Gloria Muzito
Gloria Muzito ebiseera ebisinga batera kumuyita Anna Gloria Muzito ob Gloria A. Muzito, nga yazaalibwa nga 29 Ogwekuminoogumu mu 2002, nga Munayuganda omuwuzi eyazaalibwa. Yawangula omudaali gw'ekikomo mu mizannyo gya All Afrca Games egyaliwo mu 2020 mu mita 100 ez'obukodyo bw'okuwuga obw'enjawulo n'atekawo likodi y'eggwanga empya.[1][2]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Oluvannyuma lw'okugenda e Sweden, Muzito yasomera ku Hedbergska Skolan Sundsvall wwamu nemu jiimu ya Sundsvall.[3]
Awereddwa ebitiibwa eby'enjawulo mu nkungaana eziwerako nga eya Atlantic Coast Conference gamba nga eya All-ACC Academic Team ne ACC Honor Roll wakati wa 2021 ne 2022.[4] IMunkomerero lya 2022, y'omu kubayizi abeenyigira mu by'emizannyo abaafuna engule ya 2022 eya Go Teach Dr Pepper Tuition Giveaway okuyamba okweyongerayo mu by'enjugiriza bye.[5] Okutuuka mu Gwokusatu mu 2024, Muzito muyizi ku Florida State University, wamu n'okubeera omuyizi w'okudukanya eby'emizannyo.[4]
Emirimu gye mu kuwuga
[kyusa | edit source]Ku mutendera gw'eggwanga, Muzito yakiikirira Uganda[6].Yakiikirira Uganda mu mizannyo gy'okuwuga egya 2024 egya World Aquatics Championships egyaliwo mu Doha mu Qatar[7][8]
Muzito yakiikirira Sweden wakati wa 2014 ne 2022, era nga yali ku ttiimu y'eggwanga lya Sweden ey'abato ey'okuwuga mu mpaka z'ebulaaya za 2016 eza European Junior Swimming Championships mu 2016 n'eza 2017 eza European Youth Summer Olympic Festival ng'ali wamu ne Robin Hanson, yasobola okuwangula omudaali gw'ekikomo mu kuwuga kwebaali babagase.[9][10]
Y'omu kubali ku ttiimu y'okuwuga eya Florida State University wansi w'erinya ly'eby'emizannyo erya Florida State Seminoles[3] Muzito yali omu ku kiraabu y'okuwuga eyitibwa Dolphins mu Kampala wamu ne Sundsvall Simsällskap Sweden[11]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/muzito-moondlights-olympic-case-4552528
- ↑ https://nbssport.co.ug/2024/03/10/gloria-anna-muzito-secures-bronze-in-100m-freestyle-at-all-africa-games/
- ↑ 3.0 3.1 https://seminoles.com/sports/womens-swimming-and-diving/roster/gloria-muzito/6406
- ↑ 4.0 4.1 https://swimswam.com/fsus-gloria-muzito-wins-scholarship-for-accs-future-educators/
- ↑ http://theacc.com/news/2022/12/2/athlete-awards-acc-and-cfp-foundation-to-recognize-outstanding-teachers-and-fund-classroom-projects.aspx
- ↑ https://www.ugandaswimming.org/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_181286
- ↑ https://seminoles.com/news/2024/2/2/mens-swimming-and-diving-noles-set-for-world-championships-in-doha
- ↑ https://swimswam.com/sweden-releases-team-list-european-junior-championships/
- ↑ https://www.st.nu/2017-07-19/gloria-muzito-redo-for-stort-internationellt-masterskap-kul-att-fa-representera-sitt-land/
- ↑ https://dolphinsswimclub.ug/spotlight/gloria-muzito-14/
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | edit source]- Gloria Muzito ku muzannyo gya World Aquatics
- Gloria Muzito ku The Florida State Seminoles
- Gloria Muzito ku kiraabu y'okuwuga eyitibwa Dolphins
- Gloria Muzito ku kibiina ekifuga omuzannyo gw'okuwuga mu gganga lya Sweden
- Gloria Muzito ku kkakiiko akadukanya emizannyo gya Olympics mu ggwanga lya Sweden