Jane Kaberuka
Jane Alison Kaberuka (yazaalibwa nga 28 Ogwomunaana 1956, Bunyoro) Munnayuganda, muwandiisi w'emboozi enjiiye n'ebitabo by'ebyafaayo by'omuntu era mukozi wa Gavumenti.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Eby'enjigiriza bya Kaberuka byamutegekera okubeera omusomesa wa Sayansi, naye 1987 olugendo lw'obulamu bwe lwakyusibwa bweyakosebwa mu kabenje. Oluvanyuma lw'obujjanjabi obw'amaanyi, yasobola okuddamu okutambula. ng'eby'okutya okusanyalala obitadde ku bbali,yawulira nga Katonda yali kitundu mu kuwonyezebwa kwe. Akabenje kano n'ebyaddirira oluvanyuma by'amuviirako okuwandiika ekitabo ekirimu ebimwogerako ekya Has God forgotten me? Ekitabo kirimu amabaluwa g'eyawandiika n'olugalo lumu nga yali ayagala abaanabe babisome ng'abakuze.[1][2]
Akatabo ke akaddaka kaali It's Natural Darling, ekitabo eky'ogera ku mukazi. Omuwandiisi bbula lw'okukubaganya ebirowoozo ku kikula ky'omuntu ne mu ba mmemba ba Famile.[3]
Kaberuka yasalawo okusaba okuweereza mu kifo ky'okulwanisa obulyake mu ofiisi y'Akaliisoliiso wa Gavumenti. Yaweerezaako ng'omuwandiisi w'omuko mu lupapula lw'amawulire wakati wa 1992 ne 1994.[4]
Mu 1999 yafulumya akatabo ke aka Silent Patience nga katandiika n'obufumbo obuteeketeeke.[5] Kileetawo "ebibuuzo ku by'obuwangwa n'ennono ezimu mu Uganda" era kitunuulira “Okuboolebwa olw'ekikula” mu kyasa ekya 20 mu East Africa. Ekitabo kino ky'afulumizibwa aba Femrite, ekitongole ekikubirirza abakyala abawandiisi mu Uganda.
The Cherished Grass Widow kafulumizibwa mu 2003.[6] Akatabo kano k'angya obuzibu n'okusoomozebwa abakyala bye bayinza okusisinkana mu bufumbo n'ebisoomooza ebiri mu bufumbo bw'abakyala abangi.[7]
Obulamu bwe obw'omunda
[kyusa | edit source]Kaberuka yazaalibwa nga 28 Ogwomunaana 1956 mu Bunyoro, Buggwanjuba bwa Uganda.[8] Yasomera ku Kyebambe Girls Secondary School[8] wabula y'akereyezebwa omwaka mulamba nga ky'ava ku buzibu obwekuusa ku by'obusika bye eby'e Rwanda. Oluvanyuma yagenda ku Gayaza High School. Kaberuka yafumbirwa ku myaka kkuminamwenda nga "teyesaliddewo", era oluvanyuma yasoma era nafuna Diguli mu busawo okuva ku Ssettendekero wa Makerere. Emisomo gye gy'ali gy'ebunguluddwa okuzaala n'abaana.
Oluvanyuma lw'okutikkirwa Diguli ya Bachelor of Science degree in biochemistry and zoology mu 1979, Yagenda mu Australia ne Bbaawe era eyo gyeyafunira Diguli mu busomesa mu 1982 ku La Trobe University. Yasomesaako essomo lya sayansi era n'atandiika okusoma ku Diguli ye ey'ennyongereza ku University of New England. Oluvanyuma lw'enkyukakyuka mu Bukulembeze mu Uganda mu 1986, ye ne bbaawe bakomawo n'abaana baabwe abana mu Gusooka 1987. Yali aweereddwa omulimu ate nga yali amulaba era nga amuwa ekitiibwa nga "Ssemaka wa Famile", era teyamaliriza misomo gye nga tannavaayo mu Australia.
Mu ssabbiiti ntono nnyo, Kaberuka yakosebwa nnyo mu kabenje nga kamunuula obulago n'okumukutula embiriizi. Yajajjabirwa e Nairobi naye n'atatereera era yatwalibwa mu Germany okuddamu okulongosebwa n'obujjanjabi obusingako. Mpolampola yasobola okuddamu okutambula akatonotono.
Bbaawe Will Kaberuka mukugu mu by'ensimbi era muwi w'amagezi eri Pulezidenti nga naye ava mu Buggwanjuba bwa Uganda. Balina abaana abalenzi babiri n'abawala babiri.
Ebitabo bye y'awandiika
[kyusa | edit source]- Has God forgotten me? The cry of an accident victim Nairobi: Uzima Press, 1990.
- It's Natural Darling Nairobi: East African Publishers, 1991.
- Silent Patience Kampala: Femrite Publications 1999
- The Cherished Grass Widow Kampala: MK Publishers, 2003
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Lua error: Invalid configuration file.
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/50243745
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/50243745
- ↑ https://books.google.com/books?id=Oa99nXftl7QC
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-30. Retrieved 2024-04-16.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.worldcat.org/oclc/43067844
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/54819270
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1261402/kaberuka-evil-polygamy
- ↑ 8.0 8.1 http://uganda.spla.pro/en/file.person.jane-kaberuka.42395.html