Janat Mukwaya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search


Janat Balunzi Mukwaya Munnabyabufuzi era eyawummula ogw'okuvuga ennyonyi mu ggye ly'eggwanga lya Uganda. Mu kiseera kino muwi wa magezi eri Pulezidenti Museven. Yaweerezaako nga Minisita wa guno na guli mu ofiisi ya Ssaabaminisita wa Uganda okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuusa nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Era yaweerezaako nga Minisita w'ekikula ky'abantu n'abakozi okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016 okutuuka mu Gwekkumineebiri 2019. Yaweerezaako nga Minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero okuva mu Gwomukaaga, 2006 okutuusa mu Gwokubiri, 2009.[2] Mu Gwokutaano, 2011, yasalawo okulekulira ebyobufuzi okumala akaseera era n'asikizibwa Kiddu Makubuya.[3] Era yaweerezaako ng'Omubaka wa Paalamenti omulonde owa Konsituwensi ya Mukono ey'obukiikaddyo (Mukono South Constituency), mu Disitulikiti y'e Mukono, okuva mu 2006 okutuuka lwe yalekulira ebyobufuzi mu 2011.[4]

Ebyafaayo bye n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Mukwaya yazaalibwa nga 12 Ogwekumineebiri, 1951 mu Disitulikiti y'e Mukono. Yasoma byabufuzi n'okukulembera abantu mu Makerere University mu bbanga wakati wa 1971 ne 1975, n'atikkirwa Ddiguli eya Bachelor of Arts. Wakati wa 1975 ne 1981, yakolako ng'omulamuzi ow'eddaala eryokubiri. Mu 1981 yeegatta ku kibinja ekyali eky'abayeekera ekya National Resistance Army (NRA) ng'omulwanyi. Yalinnya n'atuuka ku ddaala ly'Obwakapiteeni mu ggye eryo erya NRA. Alina ne Ddiguli eyookubiri eya Master of Arts degree in public policy and management gye yasomera mu University of London.[4]

Olugendo lwe olw'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Eggye lya NRA bwelyawamba obuyiza mu 1986, Mukwaya yalandebwa nga Diyirekita w'ensonga z'abakyala mu minisitule y'ekikula ky'abantu n'abakozi nga yabeera mu kifo kino okutuusa mu 1990. Mu 1994, yalondebwa ng'omuwandiisi ow'ekyama ow'Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda n'aweereza mu kifo kino okutuusa mu 1995. Wakati wa 1995 ne 1996, Mukwaya ye yali Minisita ow'ensonga Z'akanyigo k'e Luweero mu ofiisi ya Pulezidenti wa Uganda. Wakati wa 1996 ne 2001, yaweereza nga Minisita ow'ekikula ky'abantu, abakozi n'enkulaakulana.[5]

Yafuuka Ssaabawolereza wa Gavumenti era Minisita w'essiga eddamuzi n'ensonga za Ssemateeka mu 2004 n'aweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 2005. Mu 2005, yakyusibwa n'afuulibwa Minisita W'ebyobulimi, Obulunzi n'obuvubi n''aweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 2006.[6]

Mu 2006, yalondebwa okubeera mmemba wa Paalamenti ng'avuganyiza ku kkaadi ya National Resistance Movement olwo n'atandika okukiikirira abantu ba Konsityuwensi ya Mukono South. Mu mwaka gwe gumu, yalondebwa okubeeera Minisita w'ebyobulambuzi, Ebyobusuubuzi n'amakolero nga mu kifo kino yabeeramu okutuusa lwe yaddamu okulondebwa okubeera Minisita wa Gunonaguli mu Ofiisi ya Ssabaminisita wa Uganda.[7] . Mu Gatonnya /January wa 2010, amawulire gaafuluma nti yali si waakuddamu kuvuganya ku kifo kya Paalamenti mu kulonda kwa bonna okwali kubindabinda mu mwaka ogwali guddako - 2011.[8]

Akomawo[kyusa | edit source]

Mu Gwomukaaga 2016, yaggyibwa mu kuwummula bwe yalondebwa nga Minisita w'ekikula ky'abantu, abakozi n'enkulaakulana.[9] Obumu ku buvunaanyizibwa bwe yalina okusookerako nga Minsita w'abakozi eyali alondeddwa mu kifo kino omulundi owokubiri, kwali kuteesa ku nsonga z'okutwala abakozi mu Bwakabaka bwa Jordan bafuneyo emirimu.[10]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

 

Obulandirwako[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20150211174529/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671729
  2. https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
  3. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  4. 4.0 4.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1014653/kampala-executive-director Cite error: Invalid <ref> tag; name "Who" defined multiple times with different content
  5. http://allafrica.com/stories/199909230105.html
  6. http://ugandaradionetwork.com/story/few-surprises-as-new-cabinet-is-announced
  7. http://www.eturbonews.com/14038/former-uganda-tourism-minister-retire-politics
  8. https://web.archive.org/web/20150211201459/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/707412
  9. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet
  10. http://observer.ug/news-headlines/47187-uganda-signs-labour-export-deal-with-jordan