Godliver Businge
Godliver Businge (yazaalibwa mu c. 1987) Munnayuganda omukugu mu kukola enguudo era omukulu akulira okutendeka kwa tekinologiya mu kitongole ky'abakyala ekya Global Women's Water Initiative.
Ng'akula, Businge tajjukira kwetikka ku kidomola ki liita 20 ku mutwe. Oluvanyuma lw'okumaliriza Siniya, n'okufa kwa mugandawe ne Taatawe, Businge yegatta ku African Rural University.[1] Naye bweyazuula nti ayagala kubeera Yinginiya, yakyuka n'eyegatta ku ttendekero ly'eby'emikono erya Uganda Rural Development Training Vocational Institute. Yalondawo by'abuzimbi ng'eno gy'ayayigira obwa ffundi, okuyiwa enkokoto,okukanika, okubajja, okuyunga, okwokya ebyuma. Yafuna sikaala okuva mu ba URDT, Yakolerangako mu bokya ebyuma,era yawangula empaka z'okutonatona awaka eza home design competition mu 2009 eza Uganda Vision 2035.[1] Yatikkrwa mu ssomo elyo ate n'eyeegatta ku St Joseph's Technical Institute, Kisubi, Uganda. Mu 2011 yatandikawo ebifo bya pico hydroelectric power stations mu Kagadi.[2] Yafuna Diguli mu kuzimba mu 2012, nga yeyasinga mu kibiina kyonna nga yakkirizibwa okwogerako eri bayizi banne. Oluvanyuma lw'okutikkirwa, yagaana omulimu ogw'ali gumuweereddwa aba Minisitule y'ebyenjigiriza olw'ebigendererwa eby'okweyongerayo mu misomo gyee.[1]
Businge akola ng'akulira abatendesi be by'a tekinologiya mu kibiina ky'abakyala ekya Global Women's Water Initiative (GWWI), ng'asomesa abakyala n'abavubuka mu Kenya, Tanzania, ne Uganda ku butya bw'oyinza okuzimba ensulo z'amazzi n'okugatereka.[3] She teaches the construction of bio-sand filters and water tanks. Ng'ayita mu Kitongole, Businge asaomesezza abakyala okuzimba era bano be baweebwa omulimu gw'okuzimba kabuyonjo eziri ku mutindo.[4]
Businge alina omwana omuwala era aweereza ku pulogulaamu ya Lediyo eya Ladies Night, nga abulira abakyala omugaso oguli mu kusoma.[5]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 http://media.wix.com/ugd/bce953_a8d10fa69d674fc5b738dc2a78a9a78a.pdf
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/kagadi-woman-lights-up-villages-with-small-water-dams
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-17. Retrieved 2024-04-16.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2015-07-14. Retrieved 2024-04-16.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20181018001128/http://issues.ayibamagazine.com/five-african-female-scientists-you-should-definitely-know-about
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Global Women's Water Initiative
- Businge's 2014 keynote speech at the African Food and Peace Foundation's annual dinner