Jump to content

Gloria Nansubuga

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Gloria Nansubuga munayuganda eyazaalibwa mu mwezi gw'okuminoogumu12 mu 2001 nga muzannyi wa cheesi[1] eyafuuka omuzannyi wa cheesi omuto mu byafaayo bya Uganda okufuna erinya lya Woman FIDE Master mu mwaka gwa 2018.[2][3]

Obuvo n'eby'enjigiriza bye

[kyusa | edit source]

Nansubuga yazalibwa Lydia ne Wilson Kasende, mu Kampala munigota z'omu Katwe, nga yamannyikwa nnyo ku olwa Phiona Mutesi ng'obulamu bwe bwetolorera nnyo ku firimu ya Queen of Katwe eyalimu omu zannyi eyawangula engule ya Oscar Lupita Nyong'o.

Yasomera ku Namirembe Infant Nursery ne Primary, gyeyava okugenda ku St.Mbuga Vocational Secondary school e Makindye gyeyamaliriza sekondale ye.[4]

Yatandika okuzannya cheesi ku myaka 4 ng'ayambibwako omutendesi Richard Kakande eyali omusomesa we owa cheesi ku St Mbuga Vocational school.[5]

Oluvannyuma yeegata ku akademi ebangula mu muzannyo gwa cheesi, Sports Outreach Ministry (SOM) Chess Academy and Mentoring Center mu Kampala.

By'akoze

[kyusa | edit source]

Ku myaka 13, Nansubuga yawangule engule y'omukazi mu mpaka za Rwabushenyi Memorial Chess tournament ng'era yeeyali akulembedde mu bazannyi abali wansi w'emyaka 14 mu Uganda nga wa 6 mu bakazi abazannya cheesi.

Yafuna ekitiibwa ky'omuzannyi wa cheesi ku World Chess Olympiad in Batumi, Georgia, n'afuuka omukazi kafulu mu muzannyo guno, Woman FIDE master, ekitiibwa ekisinga mu muzannyo gwa cheesi.[6]

Yaweebwa ekitiibwa ky'omukazi eyasinga omuzannya cheesi Woman Fide Master (WFM) oluvannyuma lw'okufun ebyaali byetagisibwa n'amaliriza n'obubonero 6 ku 9. Yayisa ekitiibwa kya Woman candidate master (WCM) okufuuka Woman FIDE master, ekyamufuula munayuganda eyasooka okukola ekintu kino mu mpaka ezo..[7]

Eneeyisa ye yatwalibwa omuzannyi wa firimu, omugenzi Nikita Pearl Waligwa mu firimu Queen of Katwe ng'omuwala omuto eyasomesa Phiona Mutesi engeri gyebazannyamu cheesi.[8]

Laba ne

[kyusa | edit source]
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://ratings.fide.com/profile/10000887
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220927121332/https://syllabusmagazine.com/here/tag/gloria-nansubuga/
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.watchdoguganda.com/news/20181012/50554/gloria-nansubuga-the-chess-master-raising-ugandas-flag-high.html
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)http://kawowo.com/2015/01/22/know-your-stars-the-13-year-old-chess-wizard-gloria-nansubuga/
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.waafrikaonline.com/2018/10/17-year-old-ugandan-chess-player-gloria.html
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://ratings.fide.com/profile/10000887
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://thisisafrica.me/lifestyle/uganda-chess-world-title-nansubuga/
  8. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/news/world-africa-51528522