Jump to content

Hashaka Kabahweza Florence

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Hashaka Kabahweza Florence Munnayuganda Munnabyabufuzi. Yali mubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda 8 ng'akiikirira Disitulikiti y'e Kamwenge.[1] Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM).

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Yali mubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda 8 ng'akiikirira Disitulikiti y'e Kamwenge.[2] Yawangulwa Nshaija Dorothy Kabaraitsya mu kalulu ka bonna aka 2011 ng'omukyala mu Paalamenti ya Uganda eyo 9 owa Kamwenge Disitulikiti. Yesimbawo ku kifo ky'omubaka omukyala mu Paalamenti mu kalulu ka 2021 nga yafuna obululu 4,761 era nga yawangulwa Sylvia Bahereira eyafuna obululu 25,453.[3][4] Kabahweza Florence yali memba ku kakiiko akakwasagnaya ensinga z'egaali y'omukka aka Uganda Railways Corporation.[5][6]

Obukuubagano

[kyusa | edit source]

Okusinzira ku ngeri gyeyali akolamu mu kalulu k'ekibiina, Hashaka Kabahweza yafuna obuzibu mu kalulu ka bonna. Ye n'aba kakundi ke kateekawo okuwaaba kw'abwe okwokugulirira abalonzi mu kaseera k'okulonda. Okusinzira ku bbo, omuwendo gw'obululu obwalangirirwa Asuman Mugisha, tebwakwatagana n'amiwendo egyali giwandiikiddwa ku biwandiiko by'aba ejenti be. Kino kyaleetawo okubuusabusa mu mazima agaali mu kulonda.[4]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  2. https://www.ec.or.ug/pub/General%20election%20Report%202005-2006.pdf
  3. http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=1089
  4. 4.0 4.1 https://ugandaradionetwork.net/story/kamwenge-woman-mp-aspirant-rejects-results- Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  5. https://dailyexpress.co.ug/2022/09/10/uganda-railways-corporation-gets-new-board/
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_149082