Jump to content

Iriama Rose

Bisangiddwa ku Wikipedia
Iriama, Rose.jpg

  Iriama Rose munabyabufuzi omunayuganda eyazalibwa mu mwezi ogusooka nga 5, 1967. Yaliko omubaka mu palamenti ey'omunaana n'omwenda eya Uganda ng'akiikirira disitulikiti y'e Nakapiripirit nga yali talina kibiina gyeyagiramu.

Obulamu mu by'obufuzi

[kyusa | edit source]

Yawerezaako mu palamenti ya Uganda ey'omunaana n'omwenda[1]eya Uganda nga ye mubaka wa disitulikiti y'e Nakapiripirit.[2][3][4] Ng'awereza mu palamentie ey'omwenda yalondebwa ng'omu kubabaka abaayogera obutaka wansi wa mirundi etaano mu palament,okusinziira ku kunoonyereza okwakolwa olupapula lwa 'Daily Monitor' ku likodi ezibeera kunteseganya za palamenti .[5] Okunoonyereza kwakizuula nti ababaka ba palamenti 34 boogedde emirundi egitaka wansi wa 5 nga bali mu kungaana za palamenti mu myaka 2 egisembyeyo, ng'ababaka 105 abalala105, bawadeeyo endowooza zaabwe kubibeera biteseebwako emirundi 15.[5]

Ng'akyali mu offisi ye mu 2007, yawabula abalwanyi b'e Karimojong okukwatagana ne gavumenti eyali eyagala okubagyako emundu okugisobozesa okukulakulanya ekitundu gyebali .[2] Yali tawagira kita eky'okuta abantu abaali tebalina musango nadala abakyala nga kino kyali kikolebwa bibinja by'abatujju abaali mu kitundu ekintu ekyali kikosa enkulakulana mu Karamoja.[2] Iriama yali omu ku babaka abaasalawo okusisinkana saabaminista, Amama Mbabazi eyabawa obudde nga mukyala wa pulezidenti era eyali minista w'ebikwatagana mu Karamoja, Janet Museveni, agaanye okusisinkana ababaka ba palamenti abaali bava mu bitundu by'e Karamoja mu kuteeseganya ku by'ekitundu kyabwe ekyali kisinga obwanvu mu Uganda.[6] Ababaka abaasisinkana eyaliko saabaminista kwaliko Rose Akello (Kaabong), Modest Juliana Auma (Abim), Rose Iriama (Nakapiripirit) ne Margaret Iriama (Moroto).[6] Oluvannyuma lw'okuva mu ofiisi y'eby'obufuzi mu palamenti ey'omwenda yatiisa tiisa mungeri y'okusaaga okunyagulula ente za pulezidenti Museveni singa abalonzi tebaaliririrwa bisolo byabwe byebali balunda byebafiirwa mukaseera gavumenti weyali egirako abazigu emundu .[7] Mu 2009, Iriama yagamba olupapula lwa 'The East African' endowooza zze olw'engeri gyeyali alabamu engeri Janet Museveni gyeyali agenda okuleetamu enkulakulana mu kitundu nga klezia bweyakikola mu biseera by'emabega .[8] Yali omu kubabaka abaateeka omukono ku kawaayiro aka 118 ku by'okulonda akaali ak'okuwulirwa mu kooti ez'enjawulo mu ggwanga oluvannyuma lw'okulonda gw'omwezi ogw'okubiri nga 18 .[9]

Laba ne

[kyusa | edit source]
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20180815091530/http://fortuneofafrica.com/ug/members-of-parliament/
  2. 2.0 2.1 2.2 {{cite news}}: Empty citation (help)https://allafrica.com/stories/200703260492.html
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://everypolitician.org/uganda/parliament/term-table/9.html
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/mbabazi-suruma-face-political-end/
  5. 5.0 5.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/silent-mps-exposed-1546614
  6. 6.0 6.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221006082735/https://www.observer.ug/component/content/article?id=18958:why-janet-karamoja-mps-fell-out
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)http://nilepost.co.ug/2020/09/29/opinion-why-are-the-karimojong-so-little-understood-outside-of-karamoja/
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.theeastafrican.co.ke/tea/news/east-africa/first-lady-must-tread-carefully-on-karamoja-development-agency-1294012
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://ugandaradionetwork.net/story/118-parliamentary-election-petitions-cause-listed-for-hearing