Florence Nebanda
Florence Andiru Nebanda, gwebasinga okumannya nga Florence Nebanda, munabyabufuzi Omunayuganda ng'ate munamateeka ali kukakiiko akakola amateeka.[1][2] Ye Mubaka Omukyala owa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ya Butaleka mu Paalamenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwokubiri gwa 2013,[3] ng'adira mutoowe mu bigere Cerinad Nebanda, eyafa ng'ali mu ofiisi eno mu Gwekumineebiri mu 2012.[4][5] Mu 2021, baddamu nebamu londa mukifo kyekimu.[6]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Y'asooka mu famire y'abaana omunaana, nga omulenzi ali omu n'abawala musanvu nga baamuzaalira Entebbe nga 9 Ogwekumi mu 1986 nga kitaawe ye omugenziPeter Waiga ne maama we Alice Namulwa. Yagenda ku masomero gamu Uganda okutuusa bweyamaliriza S6 ku Katikamu SDA Secondary School e Wobulenzi mu disitulikiti ye Luwero mu 2013.[2] Yasenga ng'agenda mu Bungereza okwenyongerayo n'emisomo gye. Yakomawo mu Uganda oluvannyuma lwa muganda we Cerinah Nebanda okuva mu Gwekumineebiri mu 2012.[7] Kigambibwa alina Diguli mu kudukanya n'Okumannya embeera z'Abvakozi gyeyafuna okuva ku University of East London mu 2008 wamu ne Diguli ey'Okubiri mu kumannya n'okudukanya embeera z'abakozi munsi yonna, okuva ku University of Bedfordshire mu ggwanga lya Bungereza.[8][2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nga 14 Ogwekumineebiri mu 2012, Cerinah Nebanda, eyali Omubaka wa Paalamenti omulonde akiikirira konsitituweensi ya Butaleja yafa mungeri ya kibwatukira,ekyaletera ekifo kino okubeera nga kyali tekirina muntu akidukanya. Mu kulonda okwali okw'ekitundu ekimu okujuza ekifo kino ekitaalimu mubaka, mukulu we Florence Andiru Nebanda yawangula ng'agidde ku tikiti y'ekibiina kye by'obufuzi ekya National Resistance Movement. Yalina okuwereza ekisanja ekyali kisigaddeyo okutuusa akalulu ka bonna akaalina okubeerawo mu Gwokusatu gwa 2016.[3] Yaliko ne kukakiiko akavunaanyizibwa kunsonga za Pulezidenti wamu n'embalirira.[2]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Nebanda ayagala nnyo okubaka nga byebimu ku by'asinga okwenyigiramu, kuba y'oku kubaali ku ttiimu ya Paalamenti eyeetaba mu mpaka z'okubaka mu Paalamenti eyomwenda. Atera okusoma obutabo wamu ne bayibuli.[2]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]- Paalamenti ya Uganda
- Disitulikiti ya Butaleja
- Omubaka wa Paalamentii
- Ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement
- Olukalala lwa babaka ba Paalamenti ya Uganda eyekumineemu
- Olukalala lwa babaka ba Paalamenti ya Uganda eyomwenda
- Olukalala olukwata ku biwandiiko eby'ekuusa ku Uganda
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20130318221801/http://www.newvision.co.ug/news/639000-nebanda-s-sister-changes-name.html
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-29. Retrieved 2023-04-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 http://www.redpepper.co.ug/florence-nebanda-wins-butaleja-seat-by-a-landslide/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Lawyers-ask-President-to-respect-MPs-on-Nebanda/-/688334/1652720/-/92lfdgz/-/index.html
- ↑ https://redpepper.co.ug/political-dynasty-in-the-making-as-nebanda-wins-butaleja-primary/4885/
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nebanda-andiru-florence-10209/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-24. Retrieved 2023-04-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)