Jump to content

Ismail Haniyeh

Bisangiddwa ku Wikipedia

   

Ismail Haniyeh (soma Haniya) (1962/1963 – 31 July 2024) yali munnabyabufuzi mu Palestina nga ye yali omukulembeze wa Hamas, mu kiwayi eky'ebyobufuzi. Hamas kibiina kyabyabufuzi ekifuga mu luwannanda olwe Gaza(ekimu ku bitundu ebikola Palesitayini) okuva mu 2007. Okuva mu mwaka 2017 okutuuka lwe yattibwa mu 2024, yasinga kuwangalira nnyo mu ggwanga Qatar gyeyali yabuddamira oluvanyuma lw'ebbanga nga ayigibwa gavumenti ya Yisirayiri

Haniyeh yazaalibwa mu nkambi y'ababundabunda eya al-Shati mu kitundu luwannanda lwe Gaza era nga mu biseera weyazaalibwa awasangibwa enkambi eno waali wafugibwa eggwanga lya Misiri mu mwaka 1962 oba 1963 Haniya mwasubirwa okuba nga yazaalibwa. [1] [2] [3] [4] Bazadde be baali banoonyi ba bubudamu abaasindiikirizibwa okuva mu kitundu kye Ashkelon mu lutalo lwa Palestina mu 1948 . Haniya yasoma era n'afuna diguli ey'Oluwarabu mu 1987 okuva mu Islamic University of Gaza era nga eno gyeyasookera okwenyigira mu bikolwa bya Hamas oluvannyuma lw'obwegugungo bw'Abapalesitiina obwasooka obwamanyibwa ennyo nga Intifada . Mu bwegungungo buno Aba Palesitiina baali bawakanya ekyabannansi ba Yisirayiri okuwamba awamu n'okwesenza ku ttaka lyabwe. Okweguguunga kuno kwaviirako Haniya (kati omugenzi) okusibwa enfunda eziwerera ddala satu yadde nga mu kkomera teyabandaalangayo. Oluvannyuma lw’okuyimbulwa mu nkomyo mu mwaka 1992 Ismael Haniyeh yakakibwa okuwangangukira mu nsi ya Lebanon wabula oluvanyuma l'omwaka gumu ono yakomawo mu luwannanda lwe Gaza okukulira erimu ku mabanguliro gabayizi ku Islamic university of Gaza. Mu mwaka 1997 Haniyeh yalondebwa okukulira ofiisi ya Hamas era okuva awo teyadda mabega era nagenda nga alinnya amadaala mu Hamas

Haniya yali omu kwabo abavuganya mu okulonda kw’ababaka ba Palamenti okwa 2006, ku kaada ya Hamas era nga mu kalulu ako emiramwa gya Hamas emikulu kweyakolera kampeyini kwaliko okukozesa eryanyi ly'emmundu okwetakkuluzaako Yisirayiri. Okulonda kuno Hamas yakuwangula era bwe kityo Haniya nafuukaSsaabaminisita w’eggwanga lya Palestina . Wabula oluvanyuma lwakwabanga katono Mahmoud Abbas, Pulezidenti wa Palestina, yagoba Haniyeh mu ofiisi nga 14 06 2007. Abbas yagoba Haniya Olw’obukuubagano obwali bugenda mu maaso mu kiseera ekyo wakati wekibiina kyebyobufuzi ekya Fatah (kino kye kya Abbas) ne Hamas (ekya Haniya). Haniya teyagondera kiragiro kya Abbas era n’asigala ng’akozesa obuyinza bwa ssaabaminisita mu luwannanda olwe Gaza . Haniya era ye yali omukulembeze wa Hamas mu luwannanda olwe Gaza okuva mu 2006 okutuuka mu gwokubiri gwa 2017, lwe yasikizibwa Yahya Sinwar . Haniya okutwaliza awamu yatwalibwanga okuba muzzanganda era omukulembeze atali nnalukalala nyo bwomugerageeranya ne banne abalala mu Hamas.

Nga Maayi wa 2017, Haniyeh yalondebwa ku bukulembeze bwekiwayi kya Hamas eky'ebyobufuzi era wano yadda mu mu bigere bya Khaled Mashal ; mu kiseera ekyo, Haniyeh yasenguka nava mu luwannanda olwe Gaza nadda mu ggwanga lya Qatar. kinajjukirwa nti mu kiseera kye nga omukulembeze wa Hamas ow'ekiwayi ekyebyobufuzi, Hamas yakola obulumbaganyi bwa Okitoba 7 2023 ku Yisirayiri era obulumbaganyi buno Haniya yabujaguza nyo ngasinziira mu kibuga Doha. Oluvannyuma lw’obulumbaganyi bwa Hamas buno, Yisirayiri yalangirira yali yakuyigga era etemule abakulembeze ba Hamas bonna. [5] Mu May 2024, Karim Khan, omuwaabi wa kkooti y’ensi yonna ewozesa ba kalintalo , yalangirira ekigendererwa kye eky’okusaba okuyisa ekibaluwa ki bakuntumye ku Haniyeh, n’abakulembeze ba Hamas abalala, olw’ebikolobero muntalo n’emisango emirala egyekuusa ku kutyoboola eddembe ly'obuntu, ng’omu ku kaweefube wa kooti eno ku kunoonyereza mu Palestine . Nga 31 ogwomusanvu 2024, Haniyeh yatemulwa, nga kigambibwa nti yatemulwa Yisirayiri, mu maka agamu mu kibuga Tehran bwe yali agenze e Iran mu mikolo gyokulayizapulezidenti waayo eyali yakalondebwa . [3]

Ismail Abdulsalam Ahmed Haniyeh yazaalibwa mu maka g’Abasiraamu Abapalestina mu nkambi y’ababundabunda eya al-Shati mu luwananda lwe Gaza

ebiseera ebyo olwali lufugwa Misiri . Bazadde be baali banoonyi babudamuabaagobwa mu Askeloni mu lutalo lw’e Palestina olwaliwo mu 1948, Askeloni kyali kitundu kw'ebyo ebifo Yisirayiri byeyali yeddiza oluvanyuma lwokutondebwawo. Mu buvubuka bwe, yakolera mu Isiraeri okusobola okulabirira ab’omu maka ge. Yasomera mu masomero agaddukanyizibwa ekibiina ky’amawanga amagatte era n’atikkirwa diguli mu misomo egyekuusa ku lulimi oluwarabu mu 1987. [6] Yayingira mu kibiina kya Hamas ng’ali ku yunivasite. [6] Okuva mu 1985 okutuuka mu 1986, yali akulira olukiiko lw’abayizi olwali lukiikiridde ekibiina kya Muslim Brotherhood . [7] Yazannyirako ng’omuwuwuttanyi mu ttiimu y’omupiira ey’ekibiina ky’Obusiraamu. [7] Yatikkirwa mu kiseera nga Obwegugungo bwa Abapalesitiina obwasooka okulwanyisa okuwambibwa kwa Yisirayiri bubaluseewo era nabwetabamu butereevu. [6]

Atandika ddi okwenyigira mu kaweefube w'Abapalesitiina

[kyusa | edit source]

Haniya yeetaba mu bwegugungo bwa Abapalesitiina obwasooka era nakwatibwa bwatyo kkooti y’amagye ga Yisirayiri nemusalira ekibonerezo eky’okusibwa wadde nga kino tekyali kiwanvu nyo. Yaddamu okusibibwa Yisirayiri mu 1988 okumala emyezi mukaaga. [6] era ne mu mwaka 1989, yasibwa emyaka esatu. [6]

Oluvannyuma lw’okuyimbulwa mu 1992, abakulu b’amagye ga Yisirayiri mu bitundu bya Palestina ebyali bimaamiddwa Yisirayiri baamuwangangusa e Lebanon ngali wamu n’abakulembeze ba Hamas ab’oku ntikko Abdel-Aziz al-Rantissi, Mahmoud Zahhar, Aziz Duwaik, n’abavubuka abalala 400. Bannakisinde bano baamala omwaka mulamba n’okusoba mu Marj al-Zahour mu bukiika ddyo bwa (amasereengeta) Lebanon, okusinziira ku mukutu gwamawulire ogwa BBC , Hamas “yafuna okumanyisibwa mu mawulire okutabangawo era n’emanyibwa mu nsi yonna”. [6] Nga wayise omwaka gumu, yaddayo e Gaza n’alondebwa okukulira erimu ku mabanguliro ku Islamic University of Gaza. [6]

Omukululo gwe mu byobufuzi

[kyusa | edit source]

Obukulembeze bwe mu kiwayi kya Hamas eky'ebyobufuzi.

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lwa Yisirayiri okuyimbula Ahmed Yassin mu kkomera mu 1997, Haniyeh yalondebwa okukulira ofiisi ye. Obututumufu bwe mu Hamas bwakula olw’enkolagana ye ne Yassin era n’alondebwa ng’omukiise eri gavumenti efuga Palesitina. [6] Amanyi ge mu Hamas geeyongera mu kiseera Kyobweguguungo bw'Abapalesitiina obw’okubiri olw’enkolagana ye ne Yassin, n’olw’okuba nga abakulembeze ba Hamas banji baali batemuddwa ab’ebyokwerinda ba Yisirayiri . Haniya yatandika okulondoolwa era n'okuyigibwa amagye ga Yisirayiri olw’ebigambibwa nti yeenyigira mu bulumbaganyi ku bannansi ba Yisirayiri. Oluvannyuma lw’abalumira mwoyo okwetulisizako bbomu mu Yerusaalemi mu 2003, yafuna ebisago ebitonotono ku mukono gwe olw’obulumbaganyi bwa bbomu obwakolwa Eggye lya Yisirayiri ery'omubbanga bwelyali ligezaako okusaanyawo abakulembeze ba Hamas. Mu December wa 2005, Haniya yakulemberamu  </link> ekibiina kya Hamas mu kalulu akaliwo era Hamas nekawuuta buva. Haniya era oluvanyuma yasikira Khaled Mashaal 's okukulembera obukulembeze bwa Hamas mu kulonda okwaliwo mu 2016.

Ssaabaminisita

[kyusa | edit source]
Omukolo gw’okutikkira abaserikale ba poliisi mu kibuga Gaza, nga 16 Ogw'omukaaga 2012
Haniya ne Minisita w'ebyobuwangwa owa Butuluuki Numan Kurtulmuş, 20 Ogwe kumi n'ogumu 2012
Haniyeh ne Khaled Mashal mu kibuga Gaza, nga 8 Ogwe kumi n'ebiri 2012

  Haniyeh yasunsulwa ku bwa ssaabaminisita nga 16 Ogw'okubiri 2006 oluvannyuma lw'obuwanguzi bwa Hamas mu "List of Change and Reform" nga 25 January 2006. Yayanjulwa mu butongole eri pulezidenti Mahmoud Abbas nga 20 Ogwokubiri era n’alayizibwa nga 29 Ogw'okusatu 2006.

Yisirayiri nebanywanyi baayo bazaako ki?

[kyusa | edit source]

Yisirayiri yassa mu nkola ebibonerezo ebiwerako omuli n’okussa envumbo ku by’enfuna bya Gavumenti ya Palestina oluvannyuma lw’okulonda. eyali akola nga Ssaabaminisita Ehud Olmert, yalangirira nti Yisirayiri yali tegenda kukwasa Gavumenti ya Palestina ensimbi ezaali eyo mu bukadde bwa ddoola 50 buli mwezi mu lisiiti z’omusolo ezasoloozebwa Yisirayiri ku lwa Palestina. Haniya envumbo zino tezamuyigula ttama era n’agamba nti Hamas teyali yakulekera awo kulwana wadde okukkiriza Yisirayiri nga ensi.

Haniya era yalaga obwennyamivu eri ebibonerezo ebyaweebwa Hamas n'agattako nti "yo [Israel] yandibadde teyanukula etyo eri okusalawo kwabaPalesitiina kwebakola nga bayita mu kalulu.[ <span title="This claim needs references to reliable sources. (May 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Amerika yasaba nti ssente obukadde bwa ddoola 50 ez’obuyambi okuva ebweru ezitasaasaanyiziddwa eri Gavumenti ya Palestine ziddizibwe mu Amerika, Minisita w’ebyenfuna mu Palestina , Mazen Sonokrot kye yakkiriza okukola. Ku kufiirwa obuyambi okuva ebweru okuva mu Amerika n'omukago gwa Bulaaya, Haniya yategeezezza nti: "Amawanga g'abazungu gaali gakozesa obuyambi bwago okussa akazito ku ba Palestina."

oluvanyuma lwemyezi egiwerako nga Hamas ewangudde okulonda mu 2006, Haniya yaweereza ebbaluwa eri Pulezidenti wa Amerika George W. Bush, mwe yasabira "gavumenti ya Amerika okubeera n'enteeseganya obutereevu ne gavumenti eyalondebwa", wasobole okubaawo akalembereza eri Yisirayiri. Haniya era yasaba okutongoza n'okukkiriza eggwanga lya Palestina okusinziira ku nsalo za 1967 era n'asaba okuboola eggwanga lino, ng'agamba nti "kino bwekigenda mumaasa kyongera kuleeta kavuyo nabutali butebenkevu". Gavumenti ya Amerika teyayanukula era n’esigala ng’egenda mu maaso n’okuboola Palesitiina.

Enkaayana ne Abbas

[kyusa | edit source]

Endagaano ne Abbas yalina okutuukibwako okulemesa okwagala kwa a Abbas okwokuddamu okulonda okupya. Nga 20 Okitobba 2006, ku lunaku olwakulembera okussa omukono ku ndagaano ey’okumalawo okulwana wakati wa Fatah ne Hamas, oluseregende lw'emotoka za Haniya lwasasirirwa amasasi mu kibuga Gaza era emu ku mmotoka n’eteekeerwa omuliro. Haniya teyalumiziddwa mu bulumbaganyi buno. Ensonda mu Hamas zaategeezezza nti telwali lukwe luteekeeteeke kutemula Haniya. Ensonda mu by’okwerinda mu Gavumemti ya Palesitiina zaategeezezza nti abalumbaganyi bano baaluganda lw’omusajja wa Fatah eyattibwa mu kulwanagana ne Hamas.

Agaanibwa okuddamu okuyingira Gaza

[kyusa | edit source]

Mu bukuubagano wakati wa Fatah ne Hamas , nga 14 ogw'ekumi n'ebiri 2006, Haniya yagaanibwa okuyingira Gaza okuva e Misiri ku nsalo ya Rafah . Ensalo eno yaggalwa ku biragiro bya minisita wa Yisirayiri ow'ebyokwerinda, Amir Peretz . Haniya yali akomawo e Gaza okuva ku lugendo lwe olutongole olusooka ebweru w’eggwanga nga ssaabaminisita. Haniya yalina n’ensimbi enkalu ezaali zibalirirwamu obukadde bwa doola za Amerika 30, eza gavumenti ya Palesitiina Oluvannyuma ab’obuyinza mu Yisirayiri baategeezezza nti baali bakukkiriza Haniya okusala ensalo adde e Gaza kavuna aleka omusimbi guno e Misiri, oluvanyuma guteekebwe ku akawunti y’ekibiina kya Arab League . Olutalo lw’emmundu wakati w’abalwanyi ba Hamas n’abakuumi ba Pulezidenti wa Palestina lwabalukawo ku nsalo ya Rafah oluvanyuma lw'obukuubagano buno. Oluvanyuma kyategeerekeka nti abakozi b'omukago gwa Bulaaya gu EU abaali baddukanya emirimu ku nsalo bataasibwa. Oluvannyuma Haniyeh bwe yagezezzaako okusala ensalo, okuwanyisiganya amasasi okwaliwo kwavaako omukuumi omu okufa ate ye mutabani wa Haniyeh omukulu n’afuna ebisago. Hamas yavumirira obukubaagano buno era n'ekissa ku Fatah nti yali ejjiridde bulamu bwa Haniya ekyavaako amasasi okwesooza mu West Bank ne mu luwannanda olwe Gaza wakati w’amagye ga Hamas n’aga Fatah. Haniya yavaayo nategeeza nti amanyi abawoma omutwe mu kikolwa kino, kyokka n’agaana okubasanguza era n’alaajanira abaPalestina ekusigala obumu. Misiri yawaayo okutabaganya enjuyi zombi.

Gavumenti mugatta eya Palestina : Gwakusatu 2007

[kyusa | edit source]
Haniya n’omukulembeze wa Iran ow’oku ntikko Ali Khamenei mu 2012

Nga 14 Ogw'omukaaga 2007, wakati mu lutalo lw'e Gaza, Pulezidenti Mahmoud Abbas yalangirira okusatululwa kwa gavumenti ey'obumu mu March 2007 n'okulangirira ekiseera ekyakazigizigi . Haniya yagobwa era Abbas nayisa ekiragiro nga yezza obuyinza okufuga oluwannanda lwe Gaza ne West Bank.

Ebyaddirira Oluvannyuma lw’olutalo lw’e Gaza

[kyusa | edit source]

Nga mu mwaka gwa 2016, Haniya yasenguka okuva e Gaza n’agenda e Qatar .era naggulawo office mu kibuga Doha .

Nga 13 October 2016, akakiiko k’ebyamateeka ak’olukiiko olufuzi olwa Palestina (PLC) kaawagira okusaba okwokudda kwa gavumenti ya Haniya mu kitundu ky’e Gaza, oluvannyuma lw’okulekulira nga 2 June 2014. Okusalawo kumo kwatuukibwako oluvanyuma lw'okwekenneenya okunoonyereza okwaweebwayo abakiise mu palamenti ya Hamas, nga abayoolesa obutali bumativu olw’okulemererwa kwa gavumenti eyakwata obuyinza oluvannyuma lwa Haniya okulekulira. Mu bigambo bya Hamas yennyini, yavumirira gavumenti eyawamu era najirangira okuva ku ndagaano ey'omunda wakati wa Hamas n'ebiwayi by'ebibiina ekigatta eddembe lya Palestine okukola gavumenti ey'okukkaanya mu 2014, n'okukyusa baminisita abawerako n'abakulembeze ba Fatah – okugifuula gavumenti ya Fatah. Wadde nga PLC yali ewadde okuwabula na ne Hamas ewadde okunyonyola kwayo, gavumenti eyawamu n'ekibiina ki Fatah baagaana okusaba kuno, era nebawa ensonga okuyita kiwandiiko kye baafulumya eri bannamawulire omuli ekyokusaba kuno obutaba mu mateeka n’obulabe obuyinza okuviirako enjawukana okweyongera wakati wa Gaza efugibwa Hamas ne West Bank.

Afuuka omukulembeze ow'okuntiko owekiwayi kyebyobufuzi

[kyusa | edit source]

Mu gw'ekumi n'ogumu 2016, amawulire ga Haniya okusikira Khaled Mashaal ng’omukulembeze wa Hamas gaalangirirwa. Mashaal, Haniyeh ne Pulezidenti wa Palestina, Mahmoud Abbas baali kyebajje basisinkane mu Qatar nga bateesa ku kutabaganya eggwanga awamu n’okulonda okwali kubindabinda. Olukiiko luno lwayongera okulaga nti Haniyeh yali alinyisiddwa ku ddala okusinga abalala babiri abali balowoozebwa okwegwanyiza ekifo kino. ku bano kwaliko Moussa Mohammed Abu Marzook ne Mahmoud Zahhar .

Mu 2018 yateekebwa ku lukalala lwa Amerika olw’abatujju abawenjezebwa mu nsi yonna.

Haniya yava e Gaza mu Sebutemba n’agenda okukyala mu mawanga g’Abawalabu n’Abasiraamu agawerako nga yeetegekera obuvunanyizibwa bwe obupya era mu butongole n’asengukira mu kibuga ekikulu ekya Qatar Doha eno era Mashaal gyeyali abeera. Waliwo enkola emanyiddwa nti omukulembeze wa Hamas ow'ebyobufuzi tawangaalira Gaza era kyekyatwala Haniya e Doha.

Mu Gw'okubiri gwa 2020, Haniya yasisinkana Pulezidenti wa Butuluuki Recep Tayyip Erdoğan . Minisitule ya Amerika ey’ensonga z’ebweru yategeezezza nti: “Pulezidenti Erdogan okugenda mu maaso n’okuteetera nekibiina kino eky’abatujju kyakwongera okwawula Turkey ku nsi yonna, kyabulabe eri ebiruubirirwa bya ba Palestina, era nga kityoboola kaweefube w’ensi yonna okutangira obulumbaganyi bw’abatujju obukoleddwa okuva e Gaza.”

Mu gw'omunaana gwa 2020, Haniya yakubira Mahmoud Abbas essimu nga awakanya endagaano y'okuzawo enkolagana wakati wa Yisirayiri ne United Arab Emirates, endagaano omukutu gwamawulire ogwa Reuters gwe gwali gwogeddeko nga akabonero "akw'obwamuzzanganda nantalabika".

Nga 26 Ogw'omusanvu 2023, Haniya yasisinkana Erdoğan ne Pulezidenti wa Palestina Mahmoud Abbas . Nga olukiiko luno lwali kitundu ku kaweefube wa Butuluuki okutabaganya Fatah ne Hamas.

Olutalo lwa Yisirayiri ne Hamas

[kyusa | edit source]

Nga 7 Okitoba 2023, Hamas lwe yalumba Yisirayiri, Haniya yali mu kibuga Istanbul, e Butuluuki. Akatambi akaafulumizibwa okuva mu ofiisi ye mu kibuga ekikulu ekya Qatar e Doha kaalaga Haniya ng’ajaguza wamu n’abakungu ba Hamas abalala, nga tebannasaba awamu n’okutendereza Katonda olw'okulumba Yisirayiri okwakulemberwa Hamas nga 7 Okitoba . Okusinziira ku lupapula lwamawulire olwa Telegraph, Haniya yafuuka omutwe omukulu ogw'obulumbaganyi buno era nabwogerako ng'entandikwa y'essuula empya mu lutalo lwa Yisirayiri ne Palestina . Haniyeh era yayogerako eri entimbe za Terefayina nayogera ku bulabe obwolekeddwa eri omuzikiti gwa Al-Aqsa, Yisirayiri okufuttubbala ku Gaza, n'embeera embi eri ababundabunda okuva mu Palestina : "Mirundi emeka gye tubalabudde nti abantu ba Palestina babadde babeera mu nkambi z'ababundabunda okumala." Emyaka 75, ate nemugaana okukkiriza eddembe ly'abantu baffe?" [8] Yagenda mu maaso n'agamba nti Yisirayiri, "etasobola kwetakkuluzza ku balwanyi", yali tesobola kuwa bukuumi eri mawanga ga Buwalabu amalala, era nti " endagaano zonna ez'okuzza embeera mu nteeko ze mwakola n'egavumenti ya Fatah zaali teziyinza kugonjoola katuubagiro e Palestina "

Nga 10 Okitoba, Haniya yategeeza nti Hamas teyali ya kuyimbula musibe yenna mu Yisirayiri okutuusa ng’olutalo luwedde. Yayongera okukikaatiriza nti ekikolwa kya Yisirayiri okwesasuza kyali obukosefu obw'amaanyi obulumbaganyi obwakolebwa nga 7 Okitoba bwe bwakola ku ggwanga lya Yisirayiri era n'addamu okiggumiza nti abantu ba Palestina mu luwannanda olwe Gaza baali bammalirivu ekimala " okwefiiriza byonna eby'omuwendo gyebali olw'eddembe lyabwe n'ekitiibwa." Haniya era Yagattako nti Yisirayiri yali "egenda kusasula omuwendo omunene olw'ebikolobero byabwe n'obutujju ku bantu ba Palestina."

Nga 15 Okitoba 2023, olupapula lwamawulire olwa <i id="mwAWM">Times of Israel</i> lwategeeza nti Haniya yali asindiikiriziddwa okuva e Butuluuki; wabula Butuuluki mu butungole yavaayo nesambajja amawulire gano. Oluvannyuma Haniya yalabwako nga asisinkanya minisita wa Iran ow’ensonga z’amawanga amalala , Hossein Amir-Abdollahian mu kibuga Doha.

Nga 16 Okitoba 2023, Haniya ne Minisita wa Turkey ow’ensonga z’amawanga amalala Hakan Fidan baateesa ku ky’okuyimbula abawambe abaali bawambiddwa mu kiseera Hamas we yalumba Yisirayiri . Nga 21 Okitoba 2023, Haniya yayogera ne Pulezidenti wa Turkey Recep Tayyip Erdoğan ku bigenda mu maaso mu lutalo lwa Yisirayiri ne Hamas n’embeera nga bweyali eyimiridde mu luwannanda eGaza.

Nga 1 ogw'ekumi n'ogumu 2023, Haniya yalumiriza Yisirayiri okukola "okwenyigira mu kitta bantu abatalina mmundu" bino byaliwo oluvannyuma lwa Yisirayiri okukola olulumba ku nkambi y'ababundabunda e Jabalia mu kikwekweto ekyali kigendereddwamu okufeffeta Ibrahim Biari. Haniya yayongera okukikaatiriza nti okulwana kwali kwa kugenda kugenda mu maaso okutuusa nga "Abapalestina bafunye eddembe eddembe awamu obwetwaze '".

Nga 2 Ogw'ekumi n'ogumu 2023, Haniya yategeeza nti singa Yisirayiri ekkiriza okusirisa mu mundu n'okuggulawo emikutu gy'okuyamba abantu okuleeta obuyambi obwali bwetaagibwa enyo mu luwannanda e Gaza, Hamas yali neetegefu okwetaba mu nteeseganya ez'okugonjoola okusika omuguwa wakati wa Palesitiina ne Yisirayiri watondebwewo ensi bbiri ezeetongodde (Yisirayiri ne Palesitiina) nga Yerusaalemi kye kibuga ekikulu ekya Palesitiina. haniya era yakkaatiriza nti Abasibe ba Yisirayiri baali basobola okuttibwa nga ne Yisirayiri bweyali etta abantu ba Palesitiina.

Nga 13 Ogw'ekumi n'ebiri, okunoonyereza okukwekuusa ku byokulonda okwakolebwa kwalaga nti Haniya singa okulonda kwategekebwa mu budde obwo Haniya yali waakuwangula Mahmoud Abbas Pulezidenti w’eggwanga lya Palestine nga amenya mu jjenje kalu n'ebitundu 78% ye Abbas yali ku bitundu 16%. kyokka abanoonyereza bwebakola okunoonyereza nga abavuganya bali basatu Haniyeh, Abbas, ne Marwan Barhgouti, Barghouti yalagibwa nti yandiwangudde n'ebitundu 47%, Haniyeh yali ku bitundu 43% ate Abbas yali ku 7%. Barghouti obudde buno ali mu busibe e Yisirayiri era nga yasibwa mu kaduukulu mwali yekka.

Haniya mu mbuga z'amateeka

[kyusa | edit source]

Nga 20 Ogw'okutaano 2024,omuwaabi wa kkooti y’ensi yonna (ICC) Karim Khan yasaba okuteeka ebbaluwa zi bakuntumye ku Haniya, awamu n’abakulembeze abalala mu Palestina ne Yisirayiri, era nga kino kyava mu kunoonyereza kwa ICC mu Palestine. Khan yagenderera okulaba nga Haniya akwatibwa awerenembe n'emisango omuli egyekuusa ku bikolobero mu ntalo awamu n'okulinyirira eddembe ly'obuntu mu lutalo lwa Yisirayiri ne Hamas. [9]

Ekifananyi kya Haniya okutwaliza awamu

[kyusa | edit source]

Haniya okutwaliza ewamu yali atwalibwa nga muzzanganda era omutabaganya mu Hamas.

Paapa Benedict XVI n'ebigambo bye ku busiraamu

[kyusa | edit source]

Mu katuubagiro ka Paapa Benedict XVI n'abasiraamu mu 2006, Haniyeh yasambajja nnyo ebigambo bya Paapa era nagamba ku lwaba Palesitina bonna, yali avumirira ebigambo bya Paapa ku Busiraamu . yanyongerako nti Ebigambo bino byali bikontana butereevu n'amazima era bikwata ku kinyusi kyenzikiriza yabwe nga abantu. Haniya era yasambajja ebyali bigambibwa nti aba Palesitiina baali bakola obulumbaganyi masinzizo gabagoberezi ba Kulisito mu West Bank ne Gaza.

Enkolagana ye ne Isirayiri

[kyusa | edit source]

Mu Agusito wa 2006 nga ali ku bugenyi bwe obwasooka wabweru w'eggwanga nga ssaabaminisita munsi ya Yirani, Haniyeh yategeeza nti: "Tetujja kukkiriza gavumenti yabasaatuusi abayudaaya era tujja kugenda mu maaso n'olutalo lunno olutukuva okutuusiza ddala nga ekibuga Yerusaalemi kinunuddwa". Mu Ntenvu wa 2010, Haniya yategeeza mu lukungaana lwa bannamawulire mu luwannanda lwe Gaza nti, "Tukkiriza eggwanga lya Palesitina nga ensalo zalyo ziri nga bwezali mu 1967, ne Yerusaalemi nga kye kibuga kyayo ekikulu. okuyimbula abasibe aba Palestina, n'okugonjoola ensonga y'abanoonyi boobubudamu." Haniya era yagattako nti endagaano eyekikula ekyo ne Yisirayiri bwekkirizibwa abalonzi ba Palestina gavumenti ye yali yakujjigobera era ejiteekese mu nkola awatali kwesisiggiriza nakwesiba ku ndowooza za Hamas enkadde.

Nga 23 ogw'okusatu 2014, mu bikujjuko eby'okujjukira emyaka kkumi bukya Seeka Ahmad Yassin attibwa, Haniya yayogerako eri nnamunji wabawagizi ba Hamas abaali bamwegese amatu era nagamba nti, "Ffe eno munda mu luwannanda lwe Gaza, nga bwenzize nkiddingana: Tetujja kukkanya nakubeerawo kwa Yisirayiri era tutulijitongoza nga nsi.kyannaku nyo nti omuggalo n'okunyigirizibwa kwa Gaza kweeyongera buli lukya." Mu kwogera kuno, abaali bamwegese amatu baayongera kusaakaanya nokukuba emizira nga bwebawaana Hamas nti "Mugende mu maaso Hamas, mugende! Ffe tuli mmundu Hamas masasi. ... Gwe Qassam(Kino ky'ekibinja ekirwanyi ekya Hamas), omwagalwa waffe, tulisa Tel Aviv(kino kye kibuga ekikulu ekya (Yisirayiri) ."

Nga 2 Maayi wa 2011, Osama bin Laden yattibwa amagye ga Amerika, era Fatah nga bano bali ku mbiranye ne Hamas baajaguza okutemulwa kwe. [10] Wabula Haniya ye bin Laden yamwogerako nga "omulwanyi Omuwalabu omutukuvu era omuzira" era n'avumirira nnyo okuttibwa kwe era nagamba nti lino lyali kkoobaane lya America okunyigiriza awamu n'okuyiwa omusaayi gwabawalabu abayisiraamu.. Abataouta beby'obufuzi ebigambo bino baagamba nti yali agenderera kukendeeza njawukana mu luwannanda lwe Gaza wakati wa Hamasi nabalwanyi Abasalafi abawagirwa Al-Qaeda, eyali evunaana Hamas okuba mukubya byayi mukulwanirira eddembe lyabapalesitiina. [10] Kakensa yategeeza nti Haniya ebigambo bino yali abiweera Bawarabu banne okusobola okwawula Hamas ku Fatah era n'okukozesa omukisa guno okwezimba nga muzzanganda n'okukozesa obukyayi ku Amerika okusakira Hamas obuwagizi. Gavumenti ya Amerika yavumirira nnyo ebigambo ebyo era yabiyita byabwewussa.

Obulamu bwe obwa bulijjo n'amaka

[kyusa | edit source]
Haniya emabega wa Khamenei mu kusaalira Qasem Soleimani
  1. . Haniyeh was born in January 1963, according to the Hamas media office [...] {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  2. . born 1962?. {{cite web}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help); Missing or empty |url= (help)
  3. 3.0 3.1 . Mr. Haniyeh was born in 1962 [...] {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  4. . Haniyeh was born in 1962 (some sources say January 1963) [...] {{cite web}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help); Missing or empty |url= (help)
  5. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 6.5 6.6 6.7 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named bbcprofile
  7. 7.0 7.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named tbt
  8. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named reuters
  9. [Karim Ahmad Khan Karim Ahmad Khan]. {{cite web}}: Check |url= value (help); Missing or empty |title= (help)
  10. 10.0 10.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named reuters.com