'amagezi ku Nkola z'ekitongole ku Ddembe ly'abantu.[5]

Ebirala[kyusa | edit source]

Florence Ndagire mufumbo eri John Mary Nsimbi, munnayuganda, era wamu bazadde b'omulenzi omu n'abawala babbiri. Nsimbi akolera mu Uganda, atte ekifo Ndagire kyakoleramu kiri mu Switzerland. Atera okulinya enyonyi nagenda okukebera ku mukyaala we.[4]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya[kyusa | edit source]