Jump to content

Jacklet Atuhaire

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jacklet Atuhaire
Jacklet Atuhaire

 

Jacklet Atuhaire Rwabukurukuru Mukwana (yazaalibwa nga 20 Ogwomukaaga 1981) Munnayuganda omukugu mu mafuta ne gaasi, enkulakulana ey'omutindo ogw'ensi yonna mukugu era munnabyabufuzi. Ye MP omukazi omulionde owa Disitulikiti y'e Sheema[1] era talina kakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi kyonna mu Uganda. Yasikira owa NRM Rosemary Nyakikongoro eyali yamuwangula mu 2015 mu kalulu k'ani anakwatira ekibiina bendera.[2] Atuhaire yali Mukulembeze w'abayizi ba Yunivasite ya University of East London era mmemba mu kibiina kya International Petroleum Negotiators (AIPN) n'ekyabakugu mu byamafuta ekya Society of Petroleum Engineers.[3]

Nga tannanyikira mu byabufuzi, Atuhaire yali Dayilekita wa Extractive Energy Services and BFF Services Ltd. Yali maneja w'okukulakulana y'ebifulumizibwa mu WANA Energy Solutions, era yaliko pulojekiti maneja w'ekitongole kya Positive Care Link (PCL), ekitongole ky'obwannakyewa ekiri mu Bungereza era yaliko omukubiriza wa International Refugee Trust (IRT) ng'ayita mu JustGiving n'ebitongole ebirala.[4]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Atuhaire yazaalibwa mu kyalo kye Runyinya, Ggombolola y'e Kigarama, mu ttundutundu lye Ankole nga 20 Ogwomukaaga 1981 mu famire yekikulisitaayo eya Banyankole. Pulayimale ye yagisomera mu Disitulikiti ye eye Sheema, nga yafuna satifikeeti eya PLE certification mu 1992 okuva mu ssomero lya Kamugungunu Primary School, essomero lya Gavumenti erya Pulayimale nga lisangibwa mu muluka gwa Kyagaju, Ggombolola y'e Kagando.[4]

Atuhaire oluvanyuma yasomera ku Rweibare Senior Secondary School mu misomo gye gy'omutendera gwa O-Levo ne Universal Girls High School mu misomo gye egya A-Levo, nga yafuna satifikeeti eya UCE certification mu 1997 ne UACE certification mu 2000. Ye yali akulembera abawala ku Rweibare Senior Secondary School era ye yali Sentebe wa Scripture Union ku Universal Girls High School.

Atuhaire yeyongerayo mu Yunivasite ya University of Woolwich gye yafunira Dipuloma mu kukwasaganya emirimu gya Gavumenti mu 2004 n'oluvannyuma University of East London, ng'eno gyeyali Pulezidenti w'abayizi natikkirwa mu 2010 ne Diguli esooka mu by'enkulakulana eby'omutindo gw'ensi yonna n'ebyempuliziganya. Oluvannyuma, yafuna Diguli ey'okubiri mu by'amafuta ne gaasi eya Master of Science in International Oil and Gas Management mu 2013 okuva ku ssomero lya Centre for Energy, Petroleum and Mineral Law and Policy (CEPMLP), essomero eliri wansi wa University of Dundee, Scotland, United Kingdom.

Emirimu gye n'ebyobufuzi

[kyusa | edit source]

Oluvanyuma lw'okuna Satifikeeti ye eya UACE certification, Atuhaire yagenda mu Bungereza era nga yakola okuva mu 2001 okutuusa mu 2004 ng'omukubiriza wa Pulojekiti ya International Refugee Trust (IRT). Oluvanyuma y'akaza omulimu gwa Pulojekiti maneja owa Positive Care Link (PCL), ekitongole ky'obwannakyewa mu London, okutuusa mu 2009 bweyamaliriza Diguli ye esooka ku University of East London. Oluvanyuma yakola nga akwasaganya enkulakulana y'ebintu ebigulumizibwa owa WANA Energy Solutions okuva mu 2012 okutuusa mu 2015 bweyasalawo okuwummula okuyingira eby'obufuzi. Atuhaire yatandikawo era yakola nga Dayilekita wa Extractive Energy Services and BFF Services Ltd okuva mu 2013 ne 2016.

Atuhaire mu 2017 mu lukiiko olw'okwebuuza ku bantu mu Disitulikiti y'e Sheema

Oluvanyuma lw'okulekulira omulimu gwe ku WANA Energy Solutions n'okutandikirawo eby'obufuzi, Atuhaire y'esimbawo ku kifo ky'omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Sheema ku Kaadi y'ekibiina kya NRM era yawangulwa mu kalulu k'ekibiina mu 2015 ng'eyamuwangula y'e MP, Rosemary Nyakikongoro. Eyali akulira kakuyegewe yateekawo ensasage eyakomekerera ng'eyonoonye ebintu by'abuwanana bwa nsimbi[2] nga yali yasaayo okweemulugunya kwe kalulu k'ekibiina ak'okusunsula ekintu ekyalaga ebilumira. Ng'ebiwandiiko mu offiisi ye eby'obukakafu bwebigamba, yagamba nti:

Kino kibadde kikolwa ekigenderere eky'obutujju. Ndi munakuwavu nnyo olw'emigozobano egiri wano, ekikolwa kino ky'entiisa kyabalukawo mu kiro. Tetunnaba kuzuula ky'aviirako muliri wabula kino ky'andiba ekikolwa ky'abantu abo abatayagaliza nkulakulana ya Sheema. Ekigendererwa kyange kya kulaba abantu bonna aba Sheema, abato n'abakulu nga bayiga butya bwebakozesa ebyuma bikalimagezi, wabula kyabuswavu nnyo eri abantu ablina obukyayi ku by'enkulakulana.

Olw'okulemererwa okutuuka ku nzikiriziganya n'abekibiina olw'ebyava mu kalulu, Atuhaire yayingira mu lw'okaana lw'ababaka ba Paalamenti nga talina kibiina era yawangula akalulu k'abonna aka 2016, era nafuuka memba mu Paalamenti eye 10 eye Kkula lya Africa nga akiikirira Disitulikiti y'e Sheema.

Mu Paalamenti eye 10, Atuhaire yaweereza ku Kakiiko ka sayansi ne tekinologiya era ne mu Kakiiko k'ebyokwerinda ku nsonga z'omunda mu Ggwanga. Era mmemba mu kakiiko akakwasaganya ensonga ku nkyukakyuka y'obudde (PFCC), akakiiko ka Paalamenti akakwasaganya amafuta ne Gaasi, ekibiina ky'abakyala mu Paalamenti ekya (UWOPA) ne ku kakiiko ka NRM.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Jacklet Atuhaire mufumbo eri Simon Mukwana era balina abaana basatu ab'obuwala. Mmemba omujjuvu mu kakiiko kebyamafuta aka International Petroleum Negotiators (AIPN) era ne mu kakiiko ka Society of Petroleum Engineers.

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1412047/mp-aspirants-office-torched-property-worth-sh160m-gone
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
  4. 4.0 4.1 https://www.showbizuganda.com/meet-jacklet-atuhaire-the-woman-on-the-helm-of-taking-sheema-district-woman-mp-seat/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]