Geraldine Ssali Busuulwa

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Geraldine Ssali Busuulwa Munnayuganda, mubazi w'ebitabo era Kalabaalaba wa bizinensi y'akulira eby'ensimbi mu Minisitule ya Uganda ey'ebyobusubuuzi, n'amakolero. Yalondebwa ng'omuwandiisi ow'enkalakkalira nga 15 Ogwomusanvu 2021.[1]

Ng'ebye tebinnabaawo, yaweereza nga Omumyuka w'akulira ekitavvu ky'abannayuganda ekya National Social Security Fund (Uganda) (NSSF Uganda) okuva nga 20 Ogwokusatu 2011, okutuusa nga 29 Ogwekkumi 2017.[2] Yasooka okulondebwa mu kifo ekyo nga 20 Ogwokusatu 2011 nga yalondebwa Minisita w'ebyensimbi Syda Bbumba.[3] Nga 29 Ogwekkumi 2014, yaddamu n'alondebwa mu kifo ekyo oluvanyuma lw'emyezi kkumi ng'aweereza nga Acting managing director.[4]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Ddwaliro ly'e Lubaga eri Agnes Ssali ne Gerald Ssali, mu mwaka oguteeberezebwa okuba 1975. Yasomera ku Gayaza High School mu kweteekateeka okwegatta ku Yunivasite.[5] Yasomera ku Ssettendekero wa Uganda asinga obugazi n'obukulu Makerere University, nga yatikkirwa Diguli esooka mu byembalirira n'ebyensimbi eya Bachelor of Science degree in mathematics, statistics, and economics. Era alina Diguli ey'okubiri eya Master of Business Administration degree okuva mu Manchester Business School. Mubazi w'abitabo omukugu era mmemba w'ettendekero ly'ababazi b'bitabo eya Chartered Institute of Management Accountants.[5]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Ngatannaweebwa mirimu mu NSSF Uganda, mu Gwokusatu 2011, yakola nga omukulembeze akulira manejimenti mu Ggwanika lya Nnaabagereka w'oBwakabaka bwa Bungereza. Yaweereza ng'omumyuka w'akulira ekittavvu kya Uganda ekyabakozi ekya NSSF Uganda okuva nga 20 Ogwokusatu 2011 okutuusa nga 31 Ogwekkuminebiri 2013. Ku lunaku olwo, kontulakiti ya eyali akulira ekittavvu Richard Byarugaba, uali eweddeko era teyaddizibwa buggya mu bwanggu.[6] Busuulwa yalinyisibwa edaala n'afuulibwa Maneja ow'okuntikko (MD) nga bwebanoonya asaanidde okutuula mu ntebe eyo.[7][8][9] Oluvanyuma lw'emyaka kkumi egy'okunoonya, Byarugaba yalondebwa mu kyali ekifo kye era n'amyukibwa Busuulwa.

Mu Gwokkumi 2017, eyali Minisita ow'ebyensimbi Matia Kasaija, yagaana okuddamu okuzza obuggya Kkontulakiti ya Geraldine Busuulwa, ng'agoberera okuwabulwa kw'akakiiko akamutwala. Akakiiko tekaalaba "mulimu gumatiza", gweyali akoze mu kisanja kye. Yasikizibwa Patrick Ayota, eyali akulembera eby'ensimbi mu NSSF Uganda, okuva mu 2010 okutuusa mu 2017.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ramathan-ggoobi-new-ministry-of-finance-ps-kamya-appointed-igg-3474912
  2. http://www.monitor.co.ug/News/National/Finance-Minister-declines-to-renew-Ssali-contract/688334-4152502-135ka1e/index.html
  3. https://web.archive.org/web/20141030085620/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/749634
  4. http://www.monitor.co.ug/News/National/Byarugaba-re-appointed-NSSF-boss/688334-2503666-8pu6a6/index.html
  5. 5.0 5.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-23. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-07. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://web.archive.org/web/20141030195627/http://www.independent.co.ug/business/business-news/9419-nssfs-shs-366-billion
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1313363/nssf-calls-field-invest-savings
  9. http://www.monitor.co.ug/Business/Shs170b-set-aside-to-boost-savers--interest---NSSF-board/-/688322/2502932/-/rxwpet/-/index.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]