Jump to content

Idah Nantaba

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nantaba Idah Erio

 

Ida Erios Nantaba munabyabufuzi Omunayuganda. Yeeyali Minisita Omubeezi mu Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by'obubaka n'eby'empulizigana. Yatekebwa mu kifo kino nga 6 mu Gwomukaaga mu 2016.[1] Nga tanatuuka ku ekyo, okuva 15 Ogwomunaana mu 2012 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, yeeyali Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'ettaka mu Kabineeti ya Uganda.[2] Nantaba era ye Mubaka wa Paalamenti omukyala eyalondebwa okukiikirira konsitituweensi ya Disitulikiti y'e Kayunga.[3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kayunga nga 20 Ogwekumineebiri mu 1979.[3] Kitaawe yafa mu 1984 nebamulekera maama we eyamulabirira ng'ali wamu ne muganda we omulenzi Samuel Kabenge Bamulumbye eyali omusika wa kitaabwe. Yasomera ku Ndeeba Primary School mu Disitulikiti y'e Kayunga okuva mu 1986 okutuuka mu 1992, gyeyatuulira P7. Wabula, maama we ne mukulu we tebaalina ssente zimala kusobola kumutwala ku somero lya siniya nuungu, era weyeegatira ku Ndeeba Senior Secondary School gyeyasomera S1 mu 1993. Yasenguka n'agenda okubeera ne mwanyina eyali mukulu we ng'asinganibwa ku kyalo kyebayita Kisoga era mu Disitulikiti y'e Kayunga. Banakyali e Kisoga bajukira nga mwanyina bweyali amutwalira ku kagaali ng'amutwala kusomeronga bavugawo kiromita 14 za mayiro 8.7okuva ewaka waabwe buli lunaki. Mu 1994, maama wa Nantaba yafuna kussente n'amugya kusomero lya Ndeeba SSS okumutwala ku Katikamu SDA SSS gyeyasomera okuva mu S2 okutuuka mu S4 gyeyagimalira. Yaweebwa ekifo ku Mukono Town Academy gyeyasomera S6, ng'eno yagimaliriza mu Gwokuminoogumu mu 1998. Nga 26 Ogwomwenda mu 1999, Nantaba yagenda ku Yunivasite y'e Makerere, okusoma Diguli mu by'obulambuzi. Yayongerako n'okusoma kw'abayizi okw'okubiri mu kunoonyereza ku pulojekiti eyali ku ddagala erigibwa mu birime mungeri y'okusikiriza abalambuzi: n'esira yali wakuliteeka kuterekero ly'ebisolo erya Uganda Wildlife Educational Center (UWEC), eyali erondoolwa Omukenkufu J. B. Nyakaana. Nantaba alina Diguli mu By'obulambuzi, gyeyafuna mu 2003 ku Yunivasite y'e Makerere.[3][4]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Mu 2003, oluvannyuma lw'okutikirwa okuva e Makerere, Yakolako nga avunaanyizibwa ku by'obulambuzi ne kampuni ya Pearl of Africa Tours and Travel Limited. Yalekulira omulimu guno mu 2003 nga agwaako.Kuntandikwa ya 2005, yawereza ku kakiio k'abakulu abadukanya emirimu mu kampuni ya Jordan Laboratories Limited, eyali ekola mu by'okufulumya ebyuma ebukuba ebifanannyi n'okukola ebiwandiiko. Mu 2010, yeegata ku by'obufuzi nga yeesibawo ku ky'omukyala eyalin agenda okukiikirira Konsitituweensi ya Disitulikiti y'e Kayunga. Yawangula akamyuufu k'ekibiina kya NRM oluvannyuma lw'okuwangula eyali mu kifo kino, Florence Naiga. Mu 2011, yalondebwa mukaseera k'okulonda kwa bonna.[3] Mu kukola enkyuka kyuka mu Kabineeti nga 15 Ogwomunaana mu 2012, yaweebwa eky'okubeera Minisita Omubeezi Ow'eby'ettaka,[5] ng'adira Sarah Opendi Achiengmu bigere.[3] Oluvannyuma lwa wiiki empaanvu ez'okuwuliriza, akakiiko akakola ku by'okuwa ebifo mu Paalamenti, kaamukakasa mu kifo kino nga 23 Ogwomwenda mu 2012.[6]

Okuva 2015 okutuuka kati

[kyusa | edit source]

Mukaseera k'okulonda ababaka ba Paalamenti mu 2016, Nantaba yawangulwa bwebaali mu kamyuufu akaategekebwa ab'ekibiina kye ekya National Resistance Movement (NRM), mu kaseera ako .[7] Yalekulira ekibiina kino, nga abalumiriza okubeera nga baakwata mu bululu buno obw'akamyuufu,[8] nga bweyalabula mu kusooka.[9] Mu kaseera k'okulonda kwa bonna nga 18 Ogwokubiri mu 2016, Nantaba, eyeesimbawo nga atalina kibiina , yafuna obululu 86,057 n'asinga Ruth Nakacwa, eyali afunye obululu 13,184.[10] Wadde nga yali yalekulira ekibiina kya NRM, yaweebwa eky'okubeera Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku tekinologiya obubaka n'eby'empuliziganya nga 6 Ogwomukaaga mu 2016.[1]

Nga 24 Ogwokusatu mu 2019, Nantaba yeenyiira munsonga emu eyavirako omuntu ataalina musango okutekebwaako enpiing, era poliisi ya Uganda nemukuba esasi n'afa.[11][12] Nantaba yali ateebereza mu bukyamu nti omusajja ono, Ronald Ssebulime, yali abagoberera ng'ali ku piki piki mu Disitulikiti y'e Kayunga.[11][12] Oluvannyuma lw'okumugoberera, n'okumuzuula, Ssebulime yakatibwa, nebamuteeka kunpiingu, omusirikale n'amukuba amasasi gamirundi ebbiri mu kifuba.[11][12] Abakungu bagezaako okubikirira ensonga eno, nga bagamba baali bagezaako kwewala butemu.[11][12] Wabula oluvannyuma lw'okukola okunoonyereza, poliisi yafulumya ekiwandiiko nga kigamba omusirikale yeeyali avunaanyizibwa.[12][13]

Aidah Nantaba simukyala mufumbo. Akiririza mu ddiini yaba Adiventi. Atuula mu Paalamenti eyekumi okuva mu 2016 okutuuka mu 2021 nga omubaka atalina kibiina kyeyagiramu.Awereza ku bukiiko bwa Paalementi obw'enjawulo nga:[3]

  • Akakiiko akadukanya eby'obulambuzi, obusuubuzi n'amakolero
  • Akakiiko akalwanyisa obulwadde bwa siriimu n'akawuka kamukenenya wamu n'ensonga ezekuusa ko

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  2. https://web.archive.org/web/20120816010806/http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni+reshuffles+Cabinet++makes+marginal+changes/-/688334/1480036/-/jh8op4/-/index.html
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 3.4 3.5 https://web.archive.org/web/20190301013451/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=249
  4. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Who-is-idah-Nantaba-/691232-1538642-item-00-94bjikz/index.html
  5. https://www.facebook.com/notes/the-new-vision/full-uganda-cabinet-list-as-of-15th-august-2012/10151137578009078
  6. http://www.newvision.co.ug/news/636721-appointments-committee-rescinds-position-on-nantaba.html
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-21. Retrieved 2023-10-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. http://mobile.monitor.co.ug/News/Lands-State-minister--floored-in-Kayunga--quits-NRM/2466686-2879714-format-xhtml-l6oxcoz/index.html
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-21. Retrieved 2024-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-Nantaba-trounces-NRM-candidate-/688334-3084210-pcp7mcz/index.html
  11. 11.0 11.1 11.2 11.3 https://mobile.monitor.co.ug/News/Mourners-curse-Nantaba-police-Ssebulime-murder/2466686-5045384-format-xhtml-qqegtj/index.html
  12. 12.0 12.1 12.2 12.3 12.4 "Murder by police in Uganda". Africa Insiders' Newsletter by African Arguments. 2 April 2019.
  13. https://www.upf.go.ug/police-corrects-narrative-on-incident-of-murder/

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]