Jump to content

Grace Tubwita

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Grace Tubwita Bagaya Bukenya (née Grace Tubwita), nga amanyikiddwa nga Grace Tubwita, mukayala munnayuganda, mukubi wa pulaani era munnabyabufuzi. Ye ssentebe w'ettendekero ly'abakubi ba pulaani erya Uganda Institute of Physical Planners.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Grace Tubwita yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Nakasongola era ayogera olulimi olumanyikiddwa nga (Ruluuli). Yakiikirira Disitulikiti ye mu Paalamenti ya Uganda ebisanja bibiri eby'omuddiriŋŋanwa mu Paalamenti 7 (2001 - 2006) n'eyo 8 (2006 - 2011), ku kaadi y'ekibiina kyebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). Yagibwa mu kifo kino mu kalulu k'ekibiina era nga yawangulwa Margaret Komuhangi, gwe yali yawangula,[2] emirundi ebiri mu 2003 ne 2015.[3]

Ebirala ebikulu

[kyusa | edit source]

Tubwita atuula ku bukiiko obukulembera Kkampuni ez'enjawulo omuli Uganda National Oil Company, ne national oil ekitongole ky'amafuta ekiweereza eggwanga.[4][5] Era mmemba ku kakiiko akakwasaganya ebibira aka National Forestry Authority (NFA), nga nakyo kitongole kya Gavumenti nga bwekyalangirirwa eyali Minisita w'ebyamawulire n'okuluŋŋamya eggwanga, Rose Namayanja, nga 17 Ogwomusanvu 2014.[6] Mu Gwomwenda 2016, Tubwita Grace Bagaya Bukenya yaweebwa Awaadi ya "Parliamentary Medal of Honor" mu kwagala okusiima obuweerezabwe mu Paalamenti ya Uganda.[7]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-03. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Margaret_Komuhangi
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1283471/nakasongola-woman-mp-tubwita-loses-nrm-primaries
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/Parastatal
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1416576/uganda-national-oil-company-seeks-recruit-executives
  6. https://ugandaradionetwork.com/story/national-forestry-authority-gets-new-members-to-the-board-of-directors
  7. http://eagle.co.ug/2016/09/22/besigye-byanyimas-generals-oyite-ojok-rwigyema-parliament-medal-list.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru Wakipedya

[kyusa | edit source]