Jump to content

Jane Aceng

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jane Ruth Aceng Ocero

 

Jane Ruth Aceng yazaalibwa nga 11 Ogwokutaano mu 1968, nga nga Munayuganda ajanjaba abaana n'eddwadde zaabwe, wamu n'okubeera munabyabufuzi. Ye Minisita avunaanyizibwa ku By'obulamu mu Kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo kino nga 6 Ogwomukaaga mu 2016.[1] Wabula nga kino tekinaba, mu Gwomukaaga mu 2011 okutuuka mu Gwomukaaga 2016, yawerezaako nga nga eyali akulira eby'obulamu mu Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku By'obulamu.[2]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Aceng yazaalibwa nga 11 Ogwokutaano mu 1968, nga yasomera ku Shimoni Primary School eryali mu Kampala ekibuga kya Uganda ekikulu. Yasomera ku Nabisunsa Girls Secondary School gyeyamalira S4 ne S6.[3] Alina Diguli mu By'obusawo ne Diguli mu kulongoosa, wamu ne Diguli ey'obubiri mu Busawo mu kujanjaba abaana n'enddwa zaabwe, wamu n'eya;okubeera omukugu mu By'obulamu, nga zino zonna yazigya ku Yunivasite ye Makerere, kutendekero erisomesa sayaansi n'eby'obulamu. Alina ne Dipulooma mu By'okudukanya eby'obulamu eyamuweebwa etendekero lya Galilee International Management Institute, mu Yisirayiri.[3][4]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Aceng yatandika okuweereza nga avunaanyizibwa ku by'obulamu[5] mu minisitule evunaanyizibwa ku by'obulamu.[4] Mu kaseera keyali akola nga Akulira Eby'obulamu, yali akola nga akulira eddwaliro lya Lira Regional Referral Hospital.[2]

Ebirala by'akoze

[kyusa | edit source]

Aceng y'omu kubali kakiiko akadukanya Infectious Diseases Institute.[4] Yakolako nga omu ku baali ku badukanya eterekero ly'eddagala mu Uganda n'okulisaasaanya nga kiri wansi wa minisitule y'eby'obulamu, okuva mu 2005 okutuuka mu 2016.[2][3]

Emirimu gye mu byobufuzi

[kyusa | edit source]

Mu Gwomusanvu mu 2020, Dr Jane Ruth Aceng yalangirira nga bweyali agenda okwesimbawo ku kifo ky'okubeera omukyala akiikirira Disitulikiti ye Lira, mu Paalamneti eye 11 okuva mu 2021, okutuuka mu 2026. Yali agenda kwesimbawo ng'ali ku tikiti y'ekibiina ky'eby'obufusi ekya National Resistance Movement.[6]

Obukuubagano

[kyusa | edit source]

Kuntandikwa ya 2014, enkyuka kyuka satu mu by'obulamu bw'eggwanga zaatandika okulinya okutuuka ku mutendera gw'obutabanguko.

  • Uganda erina ekitono ennyo amasomero agayigiriza eby'obusawo nga ga gavumenti oba ga bwa nnanyini munaana, nga gatikira okutuuka ku basawo 500 buli mwaka.[7] Nga tebanafuna biwandiiko byabwe biraga nti basawo, buli musawo atekeddwa okuyita mu kulonderobwa okumala okumala emyezi 12 ng'ali wansi w'omukugu nadala omulongoosa oba omusawo eyeebuzibwaako.[7]
  • Okusinziira ku ky'okubeera nga bano tebasasulwa bulungi, ebikozesebwa ebikadde, obutabwerawo kw'ebikozesebwa nga eddagala, wamu n'ebifo webakakalabiza eirimu gyebawe okubeera nga si walungi, abasawo okuva mu Uganda n'abalongoosa abeebuzibwaako baalekulira eggwanga okugenda okukolera mu bifo eby'eyagaza mu munsi endala.[8][9]
  • Embalirira y'eggwanga entono ku by'obulamu ereka minisitule evunaanyizibwa ku by'obulamu nga bterina bulungi ssente za kusasula beebuzibwaako babeera basigaddewo, n'abasawo ababeera batendekerwa okubeera abeebuzibwaako, wamu n'omuwendo ogw'ababeera bayigirizibwa okukuguka, nga bakola okubeera nga bafuna ebisaanyizo.[10]

Okusinziira ku bino byonna, minisitule evunaanyizibwa ku by'obulamu esasidde abasawo bonna abatasasulirwaako yadde, wamu n'ababeera bayigirizibwa okukuguka nga nabo basasulwa bubi oba simubudde.[9] Mu kuteeka esira ly'okukuuma n'okutereka ensiimbi, Aceng nga minisita alumiriza yunivasite ezimu okutikira abasawo abatatukana na mutindo,[11] wadde n'akakiiko akagata abasawo n'abajanjaba amannyo mu Uganda wamu n'aba kakiiko ak'omubu Buvanjuba bwa Afrika akagata abasawo wamu n'abajanjaba amannyo nako kaali kamuwakanya. Bino byebitongole kya gavumenti mu Buvanjuba bwa Afrika ezirina olukusa lw'okubeera nga zikuuma omutindo gw'okutendeka abasawo, wamu n'okulaba nga abatabula eddagala wamu n'abasawo b'amannyo bakola bulungi emirimu gyabwe.[11][12]

Okutuuka mu 2016, mpozi ekirowoozo kya Aceng ekyali kiretawo obutakaanya mu bantu kyali kyakubeera nga buli yamaliriza okusoma ng'anoonya bukugu, yalina kusooka kukola bigezo by'eggwanga, nga minisita tanaba kuteeka mukono ku mpapula zaabwe ezisaba okugenda okufuna webatendekera.[13][14] Kino tekyagenda bulungi n'abaasoma mu 2016/2017 abaali baagala okufuna webayinza okubangulibwa okufuna obukugu, ekyabawaliriza okugenda mu kkooti okuyita mu mateeka.[15]

Emirimu gye mu kunoonyereza

[kyusa | edit source]

Aceng yeetabye era neyeenyigira mu by'obusawo, nga egimu ku mirimu gy'akoze gyegino wa manga;

  • Mu 2021: The Ugandan Severe Acute Respiratory Syndrome -Coronavirus 2 (SARS-CoV-2) Model: A Data Driven Approach to Estimate Risk[16]
  • Mu2020: Estimating the Effect and Cost-Effectiveness of Facemasks in Reducing the Spread of the Severe Acute Respiratory Syndrome-Coronavirus 2 (SARS-CoV-2) in Uganda[17]
  • Mu 2020: Family Health Days program contributions in vaccination of unreached and under-immunized children during routine vaccinations in Uganda[18]
  • Mu 2019: Uganda's experience in Ebola virus disease outbreak preparedness, 2018–2019.[19]
  • Mu 2018: Prevalence of protective tetanus antibodies and immunological response following tetanus toxoid vaccination among men seeking medical circumcision services in Uganda[20]
  • Mu 2016: Tetanus Cases After Voluntary Medical Male Circumcision for HIV Prevention - Eastern and Southern Africa, 2012-2015[21]
  • Mu 2015: Multidistrict outbreak of Marburg virus disease—Uganda, 2012.[22]
  • Mu 2015: Is the glass half full or half empty? A qualitative exploration on treatment practices and perceived barriers to biomedical care for patients with nodding syndrome in post-conflict northern Uganda[23]
  • Mu 2014: Ebola Viral Hemorrhagic Disease Outbreak in West Africa- Lessons from Uganda.[24]
  • Mu 2013: Nodding syndrome in Ugandan children—clinical features, brain imaging and complications: a case series[25]
  • Mu 2005: Rectal artemether versus intravenous quinine for the treatment of cerebral malaria in children in Uganda: randomised clinical trial[26]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20190331230605/https://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%252527s%2Bcabinet.pdf
  2. 2.0 2.1 2.2 https://web.archive.org/web/20190126001156/https://mobile.monitor.co.ug/-/691260/1190606/-/format/xhtml/-/3mx8p3/-/index.html
  3. 3.0 3.1 3.2 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=452
  4. 4.0 4.1 4.2 https://web.archive.org/web/20160815211634/https://www.idi-makerere.com/index.php?option=com_content&view=article&id=87:jane-ruth-aceng-mbchb-mmed-mph&catid=87&Itemid=701
  5. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1426036/-yellow-fever-disease-health-ministry
  6. https://www.softpower.ug/health-minister-dr-aceng-to-contest-for-lira-district-woman-mp/
  7. 7.0 7.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1308705/internship-crisis-finally-uganda-doctors
  8. http://www.monitor.co.ug/News/National/2-000-doctors-leave-country-in-10-years/688334-1938196-76saruz/index.html
  9. 9.0 9.1 https://www.theguardian.com/global-development/2015/feb/10/uganda-crippled-medical-brain-drain-doctors
  10. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/Govt-spends-Shs2-500-a-month-on-each-citizen-s-healthcare/688342-1971734-1p7dk5z/index.html
  11. 11.0 11.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1435297/medical-council-backs-kiu-doctors
  12. http://www.monitor.co.ug/News/National/EAC-probe-queries-medical-training-in-Ugandan-varsities/688334-3256102-1u20d4/index.html
  13. http://businessguideafrica.com/health-minister-mps-divided-over-pre-intern-medical-exams/
  14. http://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/Pre-entry-exams-medical-interns-ensure-quality-healthcare/689364-3399346-28w3lcz/index.html
  15. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1435946/medical-interns-sue-health-minister
  16. https://www.medrxiv.org/content/10.1101/2020.12.28.20248922v1
  17. https://www.medrxiv.org/content/10.1101/2020.06.11.20128272v1
  18. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC6968838
  19. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC7081536
  20. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC6312241
  21. https://www.cdc.gov/mmwr/volumes/65/wr/mm6502a5.htm
  22. https://www.researchgate.net/publication/280448360
  23. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC4552991
  24. https://www.ajol.info/index.php/ahs/article/view/107213
  25. https://bmjopen.bmj.com/content/bmjopen/3/5/e002540.full.pdf
  26. https://www.bmj.com/content/330/7487/334.short

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]