Jump to content

George Cosmas Adyebo

Bisangiddwa ku Wikipedia

George Cosmas Adyebo (18 Ogwomukaaga 1947[1] – 19 Ogwekkuminogumu 2000) yali Munnayugandan munnabyabufuzi eyali Ssabaminisita wa Uganda okuva mu 1991 okutuusa 1994.

Adyebo yafuuka Ssabaminisita nga 22 Ogusooka 1991, nga yadda mu bigere bya Samson Kisekka, eyafuulibwa Omumyuka wa Pulezidenti. Adyebo yaweereza nga Ssabaminisita okumala emyaka ena okutuusa nga 18 Ogwekkuminogumu 1994.

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Adyebo George Cosmas yazalibwa nga 18 Ogwomukaaga 1947[2] mu kyalo kya Owiny, mu ggombola ly'e Nambyeco, Kwania, Apac eri Mw. William Ogwal ne Imat Giradeci Acio.

Adyebo yasomera ku St. Aloysius College, Nyapea eryali limanyikiddwa nga St Pious XII Junior Secondary School Aduku -nga kaakano liyitbwa Ikwera Boys, oluvanyuma lwa Abuli Primary School, Nambyeco, gyeyakolera likodi mu bigezo by'akamalirizo ebya Primary Leaving School Certificate (PLE) mu 1961. Tewali muyizi n'omu yali agyimenyewo. Eyali omusomesa we mu Pulayimale yakikakasa nti Adyebo yabuusibwa ekibiina n'ateekebwa mu ky'okuna olw'amagezi ge ag'atetaagisa ye kusoma kibiina kya kubiri n'ekyokusatu.

Ku myaka emito, Adyebo yali yatandiika okulaga obubonero bw'obukulembeze mu bavubuka banne. Bwe yali mu 'O' levo ku St. Aloysius College Nyapea, yaweereza ng'omukulembeze w'abayizi. Ng'ali ku Namilyango College, yali musambi w'amupiira era ng'azannyira tundutundu lya Buganda. Oluvannyuma yasambira Disitulikiti y'e West Nile (nga kati mulimu Disitulikiti nga Arua, Nebbi, Moyo ne Adjumani).

Oluvannyuma lw'okuyita emisomo gye egya 'A' level ku Namilyango College, yaweebwa sikaala okusomera mu Yunivasite ya Charles University mu Prague. Yatikkirwa Diguli ey'okusatu eya master's degree in Economic Engineering specializing in Mechanization & Automation of Management.

Emirimu gye egyasooka

[kyusa | edit source]

Okuva mu 1976 okutuusa mu 1979, Adyebo yakola ne Kkampuni ya Uganda Computer Services, ettabi lya Mnisitule y'ebyensimbi nga tannalinyisibwa n'akukozesebwa Minisitule y'ebyenjigiriza.

Okuva mu 1979 okutuusa mu 1983, Adyebo yasomesaako ku Uganda College of Commerce Nakawa nga kati emanyikiddwa nga Makerere University Business School. Amasomo ge yali asomesa mwalimu; Okwekennenya enkola y'eirimu na butya bwegiyinza okutumbulwa, okuzimbz ebyumz bikalimagezi ne pulogulamu ezenjawulo okusobola okukozesebwa, okwekennenya embeera wamu n'obubalirizi bw'ebitabo. Era yali asomesa nabayizi abaali bakola ebigezo bya Award of Certified and Chartered Accountants (ACCA), Institute of Chartered Managers and Administrators (ICMA) ne Institute of Chartered Secretaries and Administrators (ICSA).

Oluvanyuma lw'okusomesa ku Makerere Business School, Yafuuka Pulinsipo w'esomero lya Uganda College of Commerce Aduku wakati wa 1983 ne 1989 - era nga mmemba mu kakiiko ka Council V mu Disitulikiti y'e Apac .

Adyebo yafa nga 19 Ogwekkuminogumu 2000 ku ddwaliro lya Kampala International Hospital oluvanyuma lw'okulwanagana ne Kkookola okumala emyaka.[3]

Emirimu gye egy'obufuzi

[kyusa | edit source]

Adyebo yali mubaka mu Paalamenti owa Kwania nga tannafa 19.11.2000. Mu biseera bye eby'ebyobufuzi, Adyebo yalwana bwezizingirire okuleetawo enkyukakyuka mu nkola z'a Gavumenti ya Uganda n'okukulakulanya ebyenfuna by'eggwanga. Yalekawo omukululo gw'amaanyi ogw'abannayuganda naddala ab'omubukiikakkono bwa Uganda okulabirako. Oluvanyuma lw'okuba nti yava mu maka amakkakamu, byonna ebikolwa bye by'oleka omusajja omuyivu era ow'empisa. Obuwanguzi bwe ne Pulojekiti ze zikyali mu mitima gy'abannayuganda abawerako naddala abo abetegefu okulangirira obwesimbu bwe, okukola kwen'okubeera eky'okulabirako ekirungi mu by'obufuzi. Obuvunanyibwa ow'enjawulo mu byobufuzi buwandikiddwa wansi:

1997–2000: Mmemba wa Paalamenti owa Kwania

1994–1997: Oumyuka wa Sipiika wa Paalamenti n'omuwabuzi wa Pulezidenti omukugu. Mu 1995, Adyebo yalondebwa okubeera omukungu mu kaseera k'okubaganya ebirowoozo n'okuwandiika Ssemateeka wa 1995.

1991–1994: Ssabaminisita wa Uganda nga yasikira Samson Kiseka era n'adda mu bigere bya Kintu Musoke.


1989: Mmemba w'ekisinde kya National Resistance Movement oluvanyuma lw'okweyunga ku kakiiko ka Apac Disitulikiti.

Ebikwata ku Famire ye

[kyusa | edit source]

Adyebo yasisinkana mukyalawe Nelly Adyebo mu kaseera ng'akyasomesa ku UCC Aduku. Balina abaan bana; Moses Oteng, Carolyne Acio, Christine Ayo ne Abraham Ogwal.

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://books.google.com/books?id=cI8UAQAAIAAJ&q=George+Cosmas+Adyebo+1947
  2. https://books.google.com/books?id=iicWAQAAIAAJ&q=George+Cosmas+Adyebo+18+June+1947
  3. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1018110/adyebo-dead

Template:S-start Template:S-off Template:Succession box Template:S-end