Geofrey Kusuro
Appearance
Geofrey Kusuro (yazaalibwa nga 12 Ogwokubirir 1989) munnayuganda omuddusi w'embiri empanvu. Yavuganya ku misinde gya 2008 Summer Olympics mu mbiro z'abasajja eza mmita 5000, wabula teyatuuka ku mbiro z'akamalirizo.[1] Ku misinde gya 2012 Summer Olympics, yavuganya mu mbiro z'abasajja eza mmita 5000, era n'amalira mu kifo kya 37 mu lawundi eyasooka, nga kino ky'amulemesa okuyitamu ku mpaka z'akamalirizo. Era yakiikirira Uganda mu mpaka z'ensi yonna eza 2009 ne 2011 .[2]
Yazaalibwa mu itundu ky'e Mutishet.[3]
Yawangula embiro za 2009 World Mountain Running Championships, era nga kino ky'amufuula munnayuganda eyasooka okuwangula engule eyo.[4]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20200418082209/https://www.sports-reference.com/olympics/athletes/ku/geoffrey-kusuro-1.html
- ↑ https://www.iaaf.org/athletes/uganda/geofrey-kusuro-205669
- ↑ https://www.sports-reference.com/olympics/athletes/ku/geoffrey-kusuro-1.html
- ↑ https://www.iaaf.org/athletes/uganda/geofrey-kusuro-205669
Lua error: Invalid configuration file.