Jump to content

Irene Ntale

Bisangiddwa ku Wikipedia
Irene Ntale.jpg

Irene Ntale (yazaalibwa nga 30 Ogw'oluberyeberye 1989)mu nna Yuganda omuyimbi, omuwandiisi w'ennyimba, era omukubi w'ennanga .[1] Ayimba RnB, Lege, n'eza bbandi.[2]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Ntale yazaalibwa nga 30 Ogwoluberyeberye 1989 mu maka ga George William Ntale ne mukyala we. Yatandika okuyimba ku ssomero ne mu kkanisa mu kkwaya gye yayigira n'osuna endongo.[2] Yasomera ku Kitante Primary School ne yeeyongerayo ku Kitante Hill School gye yatuulira S.4, Makerere High kati eyitibwa Migadde College gye yatuulira S.6. Yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Procurement and Logistics Management mu Kyambogo University.[3]

Okuyimba kwe

[kyusa | edit source]

Okuyimba yakutandikira mu ssomero ne mu kkwaya y'ekkanisa gye yayigira n'okukuba endongo.[2] Yayimbanga ku bivvulu eby'enjawulo ng'ayimba nnyimba za bayimbi balala okutuusa lwe yeegatta ku Swangz Avenue. Okuva olwo, Ntale ayimbye ennyimba ezicaase omuli: "Gyobera", "Love letter" lwe yayimba e Bebe Cool, "Stay with me", "Nkubukinze" ne "Olindaba".[4][5]

Akyaziddwako ku TV ya Focus on Africa.[6][7] Ye ambasada wa kampeyini ya kkampuni ya Uganda Breweries Limited eyitibwa Red Card to Drunk Driving. [8][9]

Enkwatagana ye ne Universal Music Records

[kyusa | edit source]

Ku ntandikwa ya 2019, nga Ntale akyaddeko mu kibuga kya Nigeria ekikulu Lagos emirundi egiwera, waaliwo ebyayogerwa nti yali atandise enteeseganya n'aba kkampuni ya Universal Music Group ey'e Nigeria era nga 21 Ogwomunaana 2019, yateeka omukono ku ndagaano ne kkampuni eno,[10] ne kimufuula omuyimbi wa Uganda eyasooka okuwandiisibwa kkampuni eno.[11] Kkampuni yawandiika obubaka obwaniriza Ntale ng'ebuyisa ku mukutu gwayo omutonngole ogwa Instagram mwe yagambira nti: “Tukwanirizza mu famire yaffe!! Naabakyala wa Uganda, @irene_ntale. Luno olugendo lutandika butandisi....”.[12]

Ntale yafulumya oluyimba lwe olwasooka wansi wa kkampuni eno lwe yatuuma, Nyamba.[11]

Awaadi z'awangudde

[kyusa | edit source]
  • Omuyimbi Omukazi omupya asinga 2013, mu mpaka za Hipipo Music Awards[13]
  • Omuyimbi omukazi asinga, Buzz Teeniez awards 2014, 2015[14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20141002025849/http://www.newvision.co.ug/news/660170-irene-ntale-has-no-time-for-love.html
  2. 2.0 2.1 2.2 "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "reachahand" defined multiple times with different content
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://web.archive.org/web/20150204143649/http://africanwomanmagazine.net/latest/5-minutes-irene-ntale/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Irene Ntale's BBC Focus On Africa TV Show Live Interview -- Amazing". Retrieved 5 January 2015.
  7. "Gyobera singer Irene ntale like on BBC focus on Africa". Archived from the original on 5 January 2015. Retrieved 5 January 2015.
  8. "Irene Ntale Named Red Card Ambassador". Retrieved 5 January 2015.
  9. https://web.archive.org/web/20150102120823/http://www.investigator.co.ug/entertainment/others/gossip/4560-irene-ntale-inks-new-deal-with-ubl.html
  10. https://www.thecitizen.co.tz/news/Irene-Ntale-signs-deal-with-Universal-Music-Group-/1840340-5243882-116k0jxz/index.html
  11. 11.0 11.1 http://www.ghafla.com/ke/irene-ntale-becomes-the-first-ugandan-to-be-signed-into-universal-music-group-nigeria/
  12. https://www.instagram.com/p/B1azAMYgbzG/
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-01. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1340617/vision-scoops-buzz-teeniez-awards