Giosue Bellagambi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Giosue Ebong Bellagambi (yazaalibwa nga 8 ogwekkuminogumu 2001) azannya mupiira gw'ensimbi era ng'akuuma ggoolo mu kiraabu y'e Bungereza eya Huddersfield Town, nye yasindikibwa ku bwazike mu ttiimu y'ekibinja kyawansi eya National League North mu Spennymoor Town. Yazaalibwa Bungereza, naye azannyiri ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.

Emirimu gye ku ttiimu[kyusa | edit source]

Bellagambi yakulira mu ttiimu y'abavubuka eya Lambeth Tigers ne Whyteleafe, era ne yeegatta ku ttiimu y'abato eya Huddersfield Town mu 2018. Nga 6 August 2020, yateeka omukono ku ndagaano okutandika okucanga ogw'ensimbi mu Huddersfield Town.[1] Yatandika olugendo lwe olw'okuzannya ogw'ensimbi ku bbanja mu ttiimu ya Ramsbottom United mu gwekkuminogumu 2020, gye yasambira emipiira ena.[2] Yasambira ttiimu endala ku bbanja eya Ebbsfleet United, era endagaano yaggwaako mugwokusatu 2021.[3] Yasambirako Stalybridge Celtic ku bbanja mu kiseera kya mwezi gumu mu gwomunaana 2021 oluvannyuma lw'okuwona akagalo akamenyese.[4] Nga 27 ogwekkuminebiri 2021, yeegatta kuBrighouse Town gye yasambira ku bbanja lya nnaku 28.[5]

Nga 26 ogwoluberyeberye 2022, yayongezaayo endagaano ye ne Huddersfield Town okutuuka 2024.[6] Nga 8 ogwomunaana 2022, yeegatta ku Hyde United ku bbanja lya myezi esatu.[7] Nga 6 Ogwekkumi 2022, endagaano ye ku bbanja yasazibwamu Huddersfield.[8] Olunaku olwaddako yateeka omukono ku ndagaano y'ebbanja ne National League North mu Spennymoor Town ku bbanja okutuuka nga 2 ogwoluberyeberye 2023.[9]

Emirimu gye ku ggwanga[kyusa | edit source]

Bellagambi yali mu kutendekebwa kw'abavubuka abangereza n'abayitale.[10] Yasooka okuyitibwa ku ttiimu y'eggwanga Uganda eyali egenda okuvuganya okukiika mu mpaka za Africa eza 2023 mu mizannyo egyaliwo mu gwokutaano 2022.[11] Yazannya omupiira gwe ogwasooka ku Uganda bwe yali eremagana ne Libya 0–0 mu mupiira gw'omukawano nga 21 ogwomwenda 2022.[12]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Bellagambi yazaalibwa Bungereza Taata mu Italy nga maama Munnayuganda. Bazadde be baasisinkana kitaawe bwe yali avudde e Italy ng'agenze okulaba omupiira Fiorentina ng'ezannya Arsenal mu mupiira gwa Ttiimu empanguzi ku Bulaaya mu gwekkumi 1999.[13]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Omutimbagano[kyusa | edit source]