Jump to content

Herman Basudde

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Herman Basudde yazaalibwa mu mwaka gwa 1958 n'afa mu mwaka gwa 1997 nga yali munayuganda eyali akuba ennyimba za kadongo kamu ng'omuyimbi. Basudde yazaalibwa mu disitulikiti y'e Masaka mu bukiika ddyo bwa Uganda.

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Bitono nnyo ebimannyikiddwa ku bulamu bwe obwasooka, wabula ng'okusinziira ku muganda amannyikiddwa nga Sserunjoji, ensonga lwaki teyeeyongerayo nnyo yali nsonga yabutabeera nansiimbi okumuyamba mu by'okwagala kweyalina eri muziki. Maama we eyali amannyikiddwa nga Namyalo anyumya nti Herman Basudde yasomera ku Kibanda ne Butenga primary school. Omu ku beyali nga nabo mu kibiina agamba mu myaka gya Basudde gyeyali ngamu kusomero, yali akwata mangu , ng'ate yalina okwagala eri okusiiga ebifaanannyi eby'engeri ez'enjawulo nga bino byebyatera ng'okumutwalira obudde. Basudde yeegata ku kwaaya y'esomero ekyamusiimisa nga olw'okuba yali alina edoboozi egoogoofu, wamu n'ery'awagulu.

Ekintu ky'okuyimba Busudde yakigya ki kitaawe, ng'era omugenzi Mark Makumbi, eyali akolera ku Bukedde TV wamu ne lu leediyo ya CBS, yeeyawa ebyali bikwata ku Basudde omuyimbi wa Kadongokamu. Ygamba nti taata we yaliko mu maggye ng'era y'omu kubaali banazirwanako aba sematalo ow'wokubiri. Yalina mukwano gwe eyali omuzungu gwebaayita nga Brown, eyali amwagala ennyo. Ekigendererwa bwekyali kitukiriziddwa , keekaali akaseera kaabwe ak'okwawukana, Brown yamuwa entoongooli oba giyite endoongo nga bw'amuganba, gitwaale kuba sirina ssente zakuwa,lekka kino kibeere ekintu kw'ogya okuzijukirira nga, nga nzirayo ewaffe, yaterera endoongo eno kuba teyali yamugaso gy'ali. Yatandika okusuna ng'endoongo eno wabula nga tewali yali agimusomesa. Nga akadde kaagenda katambulirira, maama we yagezaako okumugaana okusuna endoongo, ng'abwamutegeeza nti alina kukola mirimu gy'awaka oba oba waaka gwebabeera bamuwadde kusomero ng'alina ku mukolera waka 'school homework'.; naye taata we yakiremerako nnti asigale ng'asuna endoongo nga kino kyali kiyinza okumuyamba okubeera ow'etutumu mu kisaawe kya muziki. Endoongo eno yali temuwa kadde kusoma bitabo . Kino nga kiri wamu n'obwavu obuyitirivu famire ye bweyali mu, kyamuviirako okuva musomero nga tamaliriza na P.7.

Buli wewaabera ngawo akabaga ku kyalo, yagenda ngayo n'endoongo ye ekyamukolera ng'ekubo n'asannyu ng'abagenyi. Mu kumudira, bano abaali bassanyuse, baamusiimanga nga kwebaateeka ng'okumukubiriza nga bayita mu kumuwa ssente.Wabula waliwo abala abaakiraba ng'obubi nadala abavubuka era nebakola entegeka ey'okumulemesa olw'okuba yali afuna ebirabo n'okusiimibwa buli gyeyali agenda nga okussanyusa ng'abantu.

Ng'enkola ye, olunaku lumu yassanyusa abakiriza mu klezia y'abakatuliki ku kyalo. Yayimba oluyimba lwebaali bayita ”amajjiini ngetala luno". Omupaatiri lwamunyumira nnyo ekyamuvirako okumugamba alukube emirundi egyali giwerako.Ku mukolo ogwo, Basudde yafuna ssente ezaamuweebwa. Kino kyanyiga nnyo abaali tebamwagaliza era nebakola entegeka ey'okumusuula.

Mu kitundu kyabwe, waaliwo ekibiina ky'abayeekera kyebaali bayita “FEDEMU” nga kino kyaali kiwambye ebitundu by'omubukiika kono nadala mu bukiika kono bwa Uganda. Emirembe kati gyali mu mikono gyabwe. Abavubuka tebaagaliza Basudde baabatuukirira nebagamba nga Basudde weyali alina emuundu. Era baaziinda amaka gaakitaawe nebagaaza wamu n'ekifo kyonna. Baamukwata nebamutwala bamusoye kajogi jogi w'ebibuuzo. Baamutulugunya entakera nga webamubuuza emundu gyeyali. Oluvannyuma lw'ebyo byonna, baamukomyawo ewabwe ng'ali kungyegoyego z'entaana. Yatwalibwa mu ddwaliro y'e Masaka referral Hospital ng'eno baamujanjaba okumala enaku eziwera. Oluvannyuma yaddayo ewaka ng'eno gyebamuweera ng'edagala. Bweyagenda afuna ku maanyi, kitaawe yamugamba ave ku kyaloi, oba ewatali ekyo yali wakufiirwa obulamu bwe.

Mu masekati g'emyaka gya 1980, yalondebwa Eria Katende eyamuleeta mu Kampala.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Eyamukwatira ngako mu kuyimba yali omuyimbi Livingstone Kasozi eyamutendeka okusuna endoongo, okuyimba wamu n'okuyimbira obutereevu kusiteegi ng'ali mumaaso g'abantu.[1] Yatalaaga amawanga g'omubuvanjuba, nga muno mwemwali okutambula amawanga nga Kenya, Tanzania, wamu ne Rwanda. Okutambula amawanga gano kyamuleetera okukungaana obukadde bwa ssente za Uganda 70 ezaali ennyingi mu biseera ebyo.

Basudde asiimibwa okubeera omu mubayimbi eyazuukusa okwagala eri baakisimba, nga muno mwemuli okutabula ebidongo ebikuba muziki w'abazungu wamu n'abaganda nga bibeera mu bawuliriza abapya.[2] Yali alina edoboozi eryali ligenda empola ng'ate liri wansi nga yayimba nga bulungi n'egongyebwa bweyakuba ng'ennyimba n'ezaali ku mukwano ogwali ngamu ebizibu,abaami abafumbi abaayagala nga nnyo ebintu eby'okwegata n'abakyala,n'obulogo obutategerekeka. Mu luyimba lwe olumannyikiddwa ennyo lwebayita, Ekiwuka Ekyaga Muntamu, Basudde yakozesa ebigambo ebyali eby'ekusifu eennyo okuvumirira ekirwadde kya ssiimu mu Uganda. Mu luyimba luno, yakulaga ng'omunya ogwefaanannyiriza ekiwuka kuzingako amakaage negwonoona obulamu bwe,emere n'okunyumya akaboozi k'ekikulu.[3]

Basudde yafiira mu kabenje bweyali agenda okulaba bazadde bbe e Masaka mu bukiika kono bwa Kampala. Olumbe lwe gwali mukolo gwa ggwanga lyonna ng'era gwakungaanya obukadde 12 obwa ssente za Uganda. Abamu baalaba nga Basudde ng'omuzimu ogwali guyekera. Yali yalekulira e klezia y'abakatuliki n'adda mu kusamira nga yalumbibwa nga nnyo abantu abaali badukanya e kelzia olw'okulekulira ediini n'asawlo okudda mu bulogo. Baamulumiriza okuleeta obuwala ku siteegi mu nnyimba zze nga buno obwali bwambadde engoye ezaali zisikiriza, n'okubeera ng'abayimbi b'ennyimba za Kadongo Kamu yabafuula bakugula.

Obumannyifu bwe

[kyusa | edit source]

Basaaya Rocks Peter ow'ebyafaayo agamba Herman Basudde yali mutume olw'okuba yali asobola okulagula ebyali bijja mu maaso nga tebinaba kubeerawo. Okumannyikwa kwe ku kyagenda mu maaso kuba abayimbi abato abaagala okuyitimuka mu kisaawe ky'okuyimba batera okulambula amalaalo gge nga banoonya kufuna magezi. Fred Ssebatta, abamu kubakubi be'nnyimba za Kadongokamu abaluddewo, agamba nti Herman Basudde yali musaale mukutondawo ng'ate yakola nga mangu. Yayongerako ng'agamba nti kyali kizibu nnyo okugerageranya Herman Basudde mu kuwandiika ennyimba n'omuntu yenna omulala. Yayongerako ng'agamba Herman Basudde yali asobola okufulumya oluyimba, Ssebatta yali asobola okumuzinduukiriza ku lunaku olw'okubiri. Ng'enaku z'omwezi 12 mu mwezi ogw'ekumi mu mwaka gwa 2012, pulezidenti wa 'Ghetto' oba akulira enzingota Bobi wine yasiima emirimu emirungi Herman Basudde gyeyali yakolera eggwanga lino. Anyonyola ebiseera ebyo bw'ati, ' nga yeeyagaliza singa omutume Herman Basudde yali akyaliwo'... Yatuleka okumaliriza ekirubirirwa kye, naye engato zze nene nnyo okubeerako omuntu yenna azambala, bw'agamba. Basudde yayiiya ng'ennyimba ng'azigya mu mutwe gge, ng'era yali tasobola kuddamu luyimba lweyali amaliriza kuyimba mu kusooka. Herman Basudde yalambula amawanga g'omubuvanjuba bwa Afrika, nga yatambula Kenya, Tanzania n'amaliriza ne Rwanda. Okutambula kuno kwamuleetera okukungaanya obukadde bwa ssente za Uganda obwali buwera  70, nga zino zaali ssente nnyimngi mu biseera ebyo.

Okufaakwe n'ebyavaamu

[kyusa | edit source]
Entaana ya Basudde mu Bubondo

Nga tanafa, Basudde yali yalagula okufaakwe ng'ayita mu bigambo n'ebikolwa. Aisha Nakito nga ye namwandu we annyumya ebyaliwo olunaku lumu emabega nga tanaba kufa. Ng'enaku z'omwezi 10 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 1997, yagenda okusisinkana eyali mukyala we omulala Jane Basirika oluvannyuma lw'okumala enaku eziwerako ng'atalaaga amawanga g'omubuvanjuba bwa Afrika.Baalya bombi, webaali balindirira okujja kwa Serunjoji. Oluvannyuma lwa Serunjoji okujja, yamuwa akafumito oba yamugwa mu kafuba. Baali baafunamu obutakaanya mu emabegako, nga wamui baalina olukungaana lwa famire okutereeza ebyaali byabasobako. Oluvannyuma lwa bino byonna, baayolekera e Masaka. Kuba taata wabwe yali yasanyalala ng'era abeera waka. Mu lugendo lwabwe, baayimirira ku luguudo lw'e Lukaya okufuna ku by'okulya , nga wano Basudde yafunamu obutakaanya n'omusajja omu eyali amunyizizza, ng'era yali abulako katono okulwanagana naye. Wabula Sylivester Busuulwa ensonga zino yazikakanya. Yatandika emmotoka ng'ajudde obusungu bungi ng'ate yali avugira kundiima ey'ekika ekyawagulu. Bweyatuuka e Kabaale Bugonzi, newabeerawo obuzibu, nga loole eyali egezaako okuyisa yaviirako, Basudde okulemererwa okukakana ng'emmotoka yeerindigudde ekigwo era neyeevulungula emirundi egiwerako. "Ono omusajja ng'anteese mu buzibu bungi!" Yasa omuka gwe ogwali gusembayo. Herman Basudde, eyali omuyimbi omumannyifu ennyo mu Uganda n'okusuna endoongo yafiira mu kabenje k'emmotoka akaali ak'entiisa bweyali agenda okulaba bazadde bbe abaali babeera e Masaka, mubukiika kkono bwa Kampala. Basudde yalina abagoberezi bangi olw'edoboozi lye n'engeri gyeyali ayimbamu n'omukwano ssaako n'okwagala ku nti ebyali bikwatagana ku bibeera bigudde mu baagalana nadala mu mukwano nga tebabyetegekedde, ssaako n'abasajja abafumbo abaagala eby'okwegata ennto n'abakazi mu nsonga z'akaboozi k'abakulu, wamu n'eby'obuloogo, kyekika ky'ennyimba ezamuyamba okumugya mu bwavu okumuteeka mu by'obugagga ebyali bibalibwamu obukadde n'obukadde bw'enssimbi mu biseera bye. Yali abuulidde ennyimba za Kadongo Kamu ssaako n'abaali baziyimba, nga bano baali bamanyikiddwa nnyo mungeri gyebaali basunamu endongo zaabwe. Nga Basudde tanafa yakiremerako nti bandibadde bamuziika n'endongo ye gyeyali asinga okwagala gyebaali bayita "dry guitar", nga webaali bagiyita. Yali yakimanya nti munywanyi we gweyali aludde naye, Livingstone Kasozi yali azikiddwa ng'akutte olutaambi lwa teepu, nga naye mungeri y'okumubudaabuda, yali ayagala kibeere bwekityo mubulamu obwali buddako. Okuziika kwa Basudde gwalinga mukolo gwa ggwanga lyonna. Kuba kuntaana ye kwaliko nnamungi 'womuntu eyali mukunyolwa. Emikutu kya ttivi gyali giraga abaantu abangi abaali bagenze okumuwerekerako ng'azikibwa. Omulangirirwa ku leediyo ezimu yakaaga bweyali ayogera kukufaakwe, nga n'okuziika kwe kwakungaana obukadde 12 obwa ssente za Uganda. Ennyimba za Basudde zaafuna endowooza n'okumannyikwa nga kino kyali kiva kumpapula z'amawulire wamu n'emikutu egy'enjawulo. Olupapula lwa Uganda Monitor kyabiyita ng'ebyali bijjuddemu emizimu ng'ate bisikiriza mungeri y'eby'obufuzi". Abamu bejusa nga bagamba nti yali tasobola kubeerawo kulwanyisa mbeera z'abazungu ezaali zonoonye endowooza z'abannayuganda nga bayita ku mikutu gya leediyo. Abalala baalabanga Basudde ng'omuzimu ogwali guyeekera. Yali yalekulira e klezia y'abakatuliki n'adda mu kusamira nga yalumbibwa nga nnyo abantu abaali badukanya e Kelezia olw'okulekulira ediini n'asalawo okudda mu bulogo. Baamulumiriza okuleeta obuwala ku siteegi mu nnyimba zze nga buno bwali bwambadde engoye ezaali zisikiriza, n'okubeera ng'abayimbi b'ennyimba za Kadongo Kamu yabafuula bakugula.

Ennyimba zze

[kyusa | edit source]

Ezimu kuzino kwaliko:

Abakungubazi,

Abakyala kyabeeyi,

Abankuseere,

Aayiimbi,

Abayimbi mutuveeko,

Africa,

Akadda nyuma,

Kelementina,

Akyalina nyoko,

Nanziri,

Mulekwa,

Buddu owedda,

Bus dunia (ekitundu ekyali kisooka) ,

Bus dunia (Ekitundu eky'okubiri),

Byendabye,

Byebalinanga,

Byetwalaba,

Ebiyita ekiro,

Ekiryo nomuwafu,

Eggwala,

Ekirooto kyeggulu,

Ekitutwala Ku mbaga,

Ekiwuka ekyaggwa mu ntamu,

Ekyali mu sabo(Ekitundu ekisooka) ,

Ekyali mu sabo (Ekitundu eky'okubiri),

Emikwano,

Enimiro y'okukubuganga,

Ensi egenze walala,

Esomero lyabakyala,

Esuuti ya kawemba oba okwekuuma,

Kabuladda Anthem,

Kasamba lyanda,

Kopolo Herman,

Linda Ziwere,

Milly Nanyondo,

Mubune engoye,

Mukyala mugerwa (Ekitundu ekisooka),

Mukyala Mugerwa (Ekitundu eky'okubiri),

Mulamu tonenya,

Muwase nju,

Muyige okwambala.

Mwami tonjeza,

Mweraba Ngenze,

Nabiryo ngenda kunoba,

Namagembe,

Namuddu,

Namuleme,

Okuduula,

Okuzaala kwa leero,

Olulimi oluganda,

Olumbe,

Omwavu,

Pirisiira,

Semukuutu.

Taso funa akalambe,

Tetukyalina bakazi oba omukazi akola,

Tudaabirize omukama,

Tulabye nnyo abalabi,

Uganda ebadde etya,

Waliwo byetwalaba,

Walumbe e tanda n'endala nnyingi. Waliwo n'ennyimba zeyakola nga n'abayimbi abalala nga Nabiryo ngenda Kunoba ng'ali ne mwannyina Nabiryo, Kabuladda anthem ng'ali n'ekibiina kye eky'abayimbi kyebaali bayita 'Kabuladda guitar singers', Olumbe ng'ali ne Kasozi Livingstone wamu ne Mbalire kateteyi.

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171018235731/http://chimpreports.com/entertainment/walukagga-visits-kadongo-kamu-legend-livingstone-kasozis-grave
  2. Baakisimba: Gender in the Music and Dance of the Baganda People of Uganda, Sylvia Antonia Nannyonga-Tamusuza, Routledge, February 4, 2014, p. 126
  3. The Oxford Handbook of Medical Ethnomusicology, Oxford University Press, USA, April 27, 2011, p. 170