Ife Piankhi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ife Piankhi Munnayuganda, mutontomi,muyimbi,[1] era musomesa.[2] Ayimbye n'abayimbi ab'enjawulo nga Keko, Nneka, Mamoud Guinea, Geoff Wilkinson, Michael Franti, Jonzi D, Wynton Marsalis, Floetry , n'abalala bangi. Alambudde amawanga g'ebulaaya mu myaka 30 agayise ng'akyadde mu mawanga nga Canada, Ghana, Sierra Leone, Zanzibar, Zambia, Romania, Italy, Holland, ne USA. Nga alimu Bungereza yawulilwanga nnyo ku Colourful Radio, eyatandikibwawo Henry Bonsu. Yalabikirako ne mu filimu ya 500 years later eya Owen Shahadah[3] ne Nubian Spirit eya Louis Buckley[4] eky'amuyigiriza ku by'enkulakulana y'ekitundu kya Nile Valley. Ife yatandika emirimu ku myaka 18 nga asomesa ebyafaayo bya Africa mu ssomero lya Aimhotep School of Knowledge. Okuva ku olwo okutuusa kakaano, yeyongerayo okukola ng'omusomesa. Yakubiriza pulojekiti ez'enjawulo nga okufaanagana n'enjawuka mu kitundu ky'e Sutton n'okukwanaganya ebitundu eby'enjawulo mu Merton. Pulojekiti endala yali Ancestral Gathering, gye yakwasaganya ne Aamasade Shepnekhi,[5] eyamulaba ng'akola n'ebitundu eby'enjawulo okutandiikawo amasinzo. Era alabiddwako ku mikolo gy'ebitontome n'ebivvulu by'ennyimba mu Kampala, Uganda.[6] Okumala emyaka etaano, yatuula ku kakiiko akakulembera ebikujjuko bya Laba Street Art Festival,[7] era ayambyeko mu nteekateeka z'ebyenkulakulana nga Teen Slam Poetry Challenge,[8] Poetry in Session[9] ne Babashai Poetry Award.[10]

Yali omu ku ba Mmeeya b'ekibiina kya London Ken Livingstone's London Leaders for Sustainability,[11] gyeyali avumbulira ebikolwa eby'okukuuma obutonde bw'ensi n'obuyiiya ng'ali n'ekibiina kya African Caribbean community mu Bungereza. Yetaba mu pulogulaamu ya Findhorn the Foundation EcoVillages programme,[12] mu kuvumbula ebitundu eby'ebezaawo mu mbeera ezitali zimu era yetaba ne mu pulogulaamu z'akakiiko k'abakulembeze b'ebitundu aka British Council UK Interaction Leadership Programme.[13] Ali wamu n'ekitongole kya African Foundation for Development (AFFORD)[14] yakola n'abakyala abasuubuzi mu Sierra Leone.[15] Mulwanirizi w'omwenkanonkano n'eddembe ly'abakyala era nga anyumirwa nnyo okuvumbula ku kubeera obulungi mu bawala n'abakyla.

Mu 2017 yali muyimbi mu 32 Degrees East the Ugandan Arts Trust.[16] Ekitontome kye ekyatuumibwaTo Be or Not 2B? ekyali kinyonyola ku kusenguka, okufaanana n'akukungubaga ng'essira lyali ku Maafa or obusambatuko obw'amaanyi -Okukakibwa kw'aBafrika okusenguka n'okutwalibwa mu buddu.[17] Era ekitontome kino kyetobeseemu bisomoza bingi aba Firika by'ebasanga mu kyasa ekya 21 naddala abakakkibwa okusenguka olw'entalo, eby'enfuna nga yali agenderera kukwatagana ne ssemazinga gye yali asibuka.

Mu 2018 Piankhi yetaba mu pulojekiti ya Great African Caravan, eyali erwanirira emirembe, okusenguka n'okuggywo ensalo okuva mu Cape Town okutuuka mu Egypt.[18]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Piankhi yasomera ku Barham and Preston Manor High School era ye yali omuyizi w'omwaka eyava mu Ggwanga eddala okusomera mu Amerika. Nga yali yegomba mugandawe Debbie Nimblette, yatandiika okukola n'abavubuka mu kulwanyisa obutasoma. Piankhi yasomera ku South Bank University, gyeyafunira Satifikeeti eya certificate in Delivering Learning and Learning through Play. Yatendekebwa Dr Llaila O Africa, mutendesi atuukiridde era akwasaganya ebimanyikiddwa nga Yoga.[19]

Okuwandiika kwe[kyusa | edit source]

Piankhi yali nnazirwanako okutandiikira mu 1992. Byawandiise bisangibwa mu bitontome nga One Thousand Voices Rising and Aspects of Life. Yakolagana ne Sheron Wray 'omuyiiya w'amazina'[20] ng'alambula amawanga az'ebulaaya ne Texterritory ne Jamxchange, bombi bavumbula tkinologiya mu kuyimbira awamu n'abalabi. Ng'ayimba ne Rocca Gutteridge yayiiya ekyayitibwa - Lutembe Fantasy Land[21] era ng'ali ne Emily McCartney yakola akatambi k'ebyo byafulumizibwa okuva mu lugendo lwe:[22] Ekitongole kya East African Soul Train (EAST),[23] ekyakola olugendo okuva mu Nairobi okutuuka e Mombasa. Ekirala ekyafunibwa mu lugendo olwo ky'ekitontome eky'amaanyi "Punani", ekyawandiikibwa abakyala mwenda abaali bogera ku mulamwa gwa Kovu Safarini - Enkovu yange.

Alubaamu ze mulimu One Hell of a Storm on Tongue and Groove, Wildcat, BushMeat, fusions of Jazz, Reggae, ne Broken Beat.[24] Byakoze bilagiddwa ku mikutu egitumbula ebitontome egy'enjawulo nga Badilisha Poetry Radio. Soundcloud, Vimeo ne You Tube.

Okumanya ebisingawo genda ku mutimbagano gwa website www.ifepiankhi.com

Emirimu gye egy'afulumizibwa[kyusa | edit source]

Ebitontome[kyusa | edit source]

  • "Realising", "Tsunami", "Three little birds", in  A Thousand Voices Rising: An anthology of contemporary African poetry. BN Poetry Foundation. ISBN <bdi>978-9970-9234-0-3</bdi>.

Ennyimba ze yayimba[kyusa | edit source]

  • One hell of a storm, 1995

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. http://startjournal.org/2013/07/to-sing-what-is-it-really-about/
  2. http://www.inmovement.org/team/ife-piankhi
  3. https://www.imdb.com/title/tt0444593/
  4. https://www.youtube.com/watch?v=Bdqms_bY6X4
  5. https://www.treecircleceremonies.co.uk/
  6. http://badilishapoetry.com/ife-piankhi/
  7. https://labaartsfestival.wordpress.com/
  8. https://www.facebook.com/170761953406914
  9. https://www.youtube.com/watch?v=cj6ELh1IMD8
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-25. Retrieved 2023-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2018-03-10. Retrieved 2023-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://www.findhorncollege.org/programmes/ecovillageeducation/designforsustainability.php
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-22. Retrieved 2023-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://afford-uk.org/
  15. http://www.londonsdc.org/londonleaders/profile.aspx?ID=12
  16. http://ugandanartstrust.org/
  17. https://vimeo.com/223586859
  18. https://www.thegreatafricancaravan.com/
  19. http://afrikanyoga.com/
  20. http://dance.arts.uci.edu/dr-sheron-wray
  21. https://vimeo.com/144267361
  22. https://vimeo.com/246013514
  23. https://www.facebook.com/eastsoultrain/
  24. "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-19. Retrieved 2023-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.