Jump to content

Grace Kwiyucwiny

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Grace Freedom Kwiyucwiny era Grace Kwiyucwiny munnayuganda munnabyabufuzi mu Uganda eyaweerezaako nga minisita omubeezi ow'obukiika kkono bwa Uganda mu kabineti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Omwezi ogwomukaaga 2016. [1] N'era yaweerezako ng'omubaka wa paalamenti omukyala akiikirira disitulikiti y'e Zombo . [2]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu disitulikiti y’e Zombo, kitundu kya West Nile mu ttundutundu ly'obukiika kkono bwa Uganda. Yasomera mu ssomero lya Lower Zombo Primary School n'essomero lya Warr Girls School ku misomo gye egy'okufuna satifikeeti ya Uganda ey'ebyenjigiriza eyomutendera gwa siniya eyokuna (UCE) bweyali tannagenda ku ssomero lya siniya erya Tororo Girls School ku msomo gye egy'okufuna satifikeeti ya Uganda ey'ebyenjigiriza ey'omutendera gwa siniya eyomukaaga (UACE). Yasomera Ku yunivasite y'e Makerere naatikkirwa ddiguli esooka mu mbeera z'abantu, dipulooma edda ku ddiguli esooka mu nzirukanya y'emirimu ne ddiguli eyokubiri mu kuddukanya zi bizinensi. [3]

Yali Mukulembeze wa kitundu omujjumbize mu disitulikiti ye naddala mu bakyala. Emabegako yaweerezaako nga ssentebe w’ekibiina ky’abakyala eky'e Nebbi. Yavuganya ku kifo ky'abakyala b'e Nebbi mu paalamenti emabegako era yali awanguddwa. Yaddamu okuvuganya mu disitulikiti y’e Zombo, oluvannyuma lwa disitulikiti ebbiri okukutulwamu era naawangula mu 2011. [2] Yaddamu okulondebwa mu 2016. Yawangulwa mu kulonda kwa 2020 ku kifo ky’omubaka akiikirira abakyala mu paalamenti ya Uganda owa disitulikiti y’e Zombo. [3] Ye mubaka wa Palamenti Omukyala eyasooka okulonda Disitulikiti y'e Zombo, okuva lwe yayolwa okuva mu Disitulikiti y'e Nebbi mu 2009. [2] Nga 6 June 2016, yalondebwa okuba Minisita w'Eggwanga mu Bukiikakkono bwa Uganda. [4]

Ogumu ku mirimu gye yakwasibwa nga Minisita omubeezi ow’obukiikakkono bwa Uganda, kwe kulondebwa ku kakiiko akanoonyereza ku bigambibwa emititi n'embaawo byanyagibwa mu biseera by'olutalo mu kibira kya Zoka mu disitulikiti y’e Adjumani .Ttiimu ya bantu bana, yalondebwawa Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda, era nga yakubirizibwa Mary Karooro Okurut, eyali minisita wa kabineti avunaanyizibwa ku guno na guli mu ofiisi ya ssaabaminisita . Bammemba abalala baali Betty Amongi, Minisita w’ettaka, amayumba n’okukulaakulanya ebibuga ekiseera ekyo ne Sam Cheptoris, mu kiseera ekyo eyali minisita w’amazzi n’obutonde bw’ensi. [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 8 June 2016.
  2. 1 2 3 Anyoli, Edward. "Zombo Gets First Woman MP". Retrieved 8 November 2016.
  3. 1 2 Monitor Team (8 June 2016). "Who are the new faces in Museveni's Cabinet?: Grace Freedom Kwiyucwiny - State Minister for Northern Uganda". Retrieved 8 June 2016.
  4. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 8 June 2016.
  5. BGA (6 August 2016). "Ruhakana Rugunda appoints Four Ministers to probe Zoka forest Plunder". Business Guide Africa (BGA). Archived from the original on 26 June 2018. Retrieved 8 November 2016.

Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 8 June 2016.

  1. Anyoli, Edward. "Zombo Gets First Woman MP". New Vision. Kampala. Retrieved 8 November 2016.
  2. Monitor Team (8 June 2016). "Who are the new faces in Museveni's Cabinet?: Grace Freedom Kwiyucwiny - State Minister for Northern Uganda". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 8 June 2016.
  3. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 8 June 2016.
  4. BGA (6 August 2016). "Ruhakana Rugunda appoints Four Ministers to probe Zoka forest Plunder". Kampala: Business Guide Africa (BGA). Archived from the original on 26 June 2018. Retrieved 8 November 2016.