Jump to content

Gulu United FC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gulu United Football Club kiraabu ya mupiira ogw'ebigere mu Uganda nga esinganibwa mu Gulu, mu Disitulikiti y'e Gulu mu Bukiika Ddyo bwa Uganda. Kiraabu eno yali ezannyira mu kibinja kya Uganda eky'okubiri mu sizoni ya 2011-2012, naye tewali likodi za kibiina kidukanya mupiira mua Uganda ziraga nti kiraabu eno ekya kakalabya emirimu gyayo ku ddaala erya wagulu.[1][2] Wabula kiraabu ekyakakalabya emirimu gyeyayo ku mutendeka gw'abavubuka.[3]

Ebigikwatako

[kyusa | edit source]

Gulu United Football Club, ng'era bagimannyo nga Gulu Black Rangers Football Club[4]yatandikiibwawo mu 1990, era nga basooka okulabikako mu kibiinja kya Uganda ekyababinyweera mu sizoni ya 1999.[5][6] Kiraabu eno yasalibwaako okuddayo wansi mu kibinja kyaba namba lugyega kunkomerero ya sizoni eyo oluvannyuma lw'okubeera nga baali bakutte ekifo kya 19.

Mu sizoni ya 2005, Gulu neera yeetaba mu kibinja kyababinyweera nga kino kyaazli kisambibwa kumutendera gwa bibinja era ogw'okusirisizaawo nga ttiimu ezitaakwata bifo byali byetagisibwa nga zitekebwa mu kakunguunta keezo ezaali zigenda okusalibwaawo ziddeyo wansi mu kibinja kya banamba lugyega. Kiraabu eno yamalira mu kifo ekisemba mu Kibinja B ng'era kino kyabavirako okubeera nga baatekebwa kuzimu ku ezo ezaali zigenda okudizibwaawo wansi mu kibinja eky'okubiri, wabula nga bano baalemererwa okumalayo emipiira gyabwe okwali gwebaali bakyadde ewa Kinyara, Kakira ne Lugazi. Kino kyabavirako okubeera nga bagibwa mu mpaka zino ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'omupiira mu Uganda, ng'era ebyava mu mipiira gyabwe byasazibwaamu.[7] Kiraabu yatuuka ekiseera nga tekyasobola kubeera mu kibinja kyababinywera olw'okubeera ng'abaali bagidukanya baali tebakyalina ssente, era tebafuna n'obuzibu bw'okubeera nga eby'entambula byali bibakalubiridde. Okutuuka kunkomerero y'Ogwomukaaga mu 2005, kiraabu eno baali bagitadde ku katale ng'etundibwa.[8]

Ebizibu ebirala byabeyongera era ekibiina ekidukanya omupiira mu Uganda nekisalawo okuwera ekibiina ekitwala omupiira mu Disitulikiti y'e Gulu obutaddamu kwetaba mu mpaka za ggwanga zonna oluvannyuma lw'okubeera nga Kiraabu ya Gulu yali eremereddwa okwetaba mu mpaka ezaali zitegekeddwa nadala ez'ekibinja kyababibywera ekya 2005. Okuwera kuno kwamala emyaka esatu, era nga kjwagibwaawo mu 2008, nga ttiimu okuva mu Disitulikiti y'e Gulu baali baziwadde akakisa okuddamu okwetaba mu kibinja kya babinyweera.[9]

Mu sizoni ya 2008-2009, Gulu United beebawangula empaka za Zone 3 Mini League[10] ekyabafuula ezimu ku ttiimu ezaali zigenda okubeera nga zezisoose okubeera nga zizannyira mu kibinja kya Uganda eky'okubiri ekya sizoni ya 2009-2010. Gulu baalina sizoni gyebasinga okukoleramu obulungi mu byafaayo byabwe webaakwata ekifo eky'okubiri mu kibinja kya Uganda eky'okubiri mu sizoni ya 2009-2010, era nebamalira mu kifo ekisooka mu kibinja kya Elgon, gyebaasisinkanira Maroons FC okusalawo alina abeera kyampiyoni e Masindi. Wabula, ttiimu yasamba bubi nnyo mu z'okusalawo ani yali ayitawo nga gwagenda okugwa nga bakubiddwa ggoolo bbiri ku zeero. Leo Adraa, eyali omutendesi wa Gulu United, yagamba nti abasambi bbe baali bakoowu ng'ate n'enjala ng'ebaluma, oluvannyuma lw'okubeera nga baali tebalide kyamisana, nga batuuka kikerezi ku mupiira olw'okuba nga baayita ku luguudo lwe Masindi-Kigumba olwali olubi.[11]

Gulu United baddamu okulabikako mu Kibinja kya Uganda ekyababinyweera mu sizoni ya 2010-2011, naye nga baamaliriza bakutte kifo kya 14 era nebasalibwaako okuddayo wansi mu kibinja kyabanamba lugyega eky'ekibinja kya Uganda eky'okubiri.[12] Mu sizoni ya 2011-2012, kiraabu eno yatekebwa mu Kibinja kya Rwenzori eky'ekibinja kya Uganda eky'okubiri, wabula ng'ekibiina ekifuga omupiira mu Uganda kyabasalako era nebaddayo wansi mu kibinja eky'okusatu eky'ekibiina ekidukanya omupiira mu Disitulikiti y'e Gulu olw'okulemererwa okulabikako ku mipiira gy'ekibinja kya Uganda eky'okubiri omwali gwebaalina okuzannya Misindye, Victoria University ne Aurum Roses.[13] Ebizibu bya ttiimu mwalimu okubeera nga yali edukanyizibwa bubi n'obutabeera na ssente nga muno mwemwali n'okubeera nga baali bafiirwa eyali maneja waabwe Leo Adraa eyagyabulira n'agenda okwegata ku Fire Masters, nga sizoni etandika.[14]

TEnkulakulana eyaddako mu Gwokusatu ogwa 2012, yakolebwa akakiiko akadukanya disitulikiti y'e Gulu okulaba nga kafuna abadukanya ttiimu n'okugiteeka ngamu ssente nga kiraabu, nga esira basize kuliteeka ku bavubuka.[14] 'okubeera obumu ku lw'obumu', kiraabu y'abawagizi eya Gulu United yatandikibwaawo nga bakozesa engoombo egamba nti Kiraabu y'omupiira enene nga ntono eyali esinga munsi yonna. Ekimu ku birubirirwa byabwe byali byakuyamba mupiira mu kitundu kyabwe, nga batandika n'abavubuka, nadala mu bitundu ebyali bitataganyiziddwa entalo mu bukiika ddyo bwa Uganda.

Likodi zaabwe mu bibinja bya wagulu

[kyusa | edit source]
Sizoni Ekibinja Liigi Ekifo Obubonero Emipiira gyebaawangula Emipiira gyebalemagana Emipiira gyebaabakuba Ggoolo zebaateeba Ggoolo zebaabateeba Obubonero bwebakungaanya Okusenvula
1999 1 Ekibinja kya Uganda ekyababinywera 19th 38 5 6 27 30 83 21 Baasalibwaako nebadayo mu kibinja eky'okubiri
2000–04 Baali beetaba mu Bibinja bya wansi
2005 1 Ekibinja kya Uganda ekya babibweera- Kibinja B 5th 8 1 1 6 4 25 4 Baatekeddwa mu ttiimu ezaali zirwana obutasalwaako
Ekibinja kya Uganda ekyababinyweera- Baali mu ttiimu ezaali zisuubirwa okusalibwaako Baabawera
2006–09 Baali bazannyira mu bibinja bya wansi
2009–10 2 Ekibinja kya Uganda eky'okubiri-Kibinja Elgon 1st 14 8 4 2 21 9 28 Baasumuzibwa nga baali bawangudde ekibinja
2010–11 1 Ekibinja kya Uganda ekyababinywera 14th 26 3 4 19 11 44 13 Baasalibwaako nebadayo mu kibinja eky'okubiri
2011–12 2 Ekibinja kya Uganda eky'okubiei- Mu Kibinja Rwenzori Baabawera
Leero Kiraabu esira yaliteeka mu kudukanya mupiira gw'abavubuka

Okukuza ebitone byabavubuka

[kyusa | edit source]

Ssente zikungaanyiziddwa nga bayita ku mikutu gya yintaneeti egy'enjawulo okubeera pulojekiti eziyamba mu kudukanya enkambi y'ekitundu esookedde ddala mu kuzuula ebitone n'okutendeka abavubuka mu Gwomwenda, 2013. Abatendesi abakola ogw'obwanakyewa baatalaaga okwetoloola bukiika ddyo bwa Uganda, ekitundi ekirimu abantu abasoba mu bukadde omukaaga okuzuula ebitone ebyaali biwa esuubi mu bavubuka abasambi b'omupiira abali wakati w'emyaka 12 ne 16, nga balina ekirubirirwa eky'okubateeka awamu munkambi, nga ekigere ekisooka mu kukulakulanya akademi y'omupiira gw'abavubuka mu bitundu bino. Kisuubirwa nti ekiddako okukolebwa kwekulaba nga bafuna anaakulira akademi eno.[15][16][17]

Kiraabu y'omupiira eyitibwa Brentford-ekibiina ekibakwasizaako

[kyusa | edit source]

Kiraabu ya Brentford FC mu Bungereza eyambako ku birubirirwa bya Gulu United ng'era yeeyama okukola n'abatendesi ba Uganda ne banakyeewa okuzimba abatendesi abavubuka ne pulogulaamu y'okutendekebwa.[18][19] Mu kwongerezaako Academi ya Brentford ekunganyiza engato z'omupiira ezakadiwa nebazisindika mu mawanga ga Afrika, zikozesebwe abasambi abato.[20]

Ekisaawe

[kyusa | edit source]

Ekisaawe kya Gulu United kiyitibwa Pece War Memorial Stadium[21] nga kino kisinganibwa mu Gulu. Ekisaawe kino kyazimbibwa Bangereza mu 1959, naye mu myaka egiyise kyayonenebwa era nekikozesebwa mu bukyamu. Ekisaawe kyali kirina amazzi wamu n'amasanyalaze, wabula bino byonna byasalibwaako. Ekisaawe kitegekebwaamu empaka ez'enjawulo nga kuno kuliko Ugandan Cup, empaka z'emizannyo gy'amasomero kumutendera gwa disitulikiti wamu n'endala nyingi. Disitulikiti y'e Gulu ne minisitule y'eby'enjigiriza baalina entegeka y'okudaabiriza ekisaawe kino era bakikwaasa abantu basekinoomu okukidukanya .[22]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. http://www.soccerking.co.uk/ugasec2012.htm
  2. http://www.fufa.co.ug/fufa-voters-register-zone-3/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-02. Retrieved 2024-09-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.rsssf.org/tableso/oegfound.html
  5. https://www.rsssf.org/tableso/oeg99.html
  6. https://guluunited.wordpress.com/meet-our-team/
  7. https://www.rsssf.org/tableso/oeg05.html
  8. https://web.archive.org/web/20140219053457/http://www.newvision.co.ug/PA/8/30/441013
  9. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=16286
  10. https://www.rsssf.org/tableso/oeg09.html
  11. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=27732
  12. https://www.rsssf.org/tableso/oeg2011.html
  13. http://www.fufa.co.ug/gulu-united-dismissed-from-big-league/
  14. 14.0 14.1 http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=40772
  15. http://guluunited.com/about/
  16. http://www.indiegogo.com/projects/united-for-united-supporters-of-the-biggest-little-football-club-in-the-world
  17. https://web.archive.org/web/20140219230818/http://www.acholitimes.com/index.php/perspectives/opinion/1466-gulu-football-club-the-biggest-little-football-club-in-the-world
  18. https://web.archive.org/web/20150923225503/http://www.brentfordfc.co.uk/news/article/gulu-united-845850.aspx
  19. https://web.archive.org/web/20131130164034/http://www.brentfordfc.co.uk/news/article/gulu-united-reminder-878436.aspx
  20. http://www.noodls.com/view/DB8EA480DCF35542722F33F99AF9059CF9874B09
  21. https://int.soccerway.com/teams/uganda/gulu-united-fc/17055/
  22. https://web.archive.org/web/20140219215911/http://www.mondaytimes.co.ug/details.php?option=acat&a=2178

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]