Jump to content

Francis Zaake

Bisangiddwa ku Wikipedia


Zaake Francis.jpg

Francis Zaake musuubuzi era omubaka mu Paalamenti ya Uganda akiikirira Municipaali y'e Mityana, nga yasooka olulondebwa mu kifo kino nga yeesimbyewo ku bwannamunigina mu era n'alondebwa mu 2016 kyokka oluvannyuma ne yeegatta ku kibiina kya National Unity Platform mu kulonda okwakaggwa okw'omwezi Ogwoluberyrberye 2021. Yali mmemba ku kakiiko k'ebyokwerinda n'ensonga ez'omunda bwe yali mu Paalamenti ey'e 10 nga kati Kaminsona mu Paalamenti ey'e 11.[1]

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Zaake yazaalibwa nga 12 Ogwoluberyeberye, 1991 ku kyalo Butebi, mu Disistulikiti y'e Mityana. Mutabani wa Emmanuel Ssembuusi Butebi ne nnyina Teddy Naluyima. Ye mwana waabwe asooka mu ffamire ey'abaana 12 omuli abawala munaana n'abalenzi bana.[2]

Okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Zaake emisomo yagitandikira mu Fairway Primary School, erisangibwa e Mityana, gye yafunira satifikeeti ya P7 eya Primary Leaving Examinations (PLE) Certificate mu 2006. Oluvannyuma yasomera mu Mityana Modern Secondary School, n'atuula ebya S4 mu 2010. mu 2012, yatuula ebigezo bya S6 n'afuna ebbaluwa ya Uganda Advanced Certificate of Education mu ssomero lya Merryland High School, Entebbe. Yeegatta ku Ndejje University

gye yatikkirwa Diguli mu ssomo lya procurement and logistics management.[3]

Ebyobufuzi

[kyusa | edit source]

Bwe yali ku Ndejje University, mu Disitulikiti y'e Luweero, yalondebwa okubeera omuyizi akulira ababayizi mu mwaka gw'ebyensoma ogwa 2015/2016, mu mwaka gwe ogwasembayo ku Yunivasite eyo.[3][4] Y'omu ku bakulembeze b'ekisinde kya People Power ekulemberwa mubaka munne mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu.[5]

Mu nnaku ezaakulembera okuddamu okulonda okw'akalulu k'omubaka mu Paalamenti owa Munisipaali y'e Arua, okwaliwo mu Gwomunaana nga 15, 2018, Francis Zaake yakubibwa era n'akosebwa nnyo bwe yalumbibwa abaserikale ba poliisi ya Uganda ne bannamagye. Obujjanjabi yabufuna mu ggwanga lya India, okujjanjabwa obuvune bwe yafuna mu kanyoolagano ako.[6]

Mu Kasambattuko akaali mu Arua mu Gwomunaana nga 13, 2018, abantu 34 be baakwatibwa ne basibwa era ddereeva wa Kyagulanyi, Kyagulanyi, Yasin Kawuma yakubwa amasasi agaamuttirawo.[7]

Mu Gwomwenda, 2018, Zaake yavunaanibwa emisango gy'okulya mu nsi ye olukwe bwe yali akyali ku ndiri olw'ebisago ebyamutuusibwako.[8]

Mu Gwokuna, 2020, poliisi yakwata era n'eggalira Zaake olw'okugabira abalonzi be emmere mu muggalo gwa Covid19. Poliisi oluvannuma yannyonnyola nti Zaake yali tagoberedde mateeka na biragiro by'okutangira okusaasaana kwa COVID-19 ebyateekebwawo akakiiko akaali kalwanyisa ekirwadde ekyo nga kakulirwa eyali Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda.[9]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu okuva wabweru

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-01. Retrieved 2021-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://observer.ug/lifestyle/56635-in-s-2-mp-francis-zaake-s-savings-account-had-shs-105m
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  4. https://campusbee.ug/news/bitterness-rage-ndejje-university-former-guild-president-beaten-pulp-parliament/
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
  6. https://observer.ug/news/headlines/58987-i-remember-the-faces-of-my-tormentors-zaake-recounts-torture-ordeal
  7. https://observer.ug/news/headlines/58421-bobi-wine-driver-mugerwa-shot-dead.html
  8. http://www.africanews.com/2018/09/03/ugandans-crusade-for-tortured-mp-zaake-to-be-allowed-to-travel//
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/virus-lockdown-mp-zaake-arrested-for-distributing-relief-food-1886052