Jump to content

Fort Lugard, Kampala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Fort Lugard kigo era kkaddiyizo lya bintu eriri mu kibuga Kampala Uganda era kye kifo ekyasoomu Abafuzi b'amatwale mwe baasinziiranga okukulembera ettwale lya Uganda. Ekifo kino oluvannyuma kyatwalibwa Obwakabaka bwa Buganda kyokka Pulezidenti Amin bwe yajja yezza ettaka kwe kiri era n'aligabira aba Uganda Muslim Supreme Council .[1]

We kisangibwa[kyusa | edit source]

Ekigo kino kisangibwa ku luguudo lwa Kampalamukadde (Old Kampala Road ku lusozi Kampalamukadde nga kitunudde mu ssomero lya Old Kampala Primary School era nga kiriraanye omuzikiti gwa Uganda national Mosque. Ennamba ekizimbe kino kwe kitundde ziri 0.3170472364181185N, 32.56789748465698E(Latitude:0.3170472364181185, Longitude: 32.56789748465698).[2]

Ebyafaayoo byakyo[kyusa | edit source]

Mu 1908, ekkaddiyizo eryasooka kigambibwa nti lwe lyaggulwawo mu kigo kino ekya Fort Lugard. Oluvannyuma ekkaddiyizo lino lyasengulwa okuva ku Fort Lugard ne lizzibwa e Makerere mu 1942.[1] Ekifo kya Fort Lugard kyazimbibwa Sir Frederick Lugard eyasooka okubeera omukulu wa Gavumenti ya Bungereza enkuumi mu Uganda nga yakizimba mu 1890. Lugard yali mujaasi wa Bungereza, Omulambuzi eyabuna Africa, era omufuzi w'amatwale. Okuva mu Gwekkumineebiri nga 26, 1890 okutuusa mu Gwokutaano 1892, Lugard yasindikibwa kkampuni ya Imperial British East African Company(IBECO) okujja e Uganda okubeera munnamagye akulembera Uganda.[3] Ku kizimbe kye kimu Lugard kwe yawanikira bendera ya Bungereza eya Union Jack, ng'akabonero okulaga nti Uganda yali efuuliddwa ettwale erikuumibwa Bungereza. Era okumala emyaka egiwera, ekigo kino kye kyali ekizimbe kya Gaviumenti ya Bungerza mu enkuumi mu Uganda.

Kyasooka kuba ku bugazi bwa yiika 12 oluvannyuma ezaafunzibwa ne zifuuka 10. Ekifo kino kyamenyebwako ettundutundu lyakyo mu kuzimba omuzikiti omukulu ogwa Uganda National mosque wansi wa Uganda Muslim Supreme Council ku ttaka eryabaweebwa Pulezidenti Idi Amin.[1]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Uganda Museum

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-28. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.google.com/maps/place/Fort+Lugard/@0.3162104,32.5679404,15z/data=!4m14!1m7!3m6!1s0x177dbc9d63af8fa1:0x2db76232a866eaca!2sFort+Lugard!8m2!3d0.3162104!4d32.5679404!16s/g/1tp6lw48!3m5!1s0x177dbc9d63af8fa1:0x2db76232a866eaca!8m2!3d0.3162104!4d32.5679404!16s/g/1tp6lw48
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-01. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa okuva ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]