Florence Nsubuga
Florence Nakimbugwe Nsubuga (Florence Nakimbugwe), naye nga amaniyikiddwa nga Florence Nsubuga, Munnayuganda, mukyala munnabizinesi ne addukanya ekitongole, nga okuva mu 2012, aweereza nga Omukulu akulembera (COO) Kkampuni esinga okubunya amasannyalaze mu Uganda eya Umeme Limited.[1] ng'alina emigabo mu Uganda Securities Exchange ne Nairobi Stock Exchange.[2] Okutandiika n'oGwokusatu 2015, era aweereza nga mmemba ku Kakiiko k'aba Dayilekita ba Umeme.[3]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu kitundu ky'omumasekkati ga Uganda, mu mwaka oguteeberezebwa okuba 1973. Yasomera mu masomero ag'abulijo mu Pulayimale ne Ssekendule. Yafuna Diguli mu esooka mu by'obusuubuzi eya Bachelor of Commerce (BCom) degree, nga yakuguka mu bya Kitunzi, okuva mu Ssettendekero wa Makerere mu 1996. Yeyongerayo nafuna Diguli ey'okubiri mu by'enfuna eya Master of Arts (MA) degree, in Economic policy planning, nga nayo yagifuna Makerere. Mu Gwekkuminogumu 2017, yali asoma Diguli ey'okubiri mu kukwasaganya Bizinensi eya Master of Business Administration (MBA) okuva mu University of Edinburgh, ey'omu Scotland. Era ayise mu kutendekebwa okw'ekikugu okuva mu ssomera lya Harvard Business School.[3][4]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Emirimu gye yagitandiika mu 1996, mu kitongole ekibunya amasanyalaze mu Uganda eya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL), ng'atendekebwa. Umeme bweyeddiza obuvunanyizibwa obw'okubunya amasanyalaze okuva ku UEDCL, yagenda mu Umeme.[5] Emyaka gyonna yali alinyisibwa amadaala okutuusa lw'eyalondebwa mu kifo ky'akulira Kkampunii eyo (COO) mu 2012. Mu lugendo lwe okutuuka ku ntikko, yali aweereza mu buvunanyizibwa obw'enjawulo omuli (a) akwasaganya okutuusa emirimu (b) Maneja w'ekitundu ky'oBuvanjuba bwa Kampala ne (c) Maneja akwasaganya ensonga z'okuvaako kw'amasanyalaze. Mu busobozi bwe nga COO wa Umeme, alondoola abakozi abasoba mu 600 butereevu n'abalala 1,000 batatuukirira butereevupeople indirectly.[4][5]
Obuvunanyizibwa obulala
[kyusa | edit source]Mukyala mufumbo era alina abaana ab'obuwala babiri, Sanyu ne Suubi. IMu 2015, yawangula eky'omukyala ow'enkizo mu by'amasanyalaze - Awaadi ya 2015 African Utility Week Award.[4][6]
Laba na Bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.monitor.co.ug/Business/Commodities/-/688610/1325502/-/dgl2u5/-/
- ↑ http://www.businessdailyafrica.com/Umeme-lists-at-NSE/539552-1643322-uaa1lc/index.html
- ↑ 3.0 3.1 http://umeme.co.ug/wp-content/uploads/2017/05/UMEME-Annual-Report-2016_mini.pdf
- ↑ 4.0 4.1 4.2 https://www.linkedin.com/in/florence-nsubuga-5a116173/
- ↑ 5.0 5.1 "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-17. Retrieved 2023-03-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1332572/influential-ugandan-ceos-scoop-awards