Jump to content

Holy Keane Amooti

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Holy Keane Amooti Munnayuganda omuyimbi w'enyimba z'eddiini, ekidandali ne reggae.[1] Ayimbidde mu Kenya, Rwanda ne Tanzania, era yagabana siteegi ne Papa san, Michelle Bonilla, Wilson Bugembe, Exodus, ne Judith Babirye.[2][3]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Amooti yazaalibwa Mugisa Keneth nga 7 Ogwomusanvu 1986, mu Fort Portal. Yakula ne jajjawe eyali mu Buggwanjuba bwa Uganda (Disitulikiti y'e Kasese). Mu 1998, yafiirwa maamawe ne taatawe mu 2000 nga bombi baafa kawuka akaleeta siliimu. Mu 2003, sengawe ne jajjawe bombi baafa. Ng'omwana omukulu mu famire y'abaana bana, Holy Keane yeyasigala okulabirira bagandabe. Yasomera ku Equator Model Primary School, Kasese Secondary School era natikkirwa okuva mu Ssetendekero wa Makerere University mu 2012 ne Diguli esooka mu kuzannya katemba n'okuzannya filimu eya bachelor's degree in performing arts and film.[4]

Enyimba z'eyayimba

[kyusa | edit source]

Ennyimba

[kyusa | edit source]
  • Jah Jehovah
  • Guide me
  • Hero ft Becky Nantale
  • Milele & mbote ndocha
  • Niiwe
  • Download ft Hawa Musa
  • He paid it
  • King and queen
  • Am to pm
  • Messiah
  • Love love
  • Anatupenda
  • Love love remix ft JJ Worthen

Awaadi z'awangudde

[kyusa | edit source]
  • Yalondebwa ng'omuyimbi w'omwaka mu awaadi za Groove awards 2012
  • Yalondebwa mu Awaadi za VIGA Awards: ng'omuyimbi wa Dance Hall ow'omwaka
  • Yalondebwa mu Awaadi za HIPIPO Awards: n'omuyimbi w'okusiteegi asinze [5]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2016-09-17. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://powerfm.co.ug/phatfest/holy-keane-amooti/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-05. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-13. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-05-30. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)