Hellen Kahunde

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Hellen Kahunde, nga batera kuliwandiika nga Helen Kahunde yazaalibwa nga 27 Ogwekuminoogumu mu 1982, musomesa Omunayuganda era munabyabufuzi awereza nga Omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Konsitituweensi ya Disitulikiti ya Kiryandongo mu Paalamenti eye kumiokuva mu 2016 okutuuka mu 2021.[1] Mu 2021, baddamu nebamulonda okudayo mu Paalamenti.[2][3] Mu Paalamenti, yawereza nga ku kakiiko akavuunaanyizibwa kunsonga za Afrika y'obuvanjuba.[4]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Uganda nga 27 Ogwekuminoogumu mu 2018[1]Yasomera ku Gulu Sacred Heart Secondary School nga lisinganibwa Gulu, ekibuga ekisinga obunene mu Bukiika Ddyo bwa Uganda, gyeyamalira emisomo gye egya S4. Oluvannyuma yatwalibwa ku Our Lady of Good Counsel Secondary School erisinganibwa e Gayaza mu Disitulikiti ye Wakiso gyeyamaliriza emisomo gye egyawagulu oba S6.[1]

Yagenda ku Disitulikiti ye Gulu mu 2003, gyeyatikirwa mu 2007 ne Diguli mu By'okusomesa Sayaansi. Oluvannyuma yatikirwa kutendekero lya Uganda Management Institute erisinganibwa mu Kampala, ne Dipulooma y'okulondoola n'okubeera kalabalaba.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga tanaba kwegata ku byabufuzi, yali asomesa sayaansi ku Kigumba Intensive Secondary School, erisinganibwa e Kigumba, mu Disitulikiti ye Kiryandongo okuva mu 2008 okutuuka mu 2008.[1]

Mu 2011, yeesimbawo ku ky'omukyala eyali agenda okukiikirira Konsitituweensi ya Disitulikiti ya Kiryandongo. Yawangula era n'afuuka omukyala eyasooka okubeera omubaka wa Paalamenti mu disitulikiti eyali yatondebwawo nga 1 Ogwomusanvu mu 2010.[5] Yaddamu n'alondebwa mu 2016, nga neera ali ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movementi.[6]

Mu Paalamenti, y'omu kubali ku kakiiko akavunaanyizibwa ku Sayaansi ne Tekinologiya, ssaako n'akavunaanyizibwa ku by'ensonga za Pulezidenti.[1]

Famire[kyusa | edit source]

Helen Kahunde mukyala mufumbo.[1]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=94
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/kahunde-helen-10423/
  3. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/645d30b5-896d-48a6-b254-e5e8d313f957/
  4. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-east-african-community-affairs/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-27. Retrieved 2024-03-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-27. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]