Isaiah Katumwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Isaiah Katumwa Munnayuganda omukommonsi wa jazz[1][2][3] Omukommonsi w'omulele.[4] Awereeza ku Urban TV (Ttivvi ya Uganda emanyikiddwa) mu pulogulaamu eya wiiki, eyitibwa "Jazz with Isaiah".[5] Aweebwa ekitiibwa mu kukyusa abantu abawerako mu Uganda okwagala jazz.[6]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

  Awataali ssomero ly'akuyimba oba edduuka ly'omulele oba omusomesa okumutendeka mu kuyimba mu Uganda, Isaiah yagaana embeera y'okugera ebiseera bye eby'omumaaso. Kino ky'ali mu birowoozo bye ng'omuvubuka omuto mu myaka gya 1990 bweyaweebwa omulele ku mattikkira ge, ekivuga ky'eyali talabangako. Omukommonsi w'omulele ono eyeyigiriza ya yimirira nga ku siteegi n'abayimbi ab'amaanyi nga Jonathan Butler, Hugh Masekela, Jimmy Dludlu, Seweto Kinchy nga mu bangi mwe mwali omukommonsi wa Jazz eyasooka nga enkola ye yasikiliza saako n'okukyusa abantu abawerako mu kommonta Jazz. Akyusizza abantu abawerako okwagala okunyiikira mu jazz era ekyusizza ebika by'enyimba, abayimbi n'abawagizi okweyongera mu Uganda, ne East Africa okutwalira awamu. Omufirika, ensenekerevu ne eddini.... bye bigambo ebisatu by'akozesa okunyonyola enyimba ze. ‘’Okusukkuluma ku bisenge ebyatekeebwawo mu kisaawe ky'okuyimba, nzikkiriza mu kweyiyiza ebyo by'eyimba naddala by'empitamu mu bulamu obwa bulijjo okugyayo ennono z'Africa, okukommonta jazz ensenekerevu n'okuyimusa/ okutumbula endiini ’’ Isaiah bw'agamba .

Mu kisaawe ky'okuyimba[kyusa | edit source]

  Obukugu bwe n'okwagala omulele kw'aviira ddala mu myaka 20 egy'emabega, naye yatuuka ku ssa ly'abakugu myaka munaana emabega mu kaseera nga Jazz mu Uganda ne East Africa teyalina w'alagibwa mu kisaawe ky'okuyimba. Mu kaseera awataali kuwulirwa kw'okuyimba kw'omukubi w'ebivuga mu kitundu. Mu 2006, Isaiah yafulumya alubaamu ye eya ‘’Sinza” olw'azanyibwa ku BBC focus on Africa. Eno alubaamu ye yamutemera ekkubo n'oluyimba lwe olw'ali olw'akyaka ennyo olwa “Sinza” ol'amuleetera okumanyika mu ggwanga ne mu mawanga g'ebulaaya. Ye yongerayo n'ebigendererwa bye mu kw'ongera omutindo mu kisaawe ky'okuyimba, obukugu, okuyiiya n'obukugu obutakoma mu Jazz wabula ne mu nnyimba za Africa. Wamu n'okumanya mu nyimba z'obuwangwa, atandiisewo enkola y'okutabika amaloboozi okutumbula endabika ya East Africa, jazz ensenekerevu n'obwagazi eri enyimba z'eddiini. Osobola okuwulira empulira, endowoozo n'essanyu lyayiwa mu nyimba ze ng'aziteekteeka n'okuziyimbz ku siteegi. “Nesiimye olw'abantu okunnyaniriza n'okuwuliriza ennyimba zange…ku nze kirungi era ky'amagero. Ayimbye ku ttivvi ez'amaanyi omuli BBC (UK), PRI (US), African magic TV, DSTV’s Studio 53 ne MNET era alondeddwa mu Awaadi eziwerako.

Ayimbe n'ebayimbi ku siteegi y'emu n'okuggulirawo abamu nga Manu Dibangu, Jonathan Butler, Hugh Masekela, Miriam Makeba, Chaka Chaka, Oliver Mtukudzi, Erikah Badu, Phil Driscoll, Alvin Slaughter, Jimmy Dludlu n'abalala bangi. Awagira kampuni ekola emilele eya C.E WINDS, US mu Florida. Aweereza mu mawanga nga Europe- London UK, Amsterdam, Brussels, Paris, n'emumwanga g'omubuvanjuba n'obuggwanjuba bwa Africa. Ayimbidde abakulembeze abawera 20 era asanyisiza Pulezidenti wa Uganda emirundi egitabalika. Eri ye, obwagazi abawagizi be bwe bamulaga bwe bumuwa amaanyi okweyongerayo. Buli kaseera abantu lw'ebajja mu bungi okumulaba nga akommonta omulele, kimuwa empulira ey'enjawulo, omukisa n'okwesiima mu kaseera ke kamu. Okulaba abantu nga bayimba n'okubiibiza ku nyimba zange z'ennafulumya emyaka egy'emabega, kikomyawo obumanyirivu bw'ange okudda obugya n'okumpa amaanyi okunweza omulele.

Okwagala kwa Isaiah kuli mu kulaba obulamu bw'abavubuka nga bukyusibwa era yewaayo n'ekigendererwa kye eky'ovumbula ebitone by'abavubuka ebitanna kwatibwako ng'akozesa olugero lwe ng'omuntu: Olw'ebyafaayo bye eby'obutaba n'asuubi nga alina okwenonyeza ebisale by'essomero nga w'amyaka 10 gyokka okutuusa kati. “Bwemba n'asobola okutuuka wano w'endi, n'omuntu omulala asobola okukikola n'okusingawo ng'alina katonda” Isaiah mufumbo eri Sheila era nga balina omwana omulenzi Mitchell.

Okugyako okuyimba, Isaiah alina okwagala mu kuyigiriza n'okwagazisa abayimbi abato, ebitone nga kino akikola okuyita mu pulogulaamu ya “The Talanta Music Mentorship Program” gy'eyatandikawo mu Gwokubiri 2014.

Era asomesa mu masomero nga akyala mu masomero ag'enjawulo okugabana by'eyayitamu, by'eyakola, ebirooto, n'ebyeyayitamu mu bulaamu bwe okutuuka ku buwanguzi. Kino kyasikirizza abavubuka nkuminankumi okuva mu masomero ag'enjawulo ne Yunivasite.

Isaiah Katumwa alina pulogulaamu gy'aweereza eya “Jazz With Isaiah” ku Urban TV (sitesoni ya Uganda esinga obumanyifu), gweyatandika mu 2011 n'ekigendererwa eky'okuvumbula, okusomesa, okuzaamu abantu amaanyi, n'okujaguza ebitone. Akyaza abayimbi abagabana ku lugero lw'abwe era nga asanyusa abagalwa ba jazz.

Era aweereza ku ladiyo mu pulogulaamu ey'abuli lunaku eya “The Isaiah Katumwa Show” ku ladiyo ya 106.1 Jazz FM ng'eno gy'akubira enyimba ez'agalwa ennyo abantu okuva mu bayimbi ba Jazz ab'ensi yonna nga agoberera kusaba kw'abawuliriza.

Ennyimba ze y'ayimba[kyusa | edit source]

  • 2001 Will Worship you
  • 2002 Saxo Hymns
  • 2003 We 3 kings
  • 2004 Sax worship
  • 2005 Celebrate Africa
  • 2006 Sinza
  • 2007 Coming Home
  • 2009 Another Step
  • 2010 Sinza Too
  • 2011 African Smoothy

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.