Grace Kesande Bataringaya

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Grace Kesande Bataringaya (yazaalibwa nga 4 Ogwomwenda 1970) Munnayuganda, munnabyabufuzi era mubaka mu Paalamenti. Mu 2011, yalondebwa ng'akiikirira Disitulikit y'e Rubirizi mu Paalamenti.[1][2]

Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement.[3]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Yamaliriza emisom gye gya primary level mu 1983 ku Kyanamira primary school, Mu 1987 yamaliriza ebigezo bye ebya Uganda Certificate of Education (UCE) ku Hornyby girls secondary school e Kabale. Ebigezo bye ebya siniya ebimanyikiddwa nga Uganda Advanced Certification of Education (UACE) yabimaliriza mu 1990 ku Seseme girls secondary school mu Kisoro. Mu 1993 yatikkirwa okuva ku Makerere University ne Diguli eya bachelor's degree of Arts in Social science.[4] mu Kampala.

Obuvunaanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Ye Dayilekita alimu buyinza mu kitongole kya Livelihood Community Volunteer Initiative for Development[5] (COVOID), ekitongole ky'obwannakyewa ekikolera mu Disitulikiti y'e Rubirizi.[6]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.ec.or.ug/pub/General%20election%20Report%202010-2011.pdf
  2. https://www.weinformers.com/tag/the-area-mp-grace-kesande-bataringaya/
  3. https://observer.ug/news/headlines/56437-age-limit-how-your-mp-voted
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-28. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.covoiduganda.net/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)