Jump to content

Hilda Flavia Nakabuye

Bisangiddwa ku Wikipedia
Hilda Flavia Nakabuye

  Hilda Flavia Nakabuye (yazalibwa nga 15 Ogwokuna 1997) munnayuganda omulwanirirzi w'eddembe ly'ebyobutonde eyatandikawo ekisinde kya Fridays for Future. Era alwanirira nnyo omwenkanonkano mu kikula ky'abantu era n'ekisinde ku nkyukakyuka y'obudde mu bitundu ebimu. Ekimu ku by'asaako essira ku butonde bw'ensi kwe kutaasa enyanja Nalubaale, ennyanja eyunga Uganda n'ensi ezigiriraanye. Ng'ekimu ku bulwanirirzi bwe, Nakabuye akyalira amasomero n'ebitundu eby'enjawulo okukubirirza abakyala okuvaayo okulwanirira enkyukakyuka mu butonde, ng'agamba nti "akasambatuuko k'embeera y'obudde tekalina nsalo".[1] Era yakola obutabo obusomesa ku mbeera y'obudde,[2] omutimbagano ogukozesebwa okuzaamu abantu amaanyi mu kumanyisa abantu ku nkyukakyuka z'embeera y'obudde.

Nakabuye abadde y'ekalakaasa mu kibuga Kampala, Uganda, okuva mu 2017 oluvanyuma lw'akafubo ku nkyukakyuka y'obudde n'aba Green Climate Campaign Africa (GCCA) ku Kampala University. Gw'ali mukolo guno ogwamuleetera okuzuula nti enkyukakyuka mu mbeera y'obudde yeyaviirako faamu ya Jjajjaawe okw'ononebwa. yatandiika okukola n'ekibiina kya GCCA ng'omukubi wa kakuyege, naye oluvanyuma yawulira obwetaavu obw'ekisinde okulwanirira enkyukakyuka ey'amangu.

Obuzaale bwe n'ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Yasomera ku Yunivasite ya Kampala International University era nafuna Diguli ye eya bachelor’s degree in procurement and supply change management.[3]

Kakuyege we

[kyusa | edit source]

Ng'omu ku kakuyegewe owa Uganda's Fridays for Future movement, Nakabuye n'abagoberezi be abalwanirira obutonde bewaayo okukunga abavubuka ab'ekiwago mu kweguggunga kwabwe ng'ababanja enkola eyamangu eri akasambatuko k'obutonde bw'ensi. Ekisinde ekya The Fridays for Future movement mu Uganda kati kye kisinde ekisinga mu Bukiikakkono bwa Afirika,[4] n'abavubuka abasoba mu 50,000 nga basaasanidde mu masomero 52 ne Yunivasite taano, era nga ba batuuze mu mawanga omuli Uganda, Sierra Leone, Angola, Gabon, Nigeria ne Kenya.

Nakabuye ayogedde ku bbula ly'ebisinde ku nkyukakyuka z'obutonde nga agamba nti, "okukubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka z'obutonde ssi bya bazungu bokka."[5] Yavumirira bannamawulire oluvanyuma Vanessa Nakate, omulwanirizi w'obutonde okusalibwa mu kifaananyi[6] ekyakubibwa ku World Economic Forum mu Davos mu mwezi gwa Gatonnya 2020. Yavumirira ekikolwa kino era nakitwalira mu ttuluba "eryokulagajjalira obutonde bw'ensi n'okubwawulamu," okubulawo kwa Nakate's mu kifaananyi kwalaga nti abalwanirirzi baali bazungu bokka, nga mwe mwali n'owemyaka akkumi n'omusaanvu Greta Thunberg.

Okweguggunga kwa Nakabuye kwasikiriza abantu munsi yonna, era ayogeddwako nga omuwala omuto anyikiridde okulwanirira obutonde bw'ensi ku mikutu egy'enjawulo omuli BBC News,[7] Vox,[8] ne mu katabo ka Time.[9] Nga 11 Ogwomwenda 2019, yayitibwa okwogera[9] ku lukungaana lwa C40 Mayors summit mu Copenhagen, Denmark, okusaba okukola okwembagirawo eri abakuulembeze okuva mu bibuga ebisinga obunene.

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]