Henry Katumba Tamale

Henry Katumba Tamale yazaalibwa mu Gwokusatu nga 28, 1960, Munnayuganda Omulabirizi mu Kkanisa ya Uganda.
Mu myaka gya 1980, Katumba yatandika okwenyigira mu mirimu gy'Ekkanisa ya Uganda era oluvannyuma yasoma n'atuuzibwa ng'Omubuulizi mu 1985.
Yawasa Rev. Can. Elizabeth Julia Katumba mu Gwekkumineebiri nga 12 mu 1987 ku Lutikko y'Omutukuvu Paul e Namirembe mu Uganda era balina abaana bataano. Katumba ye Mulabirizi ow'omukaaga ow'Obulabirizi bwa West Buganda mu Kkanisa ya Uganda, n'atuuzibwa ku bukulu buno nga 28 Ogwomunaana, 2016.[1]
Mu kusooka yaweerezaako ng'Omwawule era ng'omuyambi w'Omulabirizi w'e Namirembe[2] Mu 2017, Omulabirizi Tamale yagamba nti okubeera nga tewali nguudo nungi mu Buganda kyakalubya eby'entambula.[3]
Okuwummula
Omulabirizi Tamale yawummula nga March 28, 2025 lwe yaweza emyaka 65 olwo n'asikizibwa Omulabirizi wa West Buganda ow'omusanvu Gaster Nsereko eyayawulibwa era n'atuuzibwa mu Gwokusatu nga 30, 2025.[4]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Tasks-that-await-West-Buganda-Bishop-as-he-takes-office-today/689844-3360032-1fbjau/index.html
- ↑ https://livingchurch.org/2016/06/01/w-buganda-elects-6th-bishop/
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/poor-roads-land-amendment-dominate-bishop-tamales-anniversary-event
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/new-west-buganda-bishop-gaster-nsereko-instal-NV_207900