Jump to content

Goretti Angolikin

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Goretti Angolikin (yazaalibwa mu mwaka gwa 1986) munnayuganda omuzannyi w'omuzannyo gwa chess.[1][2] Yalina ekitiibwa kya FIDE title eky'omukyaala wa FIDE Master okuva mu mwaka gwa 2015.[1] Mu mwaka gwa 2019, yafuna edition essooka eya Open Mind Chess Rapids eyali mu Kyadondo Rugby Club.[3]

Ebimukwaatako n'emisomo

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2017, yasibagana mu kifo ekisooka mu kibinja ky'abakyaala, ye ne WFM Ivy Claire Amoko bombi ne point mukaaga.[4] Angolikin oluvanyuma yawamba olunaku we basibagana n'awangula ekitiibwa kye ekya Rwabushenyi eky'asooka. Angolikin yasengekebwa e namba ya 1638 era ya maliriza mu kifo eky'omukaaga mu byonna.[4][5] Mu mwaka gwa 2010, yatuumibwa omuzannyi wa chess ow'omwaaka.[6] Mu mwaka gwa 2013, mu mpaka za National Chess championship, yafuna point 3.5 era n'ayitamu okwegatta ku bakyaala ab'olulango 3 bokka ; Grace Kigeni, Ivy Claire Amoko ne Phiona Mutesa mu mpaka z'abyaala ez'enkomerero eza National Chess Championship.[7] Mu mwaka gwa 2014, yali omu ku ttiimu z'abakyaala ez'amaanyi ttaano ez'alondebbwa Uganda Chess Federation (UCF) okukiikirira e gwanga mu kibinja ky'abakyaala mu mpaka za 2014 World Chess Olympiad ezaali ez'okubaawo mu Gwomunaana 1–15 mu Tromso, Norway.[8] Mu mwaka gwa 2012, yali mu mpaka z'ensi zonna ez'amakumi ana eza World Chess Olympiad ezalina ttiimu z'abakyaala nga Grace Kigeni, Clare Amoko, Phiona Mutesi, ne Rita Nsubuga.[9]

Yasoma sayansi w'entababibinja mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte ya Makerere].[6]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://ratings.fide.com/profile/10000429
  2. http://www.china.org.cn/world/Off_the_Wire/2016-07/14/content_38875205.htm
  3. https://www.pmldaily.com/tag/goretti-angolikin
  4. 4.0 4.1 https://kawowo.com/2017/12/04/kawuma-angolikin-win-rwabushenyi-memorial-open/
  5. http://www.nation.sc/archive/256918/rwabushenyi-memorial-chess-championship-dericka-figaro-earns-joint-third-place-
  6. 6.0 6.1 https://allafrica.com/stories/201001041140.html
  7. https://chimpreports.com/8691-kanaabi-wins-national-chess-championship/
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/amoko-leads-women-s-team-to-chess-olympiad-1569160
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-28. Retrieved 2024-04-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

[kyusa | edit source]