Jump to content

Jane Frances Kuka

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jane Frances Kuka ow'ekitiibwa, mubaka wa Kapchorwa omukyala mu palamenti nga eyadira Gertrude Kulany mu bigere

Yaliko minisita omubeezi ow'ekikula ky'abantu n'okulakulanya ebitundu wabula nga Baguma Isoke yeyamudira mu bigere.

Yaliko Residenti District Commissoner wa Kapchorwa mu 2007 ng'adira Tezira Jamwa mu bigere, wabula naye oluvannyuma yavaako Joseph Arwata n'atwala ekifo kino.

Ebimukwatako nga omuntu:

Yazalibwa Jane Frances Yasiwa

Eggwanga: Munnayuganda

Ekibiina ky'eby'obufuzi: National Resistance Movement (NRM)

Ommwami we: Stephen Kuka

Gyeyasomera: Gamatui Primary School, Nyondo Teachers College e Mbale, Ggaba Teachers College.

Omulimu: Munabyabufuzi era alwana okulaba nga omwana omiuwala oba omukyala tebamusala mbalu Anti FGM activist

Jane Frances Kuka munnayuganda omusomesa ng'era avumirira eby'okusala abaana ab'obuwala embalu, anti-Female Genital Mutilation (FGM) activist, munabyabufuzi eyaliko omukiise wa Kapchorwa mu palamenti ey'omukaaga wakati wa (1996 ne 2001), wabula nga Gertrude Kulany yeyamudira mu bigere. Yaliko minisita omubeezi ow'ekikula ky'abantu n'enkulakulana okuva mu 1996 okutuusa 1998, yaliko minisita omubeezi ow'ebigwa tebiraze mu 1999 gyeyava oluvannyuma nebamufuula Resident District Commissioner wa disitulikiti ya Kapchorwa 2007 ng'adira Tezira Jamwa mu bigere.

Ebyafaayo bye n'eby'enjigiriza:[kyusa | edit source]

Kuka yazalibwa Jane Frances Yasiwa mu Sipi, Kapchorwa ne Miriam Chelangat mu myaka gya 1950 eyo.[1] Yasomera ku Gamutui Primary School, gyeyava oluvannyuma mu 1966 okwegata ku kutendekero lya Nyondo Teachers College Mbale. Yayita ng'afuuse omusomesa 1969 .[1] Kuno yakwongerezaako ng'agenze ku Ggaba Teachers College gyeyava ng'omusomesa w'ekibiina eky'okusatu.[1]

By'azze akola:[kyusa | edit source]

Okusomesa[kyusa | edit source]

Kuka yali musomesa wa muziki ku Gamutui Primary School mu 1969. Mu 1988, yakuzibwa n'afuulibwa akulira etendekero lya Kapchorwa Teachers’ College.[1]

Eby'obufuzi:[kyusa | edit source]

Kuka yalemererwa okwesimbawo okubeera mukiise mu palamenti mu 1989 ssaako n'okubeera omu kubakola amateeka agatambulirwako eggwanga Constituent Assembly elections mu1994. Wabula oluvannyuma yalondebwa nga omukyala omukiise mu palamenti ey'omukaaga ng'akiikirira Kapchorwa.[2]

Ng'ogyeko okubeera omukiise wa palamenti, yayongerko okubeera minista omubeezi o'w'ekikula ky'abantu n'okulakulanya ebituntu wakati wa 1996 ne 1998.[3] Mu 1999, yatwalibwa n'afulibwa minista omubeezi ow'ebigwa tebiraze n'abanoonyi boobubudamu.

Mu 2007, yalondebwa nga Resident District Commissioner wa disitulikiti ya Kapchorwa nga baddamu nebamulonda mu kifo kyekimu mu 2014.[4] Wakati awo, yakola nga omumyuka w'omuwandiisi wa pulezidenti ow'ekyama.[5]

Okuvumurira abasala abaana embalu:[kyusa | edit source]

Nga omukulembezze w'etendekero lya Kapchorwa Teachers College mu 1988, Kuka yawona okutibwa ekibinja ky'anatu kuba yali tawagira kakiiko ka disitulikiti Kapchorwa akaali kaatekawo eteeka erikiriza abaana abawala okubasala embalu.[6][7] Kuka nga ye kino yakiyita nga ekintu ekibi ennyo era ekikyamu kuba baali bakikola abantu abasobola kwerwanako.[8]

Yakazibwaako eky'okubeera omuzira mu ky'okulwanisa abasala abakyala wamu n'abawala embalu nga kino yakivumirira ne mu mwanga g'ensi ez'enjawulo gyeyalaga nga.[9]

Obulamu bwe:[kyusa | edit source]

Mu 1972, yafumbirwa Steven Kuka

Ebimuwereddwa n'okumulabawo:[kyusa | edit source]

Mu 2012, Kuka yaweebwa awaadi y'okubeera omuntu wa bulijjo, civilian award - The Distinguished Order of the Nile nga eri mu kiti eky'okuna mungeri y'okumwebaza olw'okulwanirira omwana ow'obuwala obutamusala mbalu.[10][11]

Mu kumulaba ng'eyalwanirira eddembe ly'omuwala obutamusala mbalu, Female Genital Mutilation (FGM), Kuka yaweebwa awaadi ya Tumaini Lifetime Achievement award mu2013 [9]

Laba ne[kyusa | edit source]

Gertrude Kulany

Female Genital Mutilation (FGM)

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/kuka-survived-female-circumcision-and-dedicates-her-life-to-protecting-all-sabiny-women-1548632
  2. https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=5247c525-5e20-4b76-8760-4b4479d77dbf%3B1.0
  3. https://allafrica.com/stories/199803070019.html
  4. https://www.kfm.co.ug/news/rdcs-transferred.html
  5. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1125497
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-16. Retrieved 2022-04-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.independent.co.ug/soon-may-go-prison-modifying-womens-body-parts/
  8. https://kidamedia.home.blog/2020/12/19/beatrice-chelangat-enemy-of-fgm-ally-of-good-culture/
  9. 9.0 9.1 {{cite web}}: Empty citation (help)"Frances Kuka wins Lifetime Achiever at Tumaini awards". New Vision. Retrieved 2022-03-28.
  10. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1323277
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2021-01-28. Retrieved 2022-04-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)