Husnah Kukundakwe
Husnah Kukundakwe (yazaalibwa nga 25 Ogw'okusatu 2007) Munnayuganda omuwuzi era nga ensangi zino ye muwuzi yekka ali ku mutindo gwensi yonna. Yasooka kulabikirako mu mpaka z'ensi yonna eza World Championships mu London bwe yamenyebwa ab'akakiiko ka International Paralympic Committee’s (IPC’s) mu mizannyo ekkumi egisinga.[1]
Obuvo n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Kukundakwe yazaalibwa mu 2007 mu Dwaliro ly'eRubaga nga yazaalibwa Hashima Batamuriza ne Ahmed Asiimwe.[2] Yafuna obulemu mu kuzaalibwa obwamuleka nga talina mukono gwa kkono. Kino kiyitibwa.[3] Yasomera ku Lyna Daycare and Nursery School era mu 2019, yali asula mu Kampala era yali muyizi ku ssomero lya Apollo Kaggwa Primary School erisangibwa e Mengo, ku njegOOYEGO ZA Kampala.[4]
Okwenyigira kwe mu kuwuga
[kyusa | edit source]Kukundakwe yatandika okuwuga ku myaka etaano era mmemba wa kkiraabu y,okuwuga eya Gators Swim Club esangibwa mu Kampala.[4] Wano mu Uganda yeetaba mu mpaka z'okuwuga eza DSTV ezaaliwo mu 2017 ku ssomero lya Greenhill Academy mu Kampala.[5] Kukundakwe era yeetaba mu mpaka ezaali mu Korea eza 2018 Korea Paralympic Youth Camp gyeyawangulira omudaali gwa zzaabu mu za 100m breaststroke.[6]
Mu Gw'okutaano gwa 2019, Kukundakwe yeetaba mu mpaka za S9 (freestyle, butterfly ne backstroke), SB8 (breaststroke) ne SM9 (Individual Medley) ezaddibwamu mu mpaka za World Para Swimming World Series 2019 mu Singapore.[7] Yakola mu mpaka za mirundi esatu gyeyayoleseza sitayiro ze ezisinga obulungi mu za breaststroke (1:57.8), 100m freestyle (1:30.43) ne 50m freestyle (40.24).[1]
Okuva ku olwo, yayitamu era naafuuka Munnayuganda yekka mu za London eza 2019 World Para Swimming Allianz Championships.[8] Mu mpaka zino, yeeyongera okukola obulungi emirundi ebiri mu za 50m (38.14) neeza 100m (1:24.85) eza freestyle.[1][9] Mu 2021, yakiikirira Uganda mu za 2020 Paralympic Games ezaali mu Tokyo Japan era naakola sitayiro ye esinga eya mu 100m Breaststroke.
Mu 2022, yakiikirira Uganda mu mpaka za Lignano Sabbiadoro World Series era naagiwangulira emidaali gyayo egya International Para Swimming medals egyasookera ddala mu za 100m Butterfly ne100m Breaststroke.
Era, yakiikirira eggwanga mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu Birmingham egyava nga 28 Ogw'omusanvu okutuusa nga 8 Ogw'omunaana 2022 nga omuwuzi yekka .
Era mu 2022 yeetaba mu za Konya 2021 Islamic Solidarity Games ezaali e Turkey naasitula bendera ya Uganda waggulu bwe yawangula emidaali 6 medals. 2 Gold, 3 siriva ne Bronze mu za Para Swimming events
Laba na bino
[kyusa | edit source]External links
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://www.newvision.co.ug/news/1506849/kukundakwe-set-world-para-swimming-championship Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1476709/unstoppable-deformed-birth-international-swimmer
- ↑ https://www.paralympic.org/husnah-kukundakwe
- ↑ 4.0 4.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/Paralympic-swimmer-scores-4-in-PLE/688334-5424580-ixajwr/index.html Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ https://www.monitor.co.ug/Sports/OtherSport/Kukundakwe-proud-of-budding-para-swimmers/690284-5297266-105l9xwz/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1497641/para-swimmer-kukundakwe-cash-drive-participate-world-series
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1499830/kukundakwe-world-para-swimming-series
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1506849/kukundakwe-set-world-para-swimming-championship
- ↑ https://www.paralympic.org/news/london-2019-husnah-kukundakwe-making-history