Freda Mubanda Kasse

Bisangiddwa ku Wikipedia

Freda Mubanda Kasse Nanziri era ng'amanyikiddwa nga Mama Masaka, Girl Mubanda (yazalibwa: 30 Ogwomunaana 1943 - Yafa: 15 Ogwekkuminebiri 2020)

Yali Munnayuganda omubazi wa Mateeka.[1][2] Yali mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Masaka mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda okuva mu 2011 okutuusa 2016 nga yali ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya NRM[3][4][5][6][7]

Obulamu bwe obw'omunda[kyusa | edit source]

Freda yazaalibwa nga 30 Ogwomunaana 1943 eri Yokana Kase ne Manjeri Mukebiita mu Bukoba ekisangibwa mu Bukiikakkono bwa Tanzania. Yali mwana w'akubiri mu baaba kkumi.[8]

Freda yafa nga 15 Ogwekkuminebiri 2020 ku myaka 76 nga yafiira mu Ddwaliiro lya Aga Khan hospital mu Nairobi, Kenya olw'okufuna obuzibu mu kussa.[9][10]

Freda pulayimale ye yagisomera ku Kabwoko Girls School. Neyegatta ku Gayaza High School ne Makerere University yafuna Diguli mu by'obufuzi n'ebyafaayo eya degree in political science and history okuva mu 1959 okutuusa mu 1964.[11] Mu 2004, yaddamu natikkirwa ku Makerere Yunivasite ne Dipuloma.[11]

Okuva 1964 okutuuka 1999, Freda yaweerezaako ne Ministule ya Uganda ekwasaganya ensonga z'ebweru saako n'ekitongole ky'amawanga amagatte okuva mu 1971 ne 1999.

Emirimu gye mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2011, Freda yafuuka omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Masaka mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda nga oluvanyuma lw'okuwangula Sauda Namaggwa.[12]

Mu Gwekkumi 2015, Freda yasimatuka akabenje k'elyato akaali ku Nyanja Nnalubaale bweyali agenda ku mwalo gwe Gwamba mu kakuyege we ow'akalulu k'ekibiina kya NRM akaali kanyinyitira nga 16 Ogwekkumi 2015.

Nga 16 Ogwekkumi 2015, Freda yalondebwa ng'omubaka omukyala an'akiikirira Disitulikiti y'e Masaka ku bbendera y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya NRM.

Yesimbawo mu kifo kye kimu mu kalulu ka 2016 naye n'awangulwa Mary Babirye Kabanda ow'ekibiina kya DP mu kulonda kweyafunamu obululu 34,119 okusinzira ku eyali avuganya naye nga ye yafuna obululu 51,938.[13]

Nga tannaba kufa mu 2020, Freda yaweereza nga Sentebe wa Liigi y'abakyala ba NRM mu Disitulikiti y'e Masaka.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijulizddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://dailyexpress.co.ug/2020/12/16/masaka-district-nrm-woman-mp-candidate-dies-of-covid-19/
  2. https://www.newvision.co.ug/news/1535379/hon-freda-mubanda-dead
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/former-masaka-woman-mp-mubanda-dies-at-77-3231986
  4. https://www.dispatch.ug/2020/12/17/masaka-nrm-woman-mp-candidate-dies-in-kenya-of-suspected-covid-19/
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/masaka-woman-mp-survives-boat-accident-1626600
  6. https://observer.ug/news/headlines/67782-masaka-nrm-flag-bearer-dies-in-kenya-of-suspected-covid-19
  7. https://www.newvision.co.ug/news/1317647/
  8. https://www.gatheringus.com/memorial/freda-nanziri-kase-mubanda/6102?c=973
  9. https://www.kenyans.co.ke/news/60364-former-uganda-mp-dies-nairobi
  10. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nrm-candidate-for-masaka-woman-mp-seat-dies-in-nairobi-3230820
  11. 11.0 11.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/72-year-old-elected-nrm-flag-bearer-1630864
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/masaka-woman-mp-rejects-election-results-1641396
  13. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/court-upholds-dp-s-kabanda-election-1693450