Jacob Kiplimo
Jacob Kiplimo yazalibwa nga 14 mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu 2000 nga munayuganda aduka embiro gy'emisinde emiwanvu. Yawangula omudaali gw'ekikomo mu mpaka za Olympics ezaali mu Tokyo mu 2020 mu mbiro za mita 10,000 metres n'omulala ogw'ekikomo mu z'emisinde gy'ensi yonna egya World Athletics Championships mu 2022. Kiplimo yafuna omudaali gwa zaabu mu mibiro za mita 5000 n'eza mita 10,000 mu mpaka ezetabwamu amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza eza Commonwealth Games mu 2022. Ye nnantameggwa w'empaka za World Half Marathon champion ezaaliwo mu 2020. Nga 21 omwezi ogw'ekuminoogumu mu 2021, yatekawo likodi mu misinde gy'okwetoloola ebyalo egy'ekitundu bweyadukira obudde bwa dakiika 57:31 mu Lisbon e Portugal.[1]
Ku myaka 15, Kiplimo yakiikirira ensi ye mu mpaka za Olympics ezaali mu Rio mu 2016.[2] Yawangula ekyabamusaayi muto eky'ensi yonna mu 2017 mu mpaka za IAAF World Cross Country Championship. Mu 2019, yawangula omudaali gwa feeza mu mpaka za World Cross Country Championship ku myaka 18.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Ava mu kika ky'aba ab'eggwanga ly'aba Sebei, Jacob Kiplimo yakulira mu Bukwo ku lusozi lwa Elgon, ng'abeera wagulu.[3]
by'akozi
[kyusa | edit source]2015–2018
[kyusa | edit source]Ku myaka 15, Kiplimo yawangula omudaali gw'ekikomo mu misinde gya mita 10,000 mu mpaka za IAAF World U20 Championships mu 2016 ng'ali mabega w'abafirika bane okuva mu muvanjuba Rodgers Kwemoi ne Aron Kifle. Nga mukubala obulungi yadukira obudde bwa dakiika of 13:24:40 mu misinde gya mita 5000 mu Rome ekya Yitale mu mwezi ogw'okutaano. Kino kyali kimala okumuyamba okutuuka musa erigenda mu mpaka za Olympic nekimuyamba n'okulondebwa okukiikirira Uganda mu mpaka za Summer Olympics mu 2016. Nga kino kyamufuula omudusi omuto okwetaba mu mpaka za Olympic okukiikirira Uganda .
Mu mpaka za Olympics ezaali mu Rio mu 2016 yayongerako ku misinde gye egya mita 5000 ku dakiika 13:19.54. Kino kyamufuula omudusi omuto eyayingira empaka zino okudukira mu za Olympics n'akwata ekifo kya 11 ng'adukidde edakiika 13:30.40.[4] Yeyali omudusi omuto okuva mu Uganda okwetaba mu mpaka za Olympics ku myaka 15.[5]
Ku myaka 16, Kiplimo yawangula omudaali gwa zaabu ng'akozi bulungi mu misinde gy'abasajja egya bali wansi w'emyaka 20 mu mpaka za IAAF World Cross Country Championships mu 2017 ezaali mu Kampala, nga guno gwali omudaali gw'ensi eno ogwa zaabu mu mpaka za World Cross, ng'aduse kiromita 8 mu dakiika 22:40.[6]
Ywangula eza San Silvestre mu kiromita 10 mu budde bwa dakiika 26:41 nga 31 omwezi ogw'ekumineebiri mu 2018. Kino tebakiteeka ku likodi kuba yali akiridde mungeri gyeyali addukamu . Okudduka kwe kuno kwatekawo likodi eyali yateebwaawo Eliud Kipchoge mu 2006 nedakiika 26:54.
2019
[kyusa | edit source]Mu mpaka za Uganda Cross Country Championships nga 16 omwezi ogw'okubiri mu Tororo, Kiplimo yawangula Joshua Cheptegei nga buli omu akute ekifo eky'enjawulo okuli ekyasooka n'eky'okunbiri mu bitiibwa.Mu z'abasajja abakulu ezaali eza kiromita 10, Kiplimo yawangula ng'akulembedde ne sekeedi 11 mu mita 10,000 mu mpaka z'ensi yonna eza world championship ng'akutte kyakubiri .[7]
Mu mpaka za IAAF World Cross Country Championships mu 2019 mu Aarhus, Denmark, Kiplimo yakwata kifo kyakubiri mu z'abasajja abakulu ng'ali sekeendi nnya emabega wa Joshua Cheptegei eyaziwangulira ku budde bwa dakiika 31:40. Yawangula omudaali gwa zaabu ne ttiimu eziri munsengeka ne Cheptegei okuva mu Uganda.[8]
Kiplimo teyaduka misinde gya mita 10,000 mu mpakza za World Athletics Championships eza 2019 mu Doha, kuba yali afunye obuvune.[9][10]
Nga 31 mu mwezi gw'ekiminebiri, Kiplimo yaduka mu mpaka za Saint Silvester Road Race n'awangulwa Kibiwott Kandie ku kalayini webakomekerereza. Kandie yaangula ne dakiika 42:59 n'atekawo likodi empya nga Kiplimo amalidde ku 43:00.[11]
2020
[kyusa | edit source]Nga 8 omwezi ogw'omwenda, Kiplimo yawangula emisinde gya mita 5000 mu Ostrava, Czech Republic mu budde bwa dakiika 12:48.63 n'ayongera ku gyeyatekawo ng'omuntu eya 13:13.64 nga yagitekawo ng'alina emyaka 16 mu za 2017 eza Prefontaine Classic. Selemon Barega yeyali omuddusi eyakwata eky'okubiri n'obudde bwa dakiika 12:49.08, nga gyeyasinga okutekawo ng'omuntu 12:43.02 yeyali ey'okutaano ekyasinze okubeera ey'amangu .[12]
Nga 17 omwezi ogw'omwenda, Kiplimo yawangula empaka za Diamond League ez'emisinde gya mita 3000 mu Rome mu budde bwa dakiika 7:26.64, obukyasinze okubeera obw'amangu obwa mita 3000 okuva Kenenisa eza 7:25.70 mu gw'omunaana mu 2007. Obudde bwa Kiplimo bwalibwa munaana mu bukyasinze okubeera obw'amangu, ate Jakob Ingebrigtsen eyali mu ky'okubiri n'obudde bwa 7:27.05 n'afuuka ow'omwenda .[13]
Ywangula empaka z'okwetoloola ebyalo ez'ekitundu Half Marathon World Championship mu budde bwa 58:49 nga 17 omwezi ogw'ekumi.Omukolo guno gwaliwo mu Gdynia, Poland nga yali likodi ya Uganda n'empaka . [14]
Nga 6 omwezi ogw'ekuminebiri, Kiplimo yavuganya mu mpaka za Valencia Half Marathon. Yali avuganya n'eyalina omudaali ga feeza mu mpaka z'ensi yonna eza World Half Marathon Championships, Kibiwott Kandie. Kiplimo yali avuganya ne Rhonex Kipruto okuva e Kenya, eyali ajja mu mpaka z'emisinde gy'okwetooola ebyalo egy'ekitundu omulundu gwe ogwali gusooka, nga yeyalina likodi mu kiromita 10 ku luguudo. Ng'ebula kiromita emu, Kandie yakola eky'enjawulo okuwangula, nga Kiplimo yali takyasobola kumukwata., Kunkomereroyabyonna Kandie, Kiplimo, Kipruto, ne Alexander Mutiso owkuva e Kenya, bonna baamenya likodi y'ensi yonna eya 58:01, eyatekebwawo Geoffrey Kamworor okuva e Kenya mumwezi ogw'omwenda mu 2019 mu Copenhagen. Kandie yamalira mu budde bwa likodi ya nsi yonna obw'edakiika 57:32, nga Kiplimo yamuliko emabega mu budde bwa 57:37. Kipruto naye yatekawo likodi y'ensi kuba yali yajja mulundi gwe gusooka ng'adukidde edakiika 57:49, nga Mutiso amalidde mu dakiika 57:59. Obudde bwe obwa 57:37 yali likodi yaggwanga lya Uganda yonna.[15]
2021–paka kati
[kyusa | edit source]Nga 21 omwezi ogw'okusati mu 2021, Kiplimo yavuganya mu mpaka z'ensi yonna eza Campaccio-International Cross Country race mu San Giorgio su Legnano, e Yitale. Wadde nga yagwa mu kaseera ka kiromita omwenda, yangula eza kiromita 10 mu budde bwa dakiika 29:07. Omu Ethiopia Nebret Melak yakwata kyakubiri, ate muto wa Kiplimo Oscar Chelimo n'amalira mu ky'okusatu.[16] Nga 19 omwezi ogw'okutaano, Kiplimo yakomawo gyebadukira neyeetaba mu misinde gya mita 10,000 ku Ostrava Golden Spike ey'omulundi ogwe 60. Yaduka okuva ku mu Bahrain Birhanu Balew n'aangula emisinde gino. Kiplimo yamaliriza ng'adukidde obudde obusinga obwa 26:33.93, nekimufuula ow'omusanvu mu basinga okuduka mita 10,000 ow'ebiseera byonna, ate ow'okubiri asinga okuduka mu byafaayo bwa Uganda mu buwanvu emabega w'alina likodi eno Joshua Cheptegei' eya 26:11.00. [17]
Nga 21 omwezi ogw'ekuminoogumu mu 2021, Kiplimo yatekawo likodi y'ensi mu misinde gy'okwetoloola ebyali emiipi ne dakiika 57:31 mu Lisbon.[18]
By'akoze okusinga ng'omuntu
[kyusa | edit source]- Mita 1500 : 3:50.24 min (2016)
- Mita 3000: 7:26.64 min (2020) NR
- Mita 5000: 12:48.63 min (2020)
- Mita 10,000: 26:33.93 min (2021)
- Half marathon: 57:31 (2021) Likodi y'ensi yonna
- 10K run: 27:31 min (2019)
- 10K run: edakiika 26:41 (nga 31 omwezi ogw'ekuminebiri mu 2018 ) (okuduka okukyasinze okubeera okw'amangu mu budde naye nga tekimannyikiddwa mu likodi y'ensi olw'okuba webaali badikira waliwo akaserengeto).
Obubaka bwonna okuva mu IAAF Profile.
Empaka ze'nsi yonna
[kyusa | edit source]2016 | World U20 Championships | Bydgoszcz, Poland | 3rd | 10,000 m | 27:26.68 Template:AthAbbr |
Olympic Games | Rio de Janeiro, Brazil | 26th (h) | 5000 m | 13:30.40 | |
2017 | World Cross Country Championships | Kampala, Uganda | 1st | Junior men's race | 22:40 |
World Championships | London, United Kingdom | 22nd (h) | 5000 m | 13:30.92 | |
2018 | Commonwealth Games | Gold Coast, Australia | 4th | 10,000 m | 27:30.25 |
World U20 Championships | Tampere, Finland | 6th | 5,000 m | 13:23.35 | |
World U20 Championships | Tampere, Finland | 2nd | 10,000 m | 27:40.36 | |
2019 | World Cross Country Championships | Aarhus, Denmark | 2nd | Senior race | 31:44 |
2020 | World Half Marathon Championships | Gdynia, Poland | 1st | Half marathon | 58:49 Template:AthAbbr |
2021 | Olympic Games | Tokyo, Japan | 5th | 5,000 m | 13:02.40 |
3rd | 10,000 m | 27:43.88 | |||
2022 | World Championships | Eugene, OR, United States | 3rd | 10,000 m | 27:27.97 |
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://worldathletics.org/competitions/world-athletics-label-road-races/news/jacob-kiplimo-world-half-marathon-record-lisbon - ↑ https://web.archive.org/web/20160826084101/https://www.rio2016.com/en/athlete/jacob-kiplimoJacob Kiplimo Template:Webarchive. Rio2016. Retrieved on 2016-08-21.
- ↑ http://eagle.co.ug/2016/07/21/15-year-old-jacob-kiplimo-could-cause-a-surprise-at-rio-2016-olympics.htmlAtwiine, Simon Peter (2016-07-21). 15-year old Jacob Kiplimo could cause a surprise at Rio 2016 Olympics. Uganda Eagle. Retrieved on 2016-08-21.
- ↑ https://www.iaaf.org/athletes/uganda/jacob-kiplimo-310901Jacob Kiplimo. IAAF. Retrieved on 2016-08-21.
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.iaaf.org/athletes/uganda/jacob-kiplimo-310901 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.iaaf.org/news/report/kiplimo-uganda-u20-world-cross-country-champi - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.iaaf.org/news/report/ugandan-cross-country-championships-2019 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.iaaf.org/results/iaaf-world-cross-country-championships/2019/iaaf-world-cross-country-championships-aarhus-6265/men/senior-race/final/result#resultheader - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/International_Association_of_Athletics_Federations - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://kawowo.com/2019/10/07/cheptegei-proud-rues-kiplimos-absence-in-gold-medal-winning-show-2019-iaaf-world-championships/# - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.usatoday.com/story/sports/olympics/2020/01/01/jacob-kiplimo-celebrates-early-kibiwott-kandie-wins-sao-paulo-race/2789687001/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.letsrun.com/news/2020/09/2020-ostrava-golden-spike-recap-jacob-kiplimo-comes-from-behind-to-stun-selemon-barega-in-thrilling-5000-as-both-men-break-1250/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.letsrun.com/news/2020/09/jacob-jakob-kiplimo-tops-ingebrigtsen-726-to-727-in-fast-3k-showdown-in-rome/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.svt.se/sport/friidrott/gdynia - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://runningmagazine.ca/sections/runs-races/by-the-numbers-kibiwott-kandies-record-shattering-run-in-valencia/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://worldathletics.org/competitions/world-athletics-cross-country-permit/news/kiplimo-gemechu-win-campaccio-cross-country - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.worldathletics.org/records/all-time-toplists/middle-long/10000-metres/outdoor/men/senior?regionType=world&page=1&bestResultsOnly=true&firstDay=1899-12-30&lastDay=2021-06-12 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://worldathletics.org/competitions/world-athletics-label-road-races/news/jacob-kiplimo-world-half-marathon-record-lisbon