Grace Birungi
Appearance
Grace Birungi yazaalibwa nga 10 Ogwekumineebiri mu 1973, nga Munayuganda omudusi w'emisinde, nga esira yasinga kuliteeka mu mita 800 nga bw'aba asazeeko, aduka gya mita 400.
Yawangula omudaali gwa feeza mu mita 400 mu mpaka za 1996 egya African Championship egyali mu kibuga Yaounde, nga kuno kweyateeka omudaali gw'ekikomo mu mita 800 mu mizannyo gya All Africa Gamecs egyali mu 1999 mu kibuga Johannesburg. Nga yeetabye mu mizannyo gya Summer Olympics mu 2000, yakwata kifo kyakutaano mu mbiro gya mita 800 gyeyeetabamu, ekyamulemesa okweyongerayo okugenda kumutendera gwa laawuundi ey'okubiri.
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | edit source]- Grace Birungi ng'ali ,mu mpaka za World Athletics
Lua error: Invalid configuration file.