Hamis Kiiza
Hamis "Diego" Kiiza nga yazaalibwa enaku z'omwezi nga 10 mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa1990 munayuganda azannya omupiira gw'ensiimbi mu kiraabu ya Kagera Sugar FC mu liigi ya Tanzania eyawagulu
By'awangudde ng'omuntu
[kyusa | edit source]- Omuzannyi wa Uganda eyasinga mu mwaka gwa 2011 ng'ali ne kiraabu ya URA FC
- Eyasinga okulengera akatimba mu liigi ya Uganda eyawagulu mu sizoni ya 2010/11 ne kiraabu ya URA FC.
- Eyasinga okuteeba ng'ali mukiraabu ya Young African FC e Tanzania mu liigi ya Vodacom Premier League 2011/12.
- Yawangula ekikopo ekyetabwamu kiraabu okuva mu mawanga g'omubuvanjuba ne masekati ga Afrika 'CECAFA Club Winner', ng'ate yeeyasinga okulengera akatimba ne kiraabu ya Young African FC mu mwaka gwa 2012.
- Hamis Kiiza ng'ali ne kiraabu ya Simba S.Cmu sizoni y'e Tanzania eya 2015 ne 2016 yazannya emipiira 30 n'ateeba ggoolo 24 nga 19 ziri mu liigi ate, 5 mu mpaka za FA Cup, yeeyasinga okulengera akatimba mu mpaka zonna ng'ate yakwata kyakubiri mu liigi ya Vodacom Premier League
Ku mutendera gw'ensi
[kyusa | edit source]Diego yazannya omupiira gwe ogwali gusooka ku ttiimu y'eggwanga gyebayita 'Cranes' ng'etendekebwa Bobby Williamson mu mwaka gwa 2011 mu mwezi ogw'okutaano bweyali ayitiddwa okuzannyira ttiimu y'abali wansi w'emyaka 23 eyali egenda okuzannya Tanzania mu mupiira ogw'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu mizannyo egibeeramu amawanga g'okulukalo lwa Afrika oba giyite 'All Africa Games'. Yasasula obwesige bwebamusaamu ng'ateeba ggoolo 3 mu mipiira 2 games gyebasisinka Tanzania, era n'ayamba ttiimu ye okugenda ku mwetoloolo ogwali guddako gyebasisinkanira eggwanga lya Kenya.[1] Oluvannyuma lw'okwolessa omutindo mu ttiimu y'abali wansi w'emyaka 23, yasumusibwa okugenda okuzannyira ttiimu y'eggwanga enkulu eyali egenda okuzannya Guinea-Bissau mu mupiira ogwali ogusalawo mu z'okusunsula ng'enaku z'omwezi 4 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 2011 eyali agenda okukiika mu kikopo eky'etabwamu amawanga g'okulukalo lwa Afrika eky'omwaka gwa 2012 .[2]
- Empaka ez'etabibwamu abazannyi abagucangira ewaka oba CHAN Africa Championships mu ggwanga lya Sudan mu mwaka gwa 2011.
- Okusunsula abagenda okwetaba mu kikopo ekyetabwamu amawanga g'okulukalo lwa Afrika okuva mu mwaka gwa 2011 ng'ali ne ttiimu y'eggwanga enkulu.
- Abadde ku ttiimu y'eggwanga enkulu okuviira ddala mu mwaka gwa 2011.
- Azannyidde ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 23 eyeetaba mu mizannyo gya 'All Africa games' mu mwaka gwa 2011 ezaali mu ggwanga ly'e Mozambique.
- Yaliko ku ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 23 eyazannya ez'okusunsula abaali bagenda mu muzannyo gya Olympics mu mwaka gwa 2011
- ↑ https://web.archive.org/web/20120324060740/http://redpepper.co.ug/welcome/?p=7249%2FMichael Mubiru Uganda Kobs Take On Kenya!. redpepper.co.ug
- ↑ http://www.goal.com/en/news/89/africa/2011/05/13/2485062/uganda-coach-bobby-williamson-names-squad-for-guinea-bissau/Ugandan coach Bobby Williamson names squad for Guinea Bissau match.