Jump to content

James Mamawi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Mamawi James

 James Mawawi yazaalibwa mu Gwomwenda nga 29, 1988 Munnayuganda, munnabyabufuzi era omukiise mu Paalamenti ya Uganda ng'akiikirira konsityuwensi ya Adjumani ey'Obuvanjuba. Yalondebwa okugenda mu Paalamenti ku ttikiti y'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement (NRM).[1][2][3] Mu Paalamenti ey'ekkumineemu, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti wa Uganda.[4]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Mawawi yazaalibwa Brani Festo ne Jovita Chandiga ku kyalo Itirikwa mu Disitulikiti y'e Adjumani. Yawasa Stella Komouo Mamawi nga balina abaana bana. Yatandika okusoma kwe ku Subbe Primary School, n'agenda ku Monosbala Secondary School ne St Benard's College mu Disitulikiti y'e Masaka gye yasomera Siniya. Alina Dipulooma mu byokuddukanya bizinensi z'ebyobulimi ne ddiguli mu byobulimi n'okukulaakulanya ebyalo gye yafuna okuva ku Yunivasite y'e Makerere.[1]

Ebyobufuzi

[kyusa | edit source]
Mamawi James

Mawawi yatandika okwenyigira mu byobufuzi ng'aweereza n'okukiikirira abantu b'omu kitundu kya Itirikwa ku lukiiko lwa Disitulikiti.[5] Yeesimbawo ku ky'okukiikirira konsityuwensi ya Adjumani ey'omu buvanjuba mu Paalamenti, mu kulonda kwa Paalamenti gye yafunira obululu 9633, n'awangula eyali mu kifo kino, Dulu Mark Angel eyafuna obululu 9354.[6]

Ebijuliriziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/99439
  2. https://www.adjumani.go.ug/about-us/district-council
  3. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/mamawi-james-6791/
  4. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-presidential-affairs/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2023-01-30. Retrieved 2024-03-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://dailyexpress.co.ug/2021/05/19/full-list-of-130-mps-to-be-sworn-in-on-today-wednesday/