Jane Mpologoma Nabanakulya
Princess Jane Mpologoma Nabanakulya muwala wa Pulezidenti wa Uganda eyasooka Pulezidenti Mutesa II owa Buganda.[1] Yazaalibwa ku kyalo Sunga, Ggombolola y'e Buyaga, bwakabaka bwa Bunyoro-Kitara, nga 12, Ogwokuna 1964 eri Omuzaana Naome Nanyonga, omuzaalisa wa Meeja Genelo Sir Mutesa II of Buganda.
Obuto bwe
[kyusa | edit source]Omumbejja Mpologoma yakula ne maamawe obuto bwe bwonna era teyalaba ku kitaawe,[2] newankubadde yakyalirwanga Omulangira Juuko Walugembe ow'e Bugerere. Era yali alabirirwa Arafayiri Musoke, omulimi amanyikiddwa mu Sunga era mukwano nnyo gwa Ssekabaka wa Buganda.
Emisomo gye
[kyusa | edit source]Omumbejja Mpologoma yasomera ku Aga Khan Primary School in Kampala n'oluvanyuma n'eyegatta ku Ngora Nursing School mu Ngora, Ttundutundu lya Teso, mu Buvanjuba bwa Uganda. Yagenda mu Athens, Greece, gye yeyongerayo n'emisomo gye mu kusoma obusawo. Oluvanyuma y'agenda mu Stockholm, Sweden. Mu 2003 yagenda mu Bungereza, United Kingdom, gy'abeera ne bbawe Duke David Segawa Mukasa.[3] Mu kaseera kano basumba mu kkanisa ya Manmin Church mu Bethnal Green, London.
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Lua error: Invalid configuration file.