Immaculate Akello
Immaculate Akello (yazaalibwa mu 1996) munnayuganda omulwanirirzi w'ebyenkulakulana, mulwanirizi w'obutonde bw'ensi, mulwanirirzi w'eddembe ly'abantu era munnamateeka nga ekigendererwa kye kya kukyusa bulamu bw'abakyala abali mu byalo naddala mu Bukiikakkono Uganda.[1] Akello yemutandiisi w'ekibiina kya Generation Engage Network, ekitongole ky'abavubuka ekigenderera okutuumbula eddembe lye by'obutonde era n'ebikubaganyizibwako ku nsonga z'ebyobutonde mu Bukiikakkono ne mu masekkati ga Uganda. Ng'ayita mu kitongole kino, yakiikirira Uganda mu lukungaana lwa Vijjana Assembly mu mwaka gwa 2018 mu kibuga ky'e Arusha, Tanzania era yeyali omwogezi wa Paalamenti y'abavubuka eya National Parliamentary youth moot mu Uganda mu mwaka gwa 2018.[1][2]
Obulamu bwe n'obuyigirize
[kyusa | edit source]Akello yasomera amateeka mu Yunivasite y'e Kampala International University era n'atikkirwa mu mwezi gw'okutaano mu 2019.[3]
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu biseera bye ng'ali ku Yunivasite y'e Kampala International University, Akello yali mmemba mu Paalamenti y'amateeka, era ng'akiikirira abantu abaliko obulemu mu kakiiko akakulu ak'abakulembeze b'aYunivasite.[3] Akello yakolako n'ekibiina kya Centre for Policy Analysis (CEPA) ekibiina ekitagenderera magoba wabula okutumbula enkola ya Demokulasiya mu Paalamenti wansi wa Paalamenti ya Uganda.[4] Ekiruubirirwa kye ekikulu kyali ku bukulembeze, Demokulasiya wamu n'eddembe ly'ababundabunda mu Uganda.[3]Oluvanyuma lw'omwezi ng'akola ne CEPA, yayitibwa okukola n'ekitongole ky'amawanga amagatte ekya United Nations ku Kontulakiti eyali ey'omwezi ogumu ng'oluvanyuma yayongezebwaayo okutuusa mu mu Gwekkuminebiri 2019.
Era laba
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://www.akinamamawaafrika.org/immaculate-akello/
- ↑ https://www.unwomen.org/en/news/stories/2021/8/i-am-generation-equality-immaculate-akello
- ↑ 3.0 3.1 3.2 https://kiu.ac.ug/news-page.php?i=alumni-voice-immaculate-akello
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-18. Retrieved 2022-05-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)