Hellen Auma Wandera

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Hellen Auma Wandera munabyabufuzi Omunayuganda Omukyala akiikirira Disitulikiti ya Busia eyalondebwa mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[1] Awereza ne ku kakiiko akadukanya ensonga za Pulezidenti mu Paalamenti ya Uganda.[2]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Hellen Auma Wandera yazaalibwa mu Disitulikiti ya Busia nga taata we ye Dickson Wandera ne maama we Betty Afuro. Yagenda ku Busia Parents Primary School gyeyatuulira ebigezi bye ebya P7, oluvannyuma n'agenda ku Great Obrem Memorial mu Disitulikiti y'e Tororo gyeyatuulira ebigezo bya S4 wamu ne St. Peters Naalya (Spena International) gyeyatuulira S6 nga tanaba kwegata ku Yunivasite y'e Kyambogo n'afuna Diguli mu by'Embeera z'abantu.[3][4][5]

Emirimu gye mu Byobufuzi[kyusa | edit source]

Alina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). Yawangula Nina Nekesa, Fiona Nakku, Nabwire Sharon Veron Namumayi, Esther Busingye Wafula, Grace Nyakecho, Teddy Auma wamu ne Lilian Taaka mu kamyuufu ka NRM aka 2020 abaali baagala okwesimbawo ku ky'Omubaka wa Paalamenti.[6] Yadira Jane Nabulindo Kwoba nga Omubaka omukyala akiikirira Paalamenti ya Disitulikiti ya Busia mu kalulu ka Uganda akabonna aka 2021.[7][3][8][9]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]